Lorna Magara
Lorna Magara Munnayuganda munnabyanjigiriza era ye mukyala eyasooka okulondebwa kubwa sentebe w'olukiiko olufuga Yunivasite y’e Makerere okuva yunivasite eno lwe yatandika mu 1922. Yasooka okulondebwa ku kifo kino nga 20 Ogwekkumineebiri 2018 ku kisanja kya myaka ena oluvannyuma ekyazibwa obuggya mu mwaka 2022.[1][2][3]Olukiiko Magara lwakulembera lutuulako abantu 27 era lweluvunanyizibwa ku nzirukanya y'emirimu era nga luvunaanyizibwa okusalawo eky'enkomeredde mu byonna. [4] [5]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa Hezron ne Catherine Kakuyo mu 1966 era mu buto bwe yabeeranga Jinja mu buvanjuba bwa Uganda.[6][7] Okusoma ku mutendera gwa pulayimale yali Victoria ne Berkley oluvannyuma gyeyava okwegatta ku Gayaza High School okumala emyaka mukaaga egy’obuyigirize bwa siniya. [7] Magara bweyava e Gayaza yagenda ku yunivasite y’e Makerere mu 1985, gye yatikkirwa diguli ya Bachelor of Arts n’afuna Dipuloma mu by’enjigiriza mu 1988. [8]
Diguli ye eyookubiri ekwatagana na by'abukulembeze n'enzirukanya y'e bitongole, era yajisomera ku Uganda Christian University, mu Disitulikiti y'e Mukono . Ng’oggyeeko ekyo, alina satifikeeti eziwerako mu bukulembeze n’ebyenjigiriza okuva mu matendekero agenjawulo mu Uganda kwossa namalala okwetoloola ensi yonna. [8]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu myaka omukaaga egyasooka nga yaakatandika okukola, okuva mu 1989 okutuuka mu 1995, Mukyala Magara yaliko omukungu avunaanyizibwa ku bakozi mu mu kittavu kyabakozi ekya Uganda National Social Security Fund (NSSF). Mu kifo kino, yali omu ku bantu abatandikawo ekitongole ekivunaanyizibwa okutendeka n’okutekateeka abakozi mu NSSF. [8]
Oluvannyuma lw’ekyo, yafuuka omu beebuuzibwako ensonga mu kkampuni y’obwannannyini eya Destiny Consult Limited nga evunaanyizibwa ku kutendeka bukulembeze era obuvunaanyizibwa buno yabumalamu emyaka 12 okutuuka mu 2008. [8]
Mu 2008 yeegatta ku African Kingdom Business Forum (AKBF), ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutendeka abantu obukulembeze. Era yatandika okukola ng’omusomesa mu Sundolous African Leadership Training Program (SALT) nga nabo baali mu bya kutendeka bakozi. [8]
Ku bwa Ssentebe w'olukiiko lwa yunivasite y'e Makerere yalondebwa n'abala okuli omumyuuka we Daniel Kidega eyali sipiika w'olukiiko lw'ababaka ba Palamenti mu buvanjuba bwa Afrika . [4] [5]
Ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]Magara ye mutandisi era omukulu w’essomero lya Vine International Christian Academy erisangibwa e kungu mu munisipaali ye Kira mu Wakiso District, mu Buganda e Uganda. [8] [9]
Y'omu kubaddukanya kkampuni ya Jubilee Dental Limited eyina amalwaliro g'amannyo asatu mu Uganda n'erimu e Kigali ekya Rwanda . Ono ye mukiise wa ssemazinga Africa mu kitongole kya Accelerated Education Enterprise era akulira ekitongole kyekimu mu Uganda. Yakwasaganya emirimu gya International Certificate for Christian Education mu Uganda. [8] [10]
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Lorna Magara mukyala mufumbo era bba ye Dr. James Magara era balina abaana bana okuli abalenzi basatu n’omuwala omu. [7] Magara alina oluganda ku Allen Kagina ne Jocelyn Kyobutungi Rugunda (mukyala w'eyaliko Ssaabaminisita wa Uganda Ruhakana Rugunda ) wamu ne Caleb Kakuyo eyali akulira eby'obusuubuzi mu kkampuni y'eggwanga ezimba eya National Housing and Construction Company[6]
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/lorna-magara-first-woman-at-the-helm-of-makerere-s-governing-body-1816560
- ↑ https://news.mak.ac.ug/2018/12/mrs-lorna-magara-elected-chairperson-of-makerere-university-council/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/lorna-magara-re-elected-makerere-university-council-chairperson
- 1 2 Paul Ampurire (22 December 2018). "Lorna Magara Elected First Female Chairperson Of Makerere University Council". Soft Power Uganda. Retrieved 23 December 2018.
- 1 2 Mukhaye, Damali (21 December 2018). "Magara is new Makerere council chairperson". Retrieved 23 December 2018.
- 1 2 "Kakuyo the fallen hero who left an indelible legacy". Uganda Press REVIEW®. 22 February 2019. Archived from the original on 30 March 2019. Retrieved 30 March 2019.
- 1 2 3 Kyama, Eric (30 March 2019). "Lorna Magara: First woman at the helm of Makerere's governing". Retrieved 31 March 2019.
- 1 2 3 4 5 6 7 New Vision Staff (22 December 2018). "Magara Takes Over Makerere Council, But Who Is She?". Retrieved 23 December 2018.
- ↑ Vine International Christian Academy (23 December 2018). "About Vine International Christian Academy". Vine International Christian Academy. Archived from the original on 31 December 2018. Retrieved 23 December 2018.
- ↑ The Independent (21 December 2018). "Lorna Magara voted new Makerere University Council Chairperson". Retrieved 23 December 2018.