Jump to content

Lokii John Baptist

Bisangiddwa ku Wikipedia
Lokii John Baptist
omuntu
Ekikulamusajja Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga11 Gwakkumi(Mukulukusabitungotungo) 1968 Kyusa
Gy'azaalwaMoroto Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi, legislator Kyusa
Ekifo ky'alimuOmubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa
Okwesiimbawo kwe mu kaluluAkalulu ka Uganda aka 2026 Kyusa
Mmemba wa12th Parliament of Uganda Kyusa

Dr. Lokii John Baptist Munnayuganda, musawo w’ebisolo, munnabyabufuzi era mmemba wa Paalamenti ey’ekkumi n’ebbiri ng’akiikirira abantu b’omu Ssaza ly’e Matheniko mu Disitulikiti y’e Moroto era akola nga omumyuka wa ssentebe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) ow'ekitundu kye Karamoja. Mu Gwokutaano 2026, yalondebwa Pulezidenti Yoweri Museveni okubeera Minisita ow'ensonga ze Karamoja okuweereza okumala ekisanja 2026–2031.[1][2][3]

Dr. Lokii John Baptist akola ng'omubaka wa Paalamenti akiikirira abantu b'essaza ly'e Matheniko mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi n'emu era akola nga Ex Official ku akakiiko ka Karamoja Peace And Technology University council (KAPATU).[4] Y'omu ku baminisita abaakalondebwa okukiikirira ekitundu kya Karamoja nga Minisita mu gavumenti ya National Resistance Movement.[2]

Ebirala ebikulu

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng’omukulembeze, Dr. Lokii y'enyigidde mu nsonga z’abantu b’omukitundu ez’okukukusa abantu mu Karamoja era ayambye okuyingizaamu ab’obuyinza okuli ne Paalamenti ya Uganda okukola ku nsonga eno.[5] Y'ennyingidde mu kusenza abantu b'omu Disitulikiti y’e Moroto ng’ayagala ebiwandiiko n’obukakafu okuva mu minisitule y’emirimu n’entambula mu kaweefube waabwe ow’okutandikawo ettendekero lya Gulu University constituent college mu Disitulikiti y’e Moroto okuva ettaka lino lwe lyali ery’abantu bonna.[6] Lokii era alondoola pulojekiti za gavumenti nga Parish Development Model mu Karamoja Sub-region okwekenneenya enkola yaayo ey’okweyimirizaawo mu kitundu n’okuwa gavumenti lipoota ku nkulaakulana ya pulogulaamu ng’ezo.[7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kazibwe, Kenneth (2026-06-09). "Uganda: New Cabinet Members Sworn-in, Set for Orientation At Kyankwanzi". Nile Post (in Lungereza). Retrieved 2026-06-11.
  2. 1 2 "Museveni unveils new Cabinet, retains Nabbanja, Alupo and Janet in key reshuffle". Monitor (in Lungereza). 2026-05-26. Retrieved 2026-06-11.
  3. REPORTER, JOSEPH NSIMBI | UG STANDARD (2026-06-09). "PHOTOS: Museveni presides over swearing-in ceremony of new cabinet". UG Standard - Latest News (in American English). Retrieved 2026-06-11.
  4. "Hon. Lokii John Baptist (MP) - KAPATU Project" (in British English). 2024-08-10. Retrieved 2026-06-11.
  5. "Gov't tasked to probe sale of Karamojong girls". The Independent Uganda (in American English). 2019-12-04. Retrieved 2026-06-11.
  6. Reporter, Independent (2021-03-12). "Gulu university, ministry of works embroiled in land dispute". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2026-06-11.
  7. "Ateker Moroto FM Radio". atekerfm.com. Archived from the original on 2026-04-19. Retrieved 2026-06-11.