Jump to content

Levixone

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Levixone (yazaalibwa mu gwekuminebiri nga 7 1992), ng'amannya ge amatuufu ye Sam Lucas Lubyogo, muyimbi wa nnyimba za ddiini era nga Munnayuganda .[1][2] Awangudde engule eziwerako mu nsi yonna ne mu ggwanga omuli sauti awards eza 2018(USA) ez’omuyimbi omusajja ow’omwaka mu East Africa ne The 2021 Vine awards for Male artistet of the year.[3] Awangudde ebirabo ebisoba mu 51 era Ategese ebivvulu 9 Ebinene ebiwangudde mu byafaayo by'omuziki gwe ddiini mu Uganda Okuva mu 2012.[4][5][6]

Obuto n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Levixone yazaalibwa mu Uganda era obuto bwe obusinga yabumala mu Kosovo,ekitundu ky’enzigotta mu Kampala .[7] Yakulira mu maka g’abaana mukaaga era yamukuzibwa nnyina oluvannyuma lwa kitaawe okufa ng’akyali muto. Levixone okwagala nnyo okuyimba kwatandika ku myaka emito era yatandik okuyimba mu kkanisa ku myaka 10.[7]

LevixoneOmulimu gw’okuyimba

[kyusa | kolera mu edit source]

Levixone yatandika okuyimba mu 2013 bwe yafulumya oluyimba lwe olwasooka “Nonya Omu” olwamanyika amangu. Okuva olwo afulumizza ennyimba endala eziwerako omuli “Ponya”, “Esaala”, “Ani”, ne “Turn the Replay” n’endala. Levixone akoze n’abayimbi abalala abawerako omuli Timeless Noel, Exodus, ne Coopy Bly n’abalala.

Mu 2018, Levixone yawangula engule ya Groove Award ey’omuyimbi w’omusajja ow’omu buvanjuba bwa Afrika. Era abadde asunsulwamu okuwangula engule endala eziwerako omuli n’empaka za Maranatha Global Worship Music Awards eza 2019.[8]

Laba olukalala lw’ezimu ku nnyimba ze. [9][10]  Turn the Replay Ponya Mbeera Esaala Ani More Blessings Ronaldo Hossanah Jungle Chikibombe zikomo Noonya omu Samanya Lanji Wedding story Hope Niwewe Ekyisa Mukutu Yeggwe Unshakable Spin Doctor Tompitako

Engule n’okusunsulwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Engule ya Groove Award eya 2018 ey'omuyimbi omusajja ow'omwaka mu East Africa (Omuwanguzi).[11]
  • 2019 Maranatha Global Worship Music Awards (Eyalondebwa).[11]
  • Omuyimbi asinga okuyimba enjiri (East Africa) mu mpaka za Rhema Awards mu 2021.[12]

Obulamu bw’omuntu ku bubwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu August wa 2025, Levixone yayanjulwa mu famire y’omuyimbi Munnayuganda Desire Luzinda ku mukolo ogw’ekinnansi ogwategekebwa e Matugga mu Disitulikiti y’e Wakiso . Famire zino zaalaga enteekateeka z'embaga nga 15 August 2025.[2]

Nga 15 August 2025, Levixone ne Desire Luzinda baagattibwa ku mukolo ogw’ekyama ku Serena Hotel, Kigo. Embaga eno yakubiriziddwa Omutume Grace Lubega owa Phaneroo Ministries International era nga yeetabiddwaako ab’enganda n’emikwano egy’oku lusegere.[13]

Ebijjuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Levixone". Retrieved 27 December 2014.
  2. 1 2 This reference is used twice on this page. Cite error: Invalid <ref> tag; name ":2" defined multiple times with different content.
  3. Ssejjombwe, Isaac (2021-06-28). "Levixone eats big at Vine awards - Sqoop - Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos". Sqoop - Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos - Life of Uganda's celebrities, lifestyle, music and humour (in American English). Retrieved 2025-04-14.
  4. "Levixone Lala in reggae worship concert". Retrieved 27 December 2014.
  5. "THE "FEEDING KOSOVO CHALLENGE: SEE WHAT LEVIXONE ACCOMPLISHED DURING CHRISTMAS". 26 December 2014. Retrieved 27 December 2014.
  6. "God is my everything - Levixone". God is my everything – Levixone. 9 January 2021.
  7. 1 2 News, Flash UG; Uganda, Flash (2020-10-03). "Levixone: Biography, Songs, Age and Family of Lucas Lubyogo". Flash Uganda Media (in English). Retrieved 2023-12-28. {{cite web}}: |last= has generic name (help)CS1 maint: unrecognized language (link)
  8. Ruby, Josh (2019-05-13). "Levixone wins big at 2019 Maranatha Global Worship Music Awards". MBU (in American English). Retrieved 2025-07-18.
  9. "Levixone New and Old Songs Mp3 Download, Levixone Music Videos - DJ Erycom". www.djerycom.ug. Retrieved 2023-12-28.
  10. "Levixone Songs - Play & Download Hits & All MP3 Songs!". Wynk Music (in Lungereza). Retrieved 2023-12-28.
  11. 1 2 sqoopadmin (2018-07-30). "Levixone named East Africa's best male artist in USA gospel awards – Sqoop – Get Uganda entertainment news, celebrity gossip, videos and photos" (in American English). Retrieved 2023-12-28.
  12. Mwesigwa, Solomon (2021-07-06). "Levixone wins Best Male Gospel artist in Kenya's RHEMA Awards East Africa". MBU (in American English). Retrieved 2023-12-28.
  13. Benjie (2025-08-15). "PHOTOS: Levixone and Desire Luzinda wed in colourful ceremony". MBU (in American English). Retrieved 2025-08-20.