Jump to content

Lawrence Coreta Muganga

Bisangiddwa ku Wikipedia

[1] Lawrence Muganga mumanyi wa Uganda-Canada, omukugu mu kusomesa eby'enfuna bya digito, omuddukanya weby'ensoma [2] [3] [4] akola ng'omumyuka wa kansala owa Victoria University Uganda . [5] [6] muwandiisi w'ekitabo " Tosobola Kufuula Ebyennyanja Kulinnya Emiti", "Okuva ku Chalk okutuuka ku Chatbots" awamu ne "Aunthetic University". [7] [8] [9] [10] [11] [12]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Mukono era yakulira mu Disitulikiti y'e Masaka . [2] Yamaliriza siniya eyookuna ku ssekondale ya Mende Kalema n'ey'omukaaga okuva mu St. Charles Lwanga Kasasa Secondary School mu Disitulikiti y'e Masaka . Alina diguli esooka mu by’enfuna n'eyookubiri mu by'emikono mu by’okuddukanya enkola y’ebyenfuna okuva mu yunivasite e Makerere mu Uganda. [13] Yatikkirwa n'ebbaluwa y'obusomesa mu by'enjigiriza ebya waggulu okuva mu Harvard University Cambridge, Massachusetts . Alina diguli eyookubiri mu by’enjigiriza ng’akuguse mu by’enjigiriza by’abantu abakulu n’agattako PhD mu by’enjigiriza n’obukulembeze okuva mu yunivasite y’e Alberta Canada. [3] Alina obutuuze bwa mirundi ebiri obwa Uganda ne Canada. [14]

Oluvannyuma lw’okutikkirwa mu yunivasite e Makerere mu mwaka gwa 2002, Muganga yagenda e Rwanda n’akolera mu kitongole ky’omusolo ekya Rwanda Revenue Authority ng’omubalirizi w’ebitabo by’omunda (2003–2005). Yakola nga ng'omuddukannya wa pulojekiti mu Edmonton Multicultural Coalition, era yakola nga omuwabuzi mu nkola ya Gavumenti eya Alberta mu Canada. Muganga abaddeko mu bifo ebiwerako eby’obusomesa, okwebuuza n’eby’ekikugu mu Canada, Ethiopia, Rwanda, Finland, Singapore, Sweden, US ne Solomon Islands nga essira aliteeka ku kunoonyereza, okuteekateeka, okukola, okussa mu nkola, n’okwekenneenya enkola eziyamba mu nkulaakulana y’abantu n’okutumbula omutindo gw’obulamu eri abantu. [6] Mu mwaka gwa 2020, yalondebwa nga omumyuka wa kansala omuggya mu Victoria University Uganda . [15] [5]

Okunoonyereza

[kyusa | kolera mu edit source]

ebyazuulibwa mu kunoonyereza kwe ku by’enjigiriza abifulumizza mu bitabo by’ebyenjigiriza n’ebitabo ebirala ebifulumizibwa banne. [16] [17] [18] [19]

Mu mwaka gwa 2019, Muganga yafulumya ekitabo kye yatuuma "You Can't Make Fish Climb Trees" era n'awangula ensimbi za doola emu n'ekitundu akakadde okuva mu kitongole kya Bill ne Melinda Gates Foundation . [4] [7] [20]

Enkaayana eziriwo

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 2 ogw'omwenda mu mwaka gwa 2021, ab’ebyokwerinda ba Uganda ab’awamu baamukwata okuva mu ofiisi ye olw’obukessi n’okubeera mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka kyokka oluvannyuma lw’ennaku 2 n’ayimbulwa nga tewali musango gwonna. [21] [22]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. News, Flash UG (2021-11-20). "Dr Lawrence Muganga: Biography, Age, Family and Education of Victoria University VC". Flash Uganda Media (in British English). Retrieved 2023-05-29. {{cite web}}: |last= has generic name (help)
  2. 1 2 "Dr. Muganga who was Arrested Over Illegal Stay Has Ugandan Identity Card – SoftPower News". softpower.ug. 2 September 2021. Retrieved 2021-09-08.
  3. 1 2 "Who is Dr Lawrence Muganga, Victoria University VC being accused of espionage, illegal stay in Uganda?". Watchdog Uganda. 3 September 2021. Retrieved 2021-09-08.
  4. 1 2 "Canadian Based Ugandan Professor Wants to Fix Uganda's Education System". ChimpReports. 22 December 2019. Retrieved 2021-09-08.
  5. 1 2 "10 creative and innovative teens across the country to receive scholarships". 24 January 2022. Archived from the original on 4 June 2023. Retrieved 28 September 2025.
  6. 1 2 "Who is Dr Lawrence Muganga, Victoria University VC who was arrested for alleged espionage?". Campus Bee. 3 September 2021. Retrieved 2021-09-08.
  7. 1 2 "Edmonton author signs $1.3M book deal in Africa". CBC News. Retrieved 2021-09-08.
  8. "Muganga roots for new teaching style". New Vision.
  9. "Instructors' Perceptions of Authentic Learning in the Pedagogical Approaches of Postsecondary Education in Sub-Saharan Africa: A Case for Uganda | Request PDF".
  10. "Straight Talk Africa | Overcoming Educational Malpractice through Authentic Learning – Special Guest Dr. Lawrence Muganga | Welcome to the Ugandan Diaspora News Online". www.ugandandiasporanews.com. Archived from the original on 2022-10-07. Retrieved 2025-09-28.
  11. "Dr. Lawrence Muganga, Edmonton, AB (2021)". www.schoolandcollegelistings.com.
  12. "www.newtimes.co.rw/section/read/107173". newtimes.co.rw. 14 May 2013. Retrieved 2021-09-08.
  13. "Uganda needs digital strategy for schools, universities". New Vision.
  14. "Archived copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2023-02-18.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. "Uganda releases academic accused of 'espionage'". The East African. 6 September 2021. Retrieved 2021-09-08.
  16. "Canadian Based Ugandan Professor Wants to Fix Uganda's Education System". 22 December 2019.
  17. "Lawrence MUGANGA | Vice Chancellor | Doctor of Philosophy (Ph.D) | Victoria University Kampala, Kampala". researchgate.net. Retrieved 2021-09-08.
  18. "Lawrence Muganga – Google Scholar". scholar.google.com. Retrieved 2021-09-08.
  19. "Security free Dr Lawrence Muganga after 2 days in detention". NTV Uganda. 4 September 2021. Archived from the original on 29 May 2023. Retrieved 28 September 2025.
  20. "Man who sold rabbits as a child to pay school fees rises to university VC". Legit.ng – Nigeria news. 16 September 2021.
  21. "Top Ugandan academic arrested for "espionage"". Africanews. 3 September 2021. Retrieved 2021-09-08.
  22. "Dr. Lawrence Muganga blasts security over unprofessionalism after release". Nile Post. 4 September 2021. Retrieved 2021-09-08.