Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo
Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo 4 Ogwekkumi 1938 [1] – 5 Ogusooka 2018 yali mulabirizi w'aba Polotesitanti mu Uganda. Yaweereza nga Ssaabalabirizi era Primate w’Ekkanisa ya Uganda okuva mu 1995 okutuuka mu 2004. Yali mufumbo eri Ruth Nalweyiso, okuva mu 1965 okutuusa lwe yafa, era abafumbo bano baazaala abaana bataano, nga ku bano omu y'amusooka okufa. [2]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Nkoyoyo yali omu ku baana 25 aba Erisa Wamala Nkoyoyo eyali Omukulu w'Essaza ku mulembe gwa Sekabaka Edward Mutesa II . Yakulira mu maka magagga, kubanga kitaawe yali omugagga nnannyini ttaka. [3] Yasomera ku Mpenja Primary School, e Gomba, Aggrey Memorial School ne Mityana Junior Secondary School. Yasenguka nnyo olw’emirimu gya kitaawe era yalina okuva mu ssomero ng’amaze okusoma Junior Secondary School. Oluvannyuma yatandika okukola nga makanika w’emmotoka, nga guno gwe yali ayagala oukola obulamu bwonna. [4]
Obuweereza bwe mu Kkanisa
[kyusa | kolera mu edit source]Yawulira okuyitibwa kwe okw’eddiini mu nkambi y’abavubuka, ku kkanisa y’e Ndoddo, mu Disitulikiti y’e Gomba. Nga wayiseewo akaseera katono, yafuuka omuweereza mu kkanisa ekiseera kyonna, nga yatandika ng’omusomesa w’ekkanisa. Oluvannyuma lw’okugenda mu musomo gw’okutendekebwa mu kutuuzibwa, yatuuzibwa ku bwa dyankoni w’aba Polotesitanti, e Namugongo, nga 3 Ogwomukaaga 1969. [5]
Yaweereza nga omuyambi w'Omulabirizi mu Bulabirizi bwe Namirembe, n’afuuka Omulabirizi eyasooka mu Bulabirizi bw’e Mukono, mu 1983. Yalondebwa mu Lukiiko lw’Abalabirizi b’Ekkanisa ya Uganda okubeera Ssaabalabirizi waabwe ow’omukaaga era Primate, mu 1995. Yali w'akubeera mu ofiisi okutuusa nga 24 Ogusooka 2004. Yaweebwa engule ya Bible Leadership Excellence Award okuva mu kibiina kya Bible Leadership Excellence Award Uganda, mu mwaka gwa 2015. [5]
Okufa kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yafuna obujjanjabi obulungi obwa kookolo mu Great Britain ku ntandikwa ya 2017. Yafa ekirwadde ky'amawuggwe ekya pneumonia, mu ddwaliro lya Kampala Hospital, nga wa myaka 79. [6] Yaziikibwa mu kiggwa ky'abajulizi abakulisitaayo ekya Uganda Martyrs Anglican Shrine e Namugongo, nga 9 Ogusooka 2018. [7]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://books.google.com/books?id=bMt8AAAAMAAJ&q=Livingstone+Mpalanyi+1938
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1468506/archbishop-nkoyoyo-dead
- ↑ http://www.newz.ug/retired-archbishop-livingstone-mpalanyi-nkoyoyo-is-dead/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2018-04-13. Retrieved 2025-10-18.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - 1 2 https://web.archive.org/web/20180106120407/http://www.anglican.ink/article/livingstone-nkoyoyo-dead-80
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Retired-Archbishop-Nkoyoyo-dies/688334-4251942-155lluj/index.html
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Museveni-religious-leaders-Archbishop-Nkoyoyo/688334-4254918-38w4r0z/index.html
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Template:S-rel Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end