Lawrence Sebalu
Lawrence Sebalu (1930 oba 1931 – nga 31 Ogwolubereberye, 2019 terunnatuuka) yali munnamateeka era munnabyabufuzi Munnayuganda eyaweereza nga minisita w’ebyensimbi, okuteekerateekera, n’okukulaakulanya ebyenfuna okuva mu 1961 okutuuka mu 1962 ne mu Gwokutaano 1980. Mu kiseera kye yasooka okubeera mu ntebe, yali muwagizi wa bwetwaze okuva mu Bungereza era n’aluubirira nnyo okugaziya eby’enfuna bya Uganda ebyali byesigama ennyo ku bulimi.
Ebikwata ku bulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Lawrence Sebalu yazaalibwa mu 1930 oba 1931. Mutabani w’omwami omukulu mu ggwanga erimu mu Uganda, yasomera mu yunivasite zaamu Buyindi gye yafunira diguli mu mateeka n’ebyenfuna. [1] [2] Sebalu yali akola nga munnamateeka. [3] Yali munna kibiina ki Democratic Party . [4]
Okuva mu 1961 okutuuka mu 1962, Sebalu yaweereza nga minisita asooka ow’ebyensimbi, okuteekerateekera, n’okutumbula ebyenfuna mu kitundu ekyali kitwali bwa abafuzi b'amatwale ekya Uganda ekyafugibwanga Bungereza mu gavumenti ya Pulezidenti Benedicto Kiwanuka . [5] [6] Ng'omulwanirizi w'obwetwaze obujjuvu ng'ayita mu nkola ez'emirembe, yakubiriza nti Uganda eyeetongodde erina okussa essira ku kukulaakulanya amasannyalaze agava mu mazzi n'okusomesa abantu . Ono era yakubiriza nti ebyobulimi mu ggwanga byalina okuva ku kufulumya emmwanyi ne ppamba ebya;i bikola ebitundu 80% ku bintu Uganda bye yali etunda ebweru – okwolekera amakolero amatono. Mu Gwomwenda 1961, ekitongole kya American International Cooperation Administration kyassa ssente mu kukyala kwa Sebalu okwogererako mu yunivasite mu Amerika. [1] [2] Nga 1 Ogwokusatu 1962, Sebalu yalangirira nti yali azudde olukwe olugambibwa nti lwakolebwa ekibiina kya Uganda People's Congress (UPC) okumenyawo ssemateeka mu myaka esatu egy'ameefuga. [7]
Ku nkomerero ya 1972, mu kiseera ky’obufuzi bwa Idi Amin, Sebalu yabula oluvannyuma lw’okukwatibwa poliisi y’amagye, kyokka n’atattibwa. [3] [8] Mu May 1980, oluvannyuma lwa gavumenti ya Amin okugwa, Sebalu yaddamu okuweereza nga minisita wa Uganda ow'ebyensimbi mu gavumenti ey'ekiseera eya Paulo Muwanga okumala akaseera katono, kyokka n'agobwa ku kifo kino Milton Obote . [6] Mu kiseera kino, ye mmemba yekka ow'oku ntikko mu kibiina kya Democratic Party eyawagira UPC mu kiwandiiko eky'awamu nga bawakanya okulonda kw'omwaka ogwo, kwe bagamba nti kwandifuula Uganda eggwanga ery'ekibiina kimu wansi w'obuyinza bw'ekibiina kya Uganda National Liberation Front . [4] [9]
Sebalu yafa mu kiseera nga 31 Ogwolubereberye 2019 terunnatuuka. [10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.newspapers.com/article/the-tennessean-uganda-independence-neari/149294114/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Dietz-1961" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.newspapers.com/article/the-tennessean-uganda-economist-in-vu-se/149294075/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name "The Nashville Tennessean-1961" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.newspapers.com/article/the-miami-herald-slaughter-of-amin-enemi/149293959/
- 1 2 https://books.google.com/books?id=0_pWEAAAQBAJ&dq=%22Lawrence+Sebalu%22&pg=PA161
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Guardian
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Kizza-2011" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
- ↑ https://www.newspapers.com/article/the-daily-telegraph-ugandan-ex-ministers/149293864/
- ↑ https://books.google.com/books?id=YSa7Wxuw50YC&dq=%22Lawrence+Sebalu%22&pg=PA135
- ↑ https://mulengeranews.com/im-too-rich-to-grab-kabaka-mutungo-land-tycoon-tells-land-commission-of-inquiry/