Jump to content

Lucian Usher-Wilson

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lucian Charles Usher-Wilson yazaalibwa nga 10 Ogwokutaano mu 1903, n'afa nga 28 Ogwomunaana mu 1984 nga yali mulabirizi Omungereza mu Kanisa eyaweereza mu Uganda mu makati g’ekyasa kya 20 n’oluvannyuma mu Bungereza.[1]

Usher-Wilson yasomesebwa ku Lincoln College, Oxford. Yatuuzibwa ng'omu kubaali bakulira eddiini mu 1927 ate nga Faaza mu 1929.[2] Yali musomesa mu King’s College, Budo okuva mu 1927 okutuuka mu 1933; era nga muminsani w'Ekaniza okutuusa bwe yalondebwa okusikira Arthur Kitching ng’Omulabirizi w’obulabirizi w'ebitundu bya Upper Nile mu 1936. [3] Yatukuzibwa ng’omulabirizi nga 28 Ogwekumi mu 1936, mu Lutikko lwa St Paul ng'omukolo guno gwakolebwa Cosmo Lang, eyali Ssaabalabirizi w’e Canterbury.[4]

Wansi w'enteekateeka ye, Obulabirizi bw'omubitundu bya Upper bwakutulwaamu mu 1961 era Usher-Wilson n’asigala ng’omulabirizi w’essaza ly’ekitundu ekimu, oluvannyuma ekyatitibwa, bw'atyo n’afuuka Omulabirizi w’e Mbale eyasooka;[5] yalekulira ekifo ekyo mu 1964 [6] n'afuuka Vicar wa Churt era Omumyuuka w'Omulabirizi wa Guildford. Bweyawummula n’agenda e Westbury-on-Trym mu 1972, ye yali omulabirizi eyali asinga okuweereza mu kiseera ekyo mu kanisa yonna; n'afuuka omumyuuka w'omulabirizi ow'ekitiibwa mu Bulabirizi bw'e Bristol. [7] Yalondebwa okuba Commander of the Order of the British Empire (CBE). [1]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Template:Who's Who
  2. Crockford's Clerical Directory 1963/4 p813: London; OUP; 1963
  3. Template:Church Times
  4. Template:Church Times
  5. 'Bishop Lucian Usher-Wilson' The Times (London, England) Friday, 31 August 1984 Issue 61924p. p12 Obituaries
  6. Template:Church Times
  7. Template:Church Times