Lydia Daphine Mirembe
Daphine Lydia Mirembe (yazaalibwa 14 Ogwomunaana 1985) Munnayuganda, munnabyabufuzi . Ye mubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y'e Butambala mu Paalamenti ya Uganda .[1]Yawangula ekifo kino mu Paalamenti mu 2016 ku tikiti eyeetongodde oluvannyuma lw'okuwangula Aisha Kabanda owa National resistance movement (NRM) mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu Uganda mu 2016 . [2]
Emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mirembe yasomera mu ku Kibibi secondary school mu misomo gye egya 'O' ne 'A' levo. Satifikeeti ye eya siniya ey'okuna Uganda Certificate of Education yagifuna mu 2002 ate eya siniya ey'omukaaga eya Uganda Advanced Certificate of Education nagifuna mu 2004. Oluvannyuma yeegatta ku Makerere University Business School gye yatikkirwa diguli eya Bachelor in Leisure and Hospitality Management mu 2009. [3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kino Mirembe ye mubaka mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y’e Butambala ng’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti eno okuva mu 2016. Mu Paalamenti, aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku ndwadde ezikwatagana ne siriimu [4] n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by'obulamu . [5] Era mmemba w’ekibiina ekigatta ababaka ba Paalamenti abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association gy’akolera ku kakiiko akakola ku bbago ly’etteeka erikwata ku misango gy’obukaba. [6] Era mmemba mu kakiiko ka Buganda mu Paalamenti. [7]
Nga tannaba kwegatta ku Paalamenti, Mirembe yali aweereza mu kifo kya dayirekita wa Mirembe Foundation okuva mu 2013 okutuuka mu 2016. Era emabegako mu mirimu gye yaliko omukozi wa bbanka mu Orient Bank wakati wa 2011 ne 2012. [8]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/butambala-race-set-to-pit-kabanda-against-mirembe-5017136#story
- ↑ https://www.parliament.go.ug/page/committees-parliament
- ↑ https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=187
- ↑ https://www.parliament.go.ug/sites/default/files/2023-07/HIV%20AIDS%20Commitee.docx
- ↑ https://www.parliament.go.ug/page/committees-parliament
- ↑ https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=187
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-02-01. Retrieved 2026-02-03.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=187