Jump to content

Lubwa p'Chong

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lubwa p'Chong (20 Ogwomunaana 1946 – Ogwokubiri 1997) yali Munnayuganda omuwandiisi w'emizannyo era mutontome. Yatandikawo era n’okusunsula akatabo ka Nanga, magazini y’ettendekero ly’abasomesa mu ggwanga, Kampala, era yawandiika akatabo Dhana, magazini y’ebiwandiiko mu yunivasite y’e Makerere . Ebitontome bye bifulumye mu magazini za East Africa ne mu bitabo by'abawandiisi. [1] [2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Cliff Lubwa P'chong yazaalibwa Gulu Uganda. [3] Yasomera mu Koc Goma Primary School, oluvannyuma ebibiina bya siniya eby'awansi yabisomera ku Gulu High School nga tannayingira Sir Samuel Baker School, Gulu, okusoma siniya ey'okuna, oluvannyuma yegatta ku ttendekero ly'abasomesa erya National Teachers' College e Kyambogo gye yafunira ebisaanyizo by'okusomesa ekibiina eky'okutaano mu 1969, nga tannasindikibwa mu St Charles Lwanga SSS e Koboko. Mu 1976 yafuna diguli mu by’ebiwandiiko n’ennimi okuva mu Yunivasite ey’ettutumu ey’e Makerere, nga tannagenda mu yunivasite y'e Durham ne Exeter . Yali omu kubawandiisi abayiiya mu Yunivasite y’e Iowa (1987), era yasomesa mu katemba mu by’enjigiriza mu ttendekero ly’ebyenjigiriza by’abasomesa, Kyambogo. [4] Okusomesa kwe okwasooka yakusomesezaa eyo mu Kyambogo. Yasomesa okumala emyaka egiwerako, n’oluvannyuma n’asoma ebiwandiiko n’ennimi mu yunivasite y’e Makerere.

Emirimu gye egy'obuwandiisi

[kyusa | kolera mu edit source]

Emizannyo gye egya Generosity Kills ne The Last Safari (1975) gyagobererwa Words of My Groaning (1976), ekifaananyi ky’obulamu mu Afrika eyetongodde. Emizannyo gye emirala mulimu Minister's Wife (1982), The Bishop's Daughters (1988), Do Not Uproot the pumpkin (1987), Kinsmen and Kinswomen (1988) ne The Madman (1989). Lubwa era afulumizza omuko "Okot p'Bitek: Olugero lw'obuwangwa bw'Abacholi", mu Uganda: The Cultural Landscape, ekyasengekebwa Eckhard Breitinger (1999). [5] [6]

Emirimu gye egy'afulumizibwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  • The Mad Man. 1988.
  • Kinsmen and Kinswomen. Crane Publishers. 1988.
  • The Bishop's Daughters. 1988.
  • Do Not Uproot the Pumpkin. 1987.
  • The Minister's Wife. New Expression Press. 1983.
  • Words of My Groaning. East African Literature Bureau. 1976.
  • Generosity Kills and The Last Safari: two plays. Longman. 1975.
  • The Last Safari. 1975.

Obyogerwa ku bitabo bye

[kyusa | kolera mu edit source]
  • "Okot p'Bitek: Ensengeka y'obuwangwa bw'Abaacholi mu biwandiiko bye", in Eckhard Breitinger, ed. (1999). Uganda: the cultural landscape. Fountain Publishers. ISBN 9783927510302.(1999). Uganda: the cultural landscape. Fountain Publishers. ISBN 9783927510302.
  • A biographical sketch in Artist, the Ruler: Essays on Art, Culture and Values. East African Publishers. 1986.East African Publishers. 1986.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.