Jump to content

Lugazi University

Bisangiddwa ku Wikipedia

Lugazi University ( LU ), yali yunivasite ya bwannannyini mu Uganda . Yunivasite eno yatandikibwawo mu 2007.[1] mu December wa 2010.

Yunivasite ya Lugazi yali esangibwa Lugazi, ku 175-acre (0.71 km kampusi, 26 miles (42 km) ebuvanjuba bwa Kampala ku luguudo oluva e Kampala-Jinja Highway .

Mu September 2007, yunivasite eno yalina amatendekero n’ebitongole bino wammanga: [2]

  • Esomo ly’ebyenjigiriza
  • Esomo ly’ebyemikono
  • Esomo ly’amateeka
  • Esomo lya Sayansi w’Ebyobulamu
  • Esoms ly’okuddukanya bizinensi
  • Esomo lya Sayansi ne Tekinologiya

Yunivasite y’e Lugazi yawaddeyo amassomo agatuusa ku kuwa diguli, dipuloma ne satifikeeti. [3]

Ekitongole ky’ebyemikono ne ssaayansi w’embeera z’abantu

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Diguli mu by’obuwandiisi
  • Diguli mu by’empuliziganya mu bantu
  • Diguli mu neeyisa n'okuddukanya embeera z'abantu
  • Diguli mu by’emikono n’okukola dizayini mu makolero
  • Diguli mu by’enkulaakulana
  • Diguli mu by’okuddukanya emirimu gya gavumenti n’okuddukanya emirimu
  • Diguli mu by’emirimu n’abakozi

Ekitongole ky’ebyenjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Diguli mu by'emikono n’ebyenjigiriza
  • Diguli mu Sayansi n’Ebyenjigiriza
  • Diguli mu by’enjigiriza by’abantu abakulu n’abantu b’omukitundu
  • Diguli mu Okulungamya n’okubudaabudibwa wamu n'okubuulirira abantu mu by’enjigiriza
  • Diguli mu kusomesa abantu abalina obulemu
  • Diguli mu ku somesa Abaana abato

Ekitongole ky’okuddukanya bizinensi

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Diguli mu by’obusuubu
  • Diguli mu by’okuddukanya abakozi
  • Diguli mu by’okugula ebintu n’okuddukanya emirimu
  • Diguli mu bitongole bya gavumenti n’okuddukanya emirimu
  • Diguli mu by’obusuubuzi n’okuddukanya bizinensi entonotono

Ekitongole kya kompyuta ne tekinologiya w’amawulire

[kyusa | kolera mu edit source]
  • Diguli mu Sayansi wa Kompyuta
  • Diguli mu Sayansi w’Etterekero n’Amawulire
  • Diguli mu by’amawulire
  • Diguli mu by'obulamu ne by’endya y’abantu

Emisomo gyonna egyo waggulu giri ku ddaala lya dipuloma nalyo.

Yunivasite y’e Lugazi yategeka omukolo gw’okutikkirwa ogusooka era ogwa sembayo ku Lwokusatu nga 29 December 2010. Abayizi bitaano abiri mu bana (524) be batikkiddwa. Olw’amabanja n’ebizibu ebirala eby’ensimbi, eby’obugagga n’ebbanja lya yunivasite eno byafunibwa minisitule ya Uganda ey’ebyokwerinda, okutandika nga 30 December 2010.[4] Mu January 2011, ekifo kino kyakyusibwa ne kifuulibwa University of Military Science and Technology, (UMST), essomero ly’amagye ery’amatendekero aga waggulu, mu ggye lya Uganda People’s Defense Force . [5]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Lugazi University was founded in 2007 Template:Webarchive
  2. Lugazi University was founded in 2007 Template:Webarchive
  3. Lugazi University was founded in 2007 Template:Webarchive
  4. Lugazi University was founded in 2007 Template:Webarchive
  5. Lugazi University was founded in 2007 Template:Webarchive