Lukwago Rebecca Nalwanga
Lukwago Rebecca Nalwanga Munnayuganda, munnabyabufuzi. Yaliko omubaka omukyala mu Paalamenti ya Uganda ey’omunaana ng’akiikirira Disitulikiti y’e Luweero wansi w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement (NRM) .
Obulamu bwe obw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Eyali omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti y’e Luweero y'asaba Pulezidenti Museveni okumuyambako okusasula ssente ezaali z'etuumye oluvanyuma lw'emisango agyali awaabye mu kooti. [1] Kino ky'ava ku kulondebwa kwe okwa 2011 okwali kuwakanyizibwa be yali avuganya nabo mu by'obufuzi. [1]
Rebecca yasaba nti buli eyetaba mu bumenyi bw’amateeka avunaanibwe era kitekebwe mu buwandiike. [2] Yagattako era n’akkaatiriza obwetaavu bw’okuzzaawo obwesige bw’abantu mu kkooti nga tebannaddukira mu kutwalira amateeka mu ngalo. [2] Mu 2014, yali omu ku bataano abaali beesimbyewo nga mu bano mwalimu Elizabeth Lugudde, Ramlah Kadala, Lilian Nakate, Jimiya Ssenkanja and Rita Mugalu abaali b'eyagaliza ekifo ky'Omubaka mu Paalamenti. [3]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.observer.ug/component/content/article?id=24307:indebted-ex-mp-asks-museveni-for-shs-400m
- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/1291367
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2023-09-29. Retrieved 2025-09-20.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)