Jump to content

Lugajambula (Predator)

Bisangiddwa ku Wikipedia
Carnivora Diversity

Okugajambula kitegeeza okukwata eky'okulya eky'ennyama n'amaddu mangi n'okiyizayuzaamu obufi okukirya. Abantu tebagajambula nsolo gye bagenda kulya wabula bagibaaga mu ngeri etagirumya nnyo nga bosooka kugisalako mutwe mu bwangu awatali kugiyuzayuza mu ngeri ey'okugirumisa ennyo.

Okusinziira ku Muwanga , "Lulyansolo"(carnivorous animals) era oyinza okuziyita "lugajambula" (predators)."Lulyansolo" ky'ekiramu ekifuna amasoboza(energy) n'ebiriisa (nutrients) okusingira ddala nga ekikula kyakyo kirya nnyama ya nsolo endala okuyita mu kugajambula n'okuyuza ebiramu(predation)oba okuyigga ensolo ezifudde. Muno mulimu ensolo nga empologoma, goonya, engo,n'endala.

Lulyabimera(Herbivorous) eba nsolo efuna ebiriisa(nutrients) n'amasoboza(energy) gayo nga okusingira ddala erya bimera . Muni mulimu ente, embuzi,n'endala.