Jump to content

Lawrence Kazibwe

Bisangiddwa ku Wikipedia

Dr. Lawrence Kazibwe musawo omuwi w'amagezi ku bujjanjabi bw'abakyala era omusawo w'ebitundu by'abakyala eby'ekyama mu misitule y'ebyobulamu eya Uganda) Ye omumyuka w'omukulu w'Eddwaliro lya Kawempe General Hospital, mu Kawempe Division, mu bukiikakkono bwa Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda.[1] Yalondebwa mu kifo ekyo nga 9th Ogwomunaana, 2018.[2]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Ttundutundu lya Buganda mu Uganda. Oluvannyuma lw'okugenda mu masomero g'omu kitundu, yayingira mu Mbarara University of Science and Technology eby'eddagala ly'abantu, n'afuna diguli esooka eya Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery (MBChB) mu 2006. Mu 2011, yafuna diguli eyookubiri eya Master of Medicine (MMed) mu Internal Medicine, era okuva mu Mbarara University.[3]

Dr. Lawrence Kazibwe ye muwi w'amagezi, eyali yateekebwa mu Mulago National Referral Hospital, [4] eddwaliro lya gavumentu erisinga obunene mu Uganda, eririna ebitanda 1,790 era erikola ng'eddwaliro erisomesa erya Makerere University College of Health Sciences. [5] Mulago National Referral Hospital ligambibwa okuba n'ekitongole ky'abakozi ekisingayo okubaamu awazaalirwa awakola ennyo mu nsi yonna, nga lirina abaana abasukka mu 30,000 abazaalibwa nga balamu buli mwaka, nga liweza 32,654 buli mwaka mu myaka esatu okuva nga 1 Og2olubereberye, 2011 okutuuka nga 31 Ogwekkumineebiri 2013.[6] Kino kitegeeza okuzaala abaana nga 90 buli lunaku, oba okuzaala 3.7 buli ssaawa, omuli n'ebitundu nga 20 okutuuka ku 25 eby'abalongoosebwa buli lunaku.[7]

Mu Gwomunaana 2018, Lawrence Kazibwe, MBChB, MMed (Obstetrics & Gynecology), yalondebwa okubeera omumyuka w'omukulu w'eddwaliro lya Kawempe General Hospital, ekifo ekirimu abantu 200, ekikwatagana n'eddwalilo lya Mulago. Yali w'akumyuka Dr. Nehemiah Katusiime.[1][2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1483111/health-ministry-appoints-city-hospital-bosses
  2. 1 2 https://en.wikipedia.org/wiki/Daily_Monitor
  3. https://web.archive.org/web/20180817023043/http://musawoug.com/musawo/Specialist_Details/136
  4. https://web.archive.org/web/20180817074643/https://www.mnh.musph.ac.ug/news_cmnhr/when-clinical-mentorship-saved-a-premature-and-mother/
  5. https://njedrzejko.wordpress.com/2015/07/26/day-3-what-ive-learned-about-mulago-hospital/
  6. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1483111/health-ministry-appoints-city-hospital-bosses
  7. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1319539/mulago-world-busiest-labour-suite