Lillian Nakate
Lillian Nakate Segujja (yazaalibwa 11 Ogwomunaana 1978) ng'amanyiddwa ennyo nga Lillian Nakate, Munnayuganda yinginiya era munnabyabufuzi nga yaliko Omubaka wa Paalamenti ng'omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Luweero mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi (2016 okutuuka 2021). [1][2]
Obute bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Nakate yazaalibwa Wobulenzi, mu Disitulikiti y'e Luweero, mu kitundu ky'amasekkati ga Uganda, nga 11 Ogwomunaana 1978. [3]Bazadde be ye mugenzi Francis Segujja ne Annet Segujja. Yasomera mu ssomero lya Wobulenzi Parents' School mu pulayimale. Yagenda mu masomero agawera mu misomo gye egya siniya, omuli Saint John’s Secondary School e Nandere mu Disitulikiti y’e Luweero, Mulusa Academy Secondary School e Wobulenzi, n’amalira mu Luteete Secondary School e Bamunanika, gye yatuula ebigezo bye ebya O-Level . Oluvannyuma yaddayo mu Mulusa Academy okusoma A-Level .[4]
Yewandiisa mu ttendekero lya Uganda Polytechnic Kyambogo, oluvannyuma eyafuuka ekitundu ku Yunivasite y'e Kyambogo gye yasomera dipuloma mu kukuba pulaani z'ebizimbe eya Diploma in Architectural Draftsmanship, n’atikkirwa mu 2000. Mu 2007, yatikkirwa mu Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya gavumenti esinga obunene era enkadde mu Uganda, n’afuna diguli ya mu kuzimba enguudo eya Bachelor of Science (BSc) in Civil Engineering. Diguli eyo yagyongerezaako diguli ey'okubiri ya Master of Science (MSc) mu mulimu gwe gumu, mu yunivasite y’emu, n’atikkirwa mu 2011. Alina ne Certificate mu Project Planning and Management, eyamuweebwa aba Institute of Statistics and Applied Economics mu Ssettendekero wa Makerere, mu 2008. Satifikeeti ye mu by’ensimbi n’okuddukanya bizinensi mu kuzimba enguudo yamuweebwa mu 2013, okuva mu Multitech Business School mu Kampala, Ekibuga ekikulu ekya Uganda.[5]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Gye yatandikira
[kyusa | kolera mu edit source]Nakate yasooka kukola nga omukubi w’ebifaananyi era ng'akwasaganya ebiwandiiko mu ofiisi za Tectura International Planners, Architects and Project Managers mu Kampala, Uganda, gye yakolera okumala omwaka gumu, okuva mu 2000 okutuuka mu 2001. Oluvannyuma yakola nga yinginiya ow'okubiri (Assistant Engineering Officer) mu gavumenti eya wakati mu Disitulikiti y'e Luweero okumala emyaka etaano, okuva mu 2001 okutuuka mu 2006. Mu 2007, yalondebwa nga yinginiya w'e kibuga (Town Engineer) kya Wobulenzi Town Council, n’aweereza mu kifo ekyo okumala emyaka ena egyaddirira. Mu kiseera kye kimu yali aweereza nga Yinginiya ow'ekiseera owa Disitulikiti mu Disitulikiti y’e Luweero.
Mu 2011, yaddayo okukola mu bitongole by’obwannannyini nga kalabaalaba w'ebizimbe ebizimbibwa mu kkampuni ya Bestway General Contractors, kkampuni y’ensi yonna ey’okuzimba ng’ekolera ne mu Uganda. Mu 2012, yakyusa n’agenda mu Parrot 50 Uganda Limited, n’akola nga Dayirekita avunaanyizibwa ku by’obuyinginiya, okutuusa mu 2016. Mu kiseera kye kimu yaweereza nga yinginiya ey'ebuzibwako ku by'enguudo mu UB Consulting Engineers Limited, kkampuni enzaaliranwa ekola ku by’okwebuuza ku bayinginiya.
Emirimu gye egy'ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2016, Nakate yeegatta ku byobufuzi bya Uganda eby’okulonda bwe yavuganya ku kifo ky’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Luweero, ku kibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement . Yalondeddwa, n’awangula Brenda Nabukenya owa Democratic Party (Uganda) . [6] Mu Paalamenti ey'ekkumi, Nakate mmemba ku kakiiko ka Paalamenti akakola ku bya ssaayansi ne tekinologiya era ye mumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti akavunanyizibwa ku bizimbibwa mu Ggwanga . [7] [8]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Lillian Nakate mufumbo era maama w’abaana basatu, omuli omugogo gw’abalongo, abazaalibwa mu 2007 ne muganda waabwe (Kizza), eyazaalibwa oluvannyuma lw’omwaka gumu. [9]
Laba ne bino
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/former-mps-lillian-nakatte-florence-kintu-switch-to-wakiso-constituencies-
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/luweero-to-vote-mp-for-5th-time-in-6-years-1654738
- ↑ https://www.bornglorious.com/person/?pi=44231567
- ↑ http://observer.ug/lifestyle-entertainment/politics-has-taught-lillian-nakate-calmness/
- ↑ https://news.mak.ac.ug/wp-content/uploads/2013/01/Makerere-63rd-Graduation-List-Full_0.doc
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/former-mps-lillian-nakatte-florence-kintu-switch-to-wakiso-constituencies-
- ↑ http://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=338
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/luweero-to-vote-mp-for-5th-time-in-6-years-1654738
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/AllAfrica.com
Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Omukutu gwa Paalamenti ya Uganda
- Lillian Nakate ku mukutu gwa yintaneeti