Jump to content

Lilly Ajarova

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lilly Ajarova (yazaalibwa mu 1969) munayuganda omulwanirizi w'obutonde era omukugu mu by'obulambuzi. Y'avunaanyizibwa ku ndabika y'ekitongole ekya Uganda Tourism Board (UTB), ekitongole kya gavumenti ekivunaanyizibwa ku ku kutumbuula eby'obulambuzi. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 10 Ogusooka 2019.

Nga kino tekinnabaawo, okuva mu 2005 okutuuka mu 2019, yaweereza nga Senkulu w'ekitongole ekya Chimpanzee Sanctuary & Wildlife Conservation Trust, nnannyini/omukozi wa Ngamba Island Chimpanzee Santuary, ku Nnyanja Victoria.

Ebyafaayo n'okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Uganda ku ntandikwa ya 1969 (Ogusooka oba Ogw'okubiri). Yasomera mu masomero ga pulayimale ne sekendule ag'omu kitundu. Yasomera mu Makerere University, yunivaasite y'eggwanga esinga obunene , n'afuna diguli esooka eya Sayansi mu Psychology and Sociology. Diguli ye ey'okubiri eya Business Administration, yagifuna okuva mu Eastern and Southern African Management Institute (ESAMI), mu 2004. Lilly era alina dipulooma mu Hotel and Tourism Management okuva mu International Institute of Tourism and Management mu Austria. Mu ngeri y'emu, alina satifikeeti mu bumanyirivu obw'ensonga z'akakiiko, okuva mu Oslo ne Akershus University College of Applied Sciences.

Okumala emyaka egisukka mu 8, okuva mu 1996 okutuuka mu 2005, Ms Ajarova yakolerako mu Uganda Wildlife Authority, ng'omukulu w'okukulaakulanya eby'obulambuzi n'okubitunda. Mu kifo ekyo, yalina obuvunaanyizibwa obw'okukulaakulanya obuweereza bw'abalambuzi mu bifo by'obulambuzi mu Uganda.

Okuva eyo yagenda mu kitongole ekya Chimpanzee Sanctuary & Wildlife Conservation Trust, gye yali Senkulu w'ekitongole okumala emyaka kkumi n'ena. Ng'ali eyo, yaweereza ng'omu ku b'akakiiko k'eby'obulambuzi mu ggwanga aka Uganda Tourism Board. Ye yali ssentebe w'akakiiko akaategeka n'okulondoola wooteeri z'omu Uganda mu 2015.

Mu Ogusooka ogwa 2019, yalondebwa okukulira UTB, mu kifo kya Stephen Asiimwe. Omumyuka we mu UTB ye Bradford Ochieng. Dr. Joshua Rukundo yamuddira mu bigere ng'omukulu w'ekitongole kya Chimpanzee Sanctuary Trust. Yawaayo ofiisi eyo nga 5 Ogwokusatu 2019.

Ebirala bye balowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

(1) Ekirabo kya National Golden Jubilee Award 2015

(2) Ekirabo kya Tourism Excellence Award 2017

(3) Ekirabo ky'okukuuma ebisolo 2017

(4) Omuwanguzi w'eggwanga mu kitongole kya Welfare & Civil Society Organization ekya CEO Global's Most Influential Women in Business & Government, 2018 Awards

Ebyawandiikibwa

[kyusa | kolera mu edit source]