Jump to content

Liam Voice

Bisangiddwa ku Wikipedia

Zisabusolo Willy, amanyiddwa nga Liam Voice, muyimbi Munnayuganda era omuwandiisi w'ennyimba. Yazaalibwa nga 25 Ogw'okuna mu mwaka gwa 1998 mu Disitulikiti y'e Kampala . Amanyiddwa nnyo mu nnyimba z’omukwano era ali wansi wa Cloud Africa Management. [1]

Obulamu n'obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2003, Liam Voice yatandika okusoma era nga yassomera ku ssomero lya pulayimale erimanyiddwa nga St. Augustine Primary School ng'eno gyeyafunira satifikeeti ya PLE. Mu 2011, yeegatta ku Kitebi Senior Secondary School ku ddaala lya O'Level. Ng'ali mu luwummula lwa O'Level, mu 2015, Liam Voice yeegatta ku Goodlyfe Crew eya Radio & Weasle okusobola okukulaakulanya ekitone kye eky’okuyimbi.[2] [3]

Yayiiya ennyimba eziwerako ng’omuyimbi wa Goodlyfe okutuusa mu 2018 lwe yasalawo okwetongola.[4]

Mu 2018, Liam Voice yafulumya vidiyo ye eyasooka ne Weasle okuva mu Goodlyfe Crew era yafuna omukwano mungi okuva mu bawagizi abaali baagala ennyo omugenzi Moses Radio kubanga yalina amaloboozi agafaanagana n’omuyimbi ono omugenzi. Oluvannyuma lw'okukolagana ne Weasle, Liam Voice yafulumya oluyimba lwe olwasooka olwamanyibwa nga "Gwe Abilina" oluyimba lwe yafulumya mu 2019.[5]

Mu mwaka gwa 2020, Liam voice yafulumya oluyimba lwe olumanyiddwa nga "Bus". Oluyimba luno lwayagalwa nnyo era lwamufunisa ebitiibwa eby’enjawulo. Mu 2023, Liam Voice yagatiibwa ku Spotify list of artistes.[6][7][8]

Liam Voice awandiikidde abayimbi nga Vivian Mimi, Aroma, Martha Mukisa n’abayimbi abalala bangi ennyimba eziwerako mu Uganda.[9]

Ku mutendera gw’ensi yonna

[kyusa | kolera mu edit source]

Liam Voice atambudde awamu n'okuyimba mu mawanga ag'enjawulo omuli Bungereza gye yayayimba n'omuyimbi Omunigeria Chike ku siteegi y'emu,[10] yayimba mu Qatar, Turkey, Turkey, Sudan, Dubai, Saudi Arabia, Egypt ne Kenya.[10][11][12]

Mu 2021, Liam Voice yatandikawo ekitongole ky’obwannakyewa ekiyitibwa Live Like Liam (3L). Yakola ddiiru ne Sesa Juice era nawayo ssente ez'obuzirakisa ng'ayita mu 3L foundation. [13]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Iragaba, Apollo (15 March 2022). "7 Things You Didn't know about Liam Voice". Hard Rock Media (in American English). Retrieved 2023-12-13.
  2. Nangobi, Polline (29 September 2021). "Radio's teacher Chagga is my teacher too – Liam Voice". The Observer – Uganda (in British English). Retrieved 2023-12-13.
  3. "Goodlyfe Crew (Radio & Weasel)". Music in Africa (in Lungereza). 18 August 2014. Retrieved 2023-12-13.
  4. Ruby, Josh (3 April 2023). "You said I won't last beyond lockdown – Liam Voice exposes old critics who are now begging for his support". MBU (in American English). Retrieved 2023-12-13.
  5. "Data Cable – Weasel and Liam Voice by Liam Voice, Radio and Weasal Mzikii Download | Ugandan Music Download". mzikii.com. Retrieved 2023-12-13.
  6. "Liam Voice: The Voice Taking Over Uganda's Streets". lifestyleug.com (in American English). 14 January 2023. Retrieved 2023-12-13.
  7. "Spotify names African artists to watch in 2023". Music in Africa (in Lungereza). 3 February 2023. Retrieved 2023-12-13.
  8. Admin (14 December 2021). "Liam Voice proves to be Uganda's hottest vocalist currently". Trusted News Uganda (in American English). Retrieved 2023-12-13.
  9. "Liam Voice Opens up on his Music Inspiration, Comparison to Late Radio Mowzey ⚜ Latest music news online". mdundo.com (in Lungereza). Retrieved 2023-12-16.
  10. 1 2 Kemigisha, Martha (18 June 2023). "Liam Voice and Chike hangout in London". Pulse Uganda (in Lungereza). Retrieved 2023-12-13.
  11. https://en.wikipedia.org/wiki/Liam_Voice#cite_note-11
  12. https://en.wikipedia.org/wiki/Liam_Voice#cite_note-12
  13. "Singer Liam Voice Signs His First Juicy Ambasadorial Deal, Pockets Millions From Sesa Juice". blizz.co.ug. Archived from the original on 2023-12-13. Retrieved 2023-12-13.