Jump to content

LivingStone International University

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

LivingStone International University (LIU) Yunivasite y’obwannannyini eri ku musingi gw'obutakola magoba era ey’Abakristaayo eyatandikibwawo mu Mbale Uganda. Okwolesebwa kw'ava mu baminsani b’Ekanisa za Kristo ez’Endagaano Empya abaalaba obwetaavu bw’okubeera n’obuyinza obusingawo nga bayita mu kusomesa ebitundu bisobola okulongoosebwa ku lwa Kristo.

Gy'esinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

LIU esinganibwa wabweru wa Mbale ku Poloti namba 563, Nyanza South – Kamonkoli Mugiti S/C, Disitulikiti y’e Budaka. Endagiriro ya LIU zeezino ng'okozesa bibalo 1°04'26.0"N, 34°06'54.0"E (Latitude: 1.0793922; Longitude: 34.109314).

Ekibangirizi ekipya eky'etendekero lino ekiweza yiika 50 kisangibwa wabweru wa munisipaali y’e Mbale ku luguudo olukulu olugenda mu bukiikaddyo bw'oba oyolekera Kampala. Enteekateeka enkulu ey'etendekero litekeddwa mu nkulakulana ey'okuzimba etendekero erinawereza abayizi 4,000. Endagiriro y'omulyango gwa yunivasite ey'olubeerera ze zino: 1°04'26.0"N, 34°06'54.0"E (Latitude: 1.0793922; Longitude: 34.109314).

LIU yaweebwa ebaluwa ey’okukola emirimu gyayo oy'ekiseera okuva mu kitongole kya Uganda Ekivunaanyizibwa ku By'emirirmu gy'Eby'enjigiriza Byawagulu okutandika okukola mu 2008. E Mbale 2010, oluvannyuma lw’okukeberebwa n’okubuuzibwa ebibuuzo n’amaanyi, yaweebwa layisinsi ey’ekiseera, eyali ekiriza LIU okuyingiza abayizi n’okuwa diguli. Enteekateeka z'okufuna ebisaanyizo by'okukola emirimu gyayo bikyagenda mu maaso. Diguli zonna zakirizibwa ab'ekitongole ekigaba ebisaanyizo eri amatendekero ga wagulu era twesunga okugaziwa mu biseera eby’omu maaso nga Katonda bw’atuwa.

LivingStone International University enoonya okukyusa Afrika ng’eyita mu by’enjigiriza obwa wagulu ebiteekeddwa ku mutindo gw'eby'enjigiriza bya Kristo era ekirubirirwa kya LIU kugenda mu maaso mangu n’emirimu emingi egirina okukolebwa ku ttaka eriweza yiika 56 nga lino lyafunibwa mu kifo ekikulu ku nguudo ennene okuva e Mbale okudda e Jinja okulinaana Mbale.

Enkulaakulana ya pulaani y'ettendekero ekoleddwa mu bizimbe eby’omulembe, ebitaliiko kamogo ng’ekimu ku pulaani enkulu eyakolebwa ekitongole kya Engineering Ministries International okusobola okusikiriza abayizi okubeera n'abayizi abawera okutuuka ku 4,000 mu myaka 15. Yunivasite eno yaggulawo enzigi z’ekibiina ky'abayizi abasooka mu Gwoluberyeberye nga 16 mu 2012.

LivingStone International University tendekero eririna akakwate ku yunivasite y’Abakristaayo mu Uganda. Kikwata ku ddiini era kya Bukristaayo mu bulambulukufu mu linnya lyayo, mu kiwandiiko kyakyo eky’obutume, ne mu byawandiikibwa byakyo: 1Petero 2:4-5.

Eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

LIU egaba pulogulaamu za diguli ne diploma mu masomero gamirundi etaano. Amasomero agemirundi etaano ge gano: Esomero ly’Eby'obusuubuzi, Esomero ly’Obuweereza bw’Ekikristaayo; Esomero ly'Eby'enjigiriza, Esomero lya Kompyuta n'Ebikwatagana ku Tekinologiya, Esomero lya Tekinologiya w'Emikutu gy'Amawulire n'Esomero ly'Eby'obulimi. Yunivasite eno era egaba omusomo gwa satifikeeti mu by’Emikutu (Cisco CCNA) n’Eby'okwerinda emala emyezi mukaaga okutuuka ku mwenda, Olungereza ng’Olulimi olw’Okubiri eri abayizi abava mu mawanga ng'olulimi lwabwe olutongole ssi Lungereza, nga kino kimala emyezi mukaaga nga kuno kwekuli n'emasomo emirala egitwaala akaseera akatono.

Webwatukira mu Gwomusanvu 2025, LIU yali esomesa emisomo gino wammanga egya diguli

Esomero lya Kompyuuta ne Tekinologiya n'Ebimukwatako

  • Diguli mu Sayaansi mu Tekinologiya n'Ebimukwatako
  • Diguli mu Sayaansi mu Nkola z’Amawulire
  • Dipulooma mu Tekinologiya n'Ebimukwatako
  • Satifikeeti mu Tekinologiya n'Ebimukwatako

Esomero ly'Ebyamawulire n'Emikutu gy'Amawulire

  • Diguli mu Sayaansi mu Mawulire ne tekinologiya w’emikutu gy’amawulire
  • Dipulooma mu Tekinologiya w’emikutu gy’amawulire

Esomero ly'Okudukanya Bizineensi

  • Diguli mu By'okudukanya Bizineensi
  • Dipulooma mu By'okudukanya Bizineensi

Esomero ly'Eby'enjigiriza

  • Diguli mu by'emisomi egy'enjawulo mu By'enjigiriza
  • Diguli mu by'emisomi egy'enjawulo n'Ebyenjigiriza n'Olukiswahili
  • Dipulooma mu By’enjigiriza bya Sekondale

Enteekateeka eziri mu Buweereza

  • Digulu mu By'enjigiriza bya Pulayimale - Emisomo gy'Eby'emikono
  • Diguli mu By'enjigiriza bya Pulayimale - Abaana abato
  • Digulumu mu By'enjigiriza bya Pulayimale - Sayaansi

Esomero ly’Obuweereza bw’Ekikristaayo

  • Diguli mu Buweereza bw’Ekikristaayo
  • Dipulooma mu Buweereza bw’Ekikristaayo

Esomero ly’Ebyobulimi

  • Diguli mu Sayaansi mu By’obulimi
Mwaniriziddwa mu Livingstone International University