Leila Nakabira
Leila Nakabira, era amanyikiddwa nga Leilah Nakabira (yazaalibwa mu 1993) Munnayuganda, muzannyi wa firimu, omuwandiisi w'emizannyo [1] era omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala. [2] Ye akulira kkampuni ya Lepa Africa Films era nga ye mutandisi w'ekitongole ekigaba obuyambi ekya Leilah Nakabira For Charity Foundation. [3]
Okusoma
[kyusa | kolera mu edit source]Nakabira yasoma essomo lya Quantitative Economics mu Ssettendekero wa Makerere, Kampala, Uganda, gye yatikkirwa. Oluvannyuma lw’ekiseera ng’ali mu mulimu gwa firimu, yasalawo okuddayo okusoma okukola firimu. [4]
Emilimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yetaba mu mpaka z'okusunsulwa n'okuvuganya mu mitendera esatu egy'enjawulo omwali Best Golden Actress (Drama), Golden Most Promising Actor ne Golden Discovery Actor mu mpaka za 2018 Golden Movie Awards Africa (GMAA) ezategekebwa nga 2 Ogwomukaaga, ng’amannya g’abasunsuddwa g'ayitibwa mu Palaise de la culture, Treichville, Abidjan, Côte d’Ivoire, olwa firimu gye yazannyiramu, eyatuumibwa The Forbidden, nga y'afulumizibwa Nampala Claire. [5] [6] Mu mpaka za Zulu Africa Film Academy Awards (ZAFAA) 2018, yasunsulwa mu kanyomero k'omuzannyi asinga okuzannya firimu mu firimu y'emu. [7] Yasunsulwa era n'awangula engule y'omuzannyi asinga mu mpaka za UDADA Women's Film Festival ez'ategekebwa nga 20 Ogwekkumi, 2018, mu Kenya ku firimu y'emu. [8] Yaddamu okusunsulwa mu mutendera gw'omuzannyi asinga mu mpaka za The African Film Festival (TAFF) Awards 2019, ku firimu y'emu. Omukolo guno gwaliwo nga 30 Ogwomukaag mu kifo ekiyitibwa The Moody Performance Hall, 2520 Flora Street, Dallas, Texas, Amerika. [9] ] [10] Era ku filimu y'emu, mu awaadi za Lake International Film Festival (LIPFF) ez'ategekebwa nga 6-9 Ogwekkuminogumu 2009 mu Kenya, yasunsulwa mu mitendera ebiri; Best Child Performer ne Best Actress
Mu lunaku lw'abakyala mu Afrika olwa 2019, y'awa abakyala amagezi obutatya mu kutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Firimu z'eyazannya
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Filimu | Ekifo ky'eyazannya | Ebiwandiiko | Ref. |
|---|---|---|---|---|
| 2018 | The Forbidden | Muzannyi |
Okusiimibwa
[kyusa | kolera mu edit source]| Omwaka | Omukolo | Ekirabo | Ey'akifuna | Alizaati |
|---|---|---|---|---|
| 2018 | GMAA | Omuzannyi wa Zaabu asinga | Ye kennyini | Yasunsulwa |
| Omuzannyi wa Zaabu Asinga okuwa esuubi | Yasunsulwa | |||
| Munnakatemba wa Golden Discovery | Yasunsulwa | |||
| UDADA WFF | Omuzannyi wa firimu asinga | Y'awangula | ||
| ZAFAA | Yasunsulwa | |||
| 2019 | TIFF | Y'awangula | ||
| LIPFF | Yasunsulwa | |||
| Omwana asinze okuzannya | Yasunsulwa |
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.rfi.fr/en/africa/20190731-you-dont-need-validation-just-do-it-ugandan-actress-african-womens-day-message
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201902/four-one-one/curvy-sexy-ugandan-women-named-new-tourist-attraction.html?fb_comment_id=2276607449070492_2278647982199772
- ↑ https://mbu.ug/2019/11/05/fingers-crossed-leilah-nakabira-kenya-bound-for-lipff-awards/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/Magazines/Jobs-Career/Formal-training-qualifications-add-depth-your-natural-talents/689848-5455320-40g6ka/index.html
- ↑ https://mbu.ug/2018/05/23/leilah-nakabira-nominated-thrice-in-the-2018-golden-movie-awards/
- ↑ https://m.scoopernews.com/2018/05/21/2018-golden-movie-awards-africa-nominations-announced/862362
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-11-09. Retrieved 2025-07-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://mbu.ug/2018/10/22/leilah-nakabira-bags-first-award-at-the-udada-film-festival/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-04. Retrieved 2025-07-28.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://mbu.ug/2019/07/03/leila-nakabira-and-claire-nampala-win-big-at-taff-awards-in-usa/
Ebijuiziddwamu eby’ebweru
[kyusa | kolera mu edit source]- Leilah Nakabira ku IMDb
- Leilah Nakabira ku mukuu gwa LinkedIn