Olukalala lw'abakola ennyimba mu Uganda
Okufulumya ennyimba mu Uganda kukulakulanye nnyo era kulongoose okumala emyaka. Abafulumya ennyimba bangi beegasse ku mulimu guno okumala emyaka nga kino kiviiriddeko omulimu gw'okufulumya ennyimba okukula amangu mu Uganda. Uganda eyongedde okufuna ab'ebitone by'okufulumya ennyimba abapya abawera, ate nga ekuuma abalina obumanyirivu mu kufulumya ennyimba ababadde bayooyoota ekisaawe ky’okuyimba mu Uganda n’ennyimba ez’amaanyi okumala emyaka. [1]
Abamu ku bafulumya ennyimba abamanyiddwa mu Uganda kuliko; [2]
Benon Mugumbya yaliko omu ku bafulumya ennyimba abasinga okumanyika mu Uganda . Ono ye mutandisi w'ekitongole kya Record label Swangz Avenue ekimu ku bisinga okukwata ennyimba mu Uganda . [3] [4]
Paddy Kayiwa Mukasa amanyiddwa n'erinnya lye erya siteegi Paddymanmunnayuganda afulumya ennyimba . yatandika omulimu gw'okufuylumya ennyimba mu 2005 ng'ava mu bitundu by'e Kawempe mu Kampala. Okuva olwo abadde amanyiddwa nnyo era atuuse ku buwanguzi bungi mu mulimu gwe. [5] [6]
Hannington Muhumuza Wacha era amanyiddwa nga Producer Hannz munnayuganda afulumya ennyimba era DJ . Yatandika omulimu gwe ogw'okufulumya ennyimba mu muzigo gwe ku Yunivasite . Oluvannyuma yeegatta ku Audio Institute America(AIA) okukuguka mu kufulumya ennyimba era okufuuka yinginiya w’amaloboozi . [7] [8]
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/entertainment/the-creative-and-technical-aspects-of-music-production-4572712
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/is-song-sampling-becoming-the-new-trend-in-ug-NV_185020
- ↑ https://mbu.ug/2024/03/04/benon-mugumbya-swangz-avenue/
- ↑ https://mbu.ug/2024/03/04/benon-mugumbya-swangz-avenue/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/entertainment/paddyman-asks-artistes-to-share-royalties-wit-NV_181751
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/producer-paddy-man-wanted-to-be-in-the-army-1674472
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201207/features/date-with-a-celeb-producer-hannz-tactiq-meets-fan-deejay-fyzo.html
- ↑ https://www.sqoop.co.ug/201606/features/producer-hannz-tells-fan-why-he-is-mia.html