Lydia Nsaale Kitayimbwa
Lydia Nabunya Nsaale Kitayimbwa (yazaalibwa Ogwokuna 1979) era amanyiddwa nga Digital Mama, Munnayuganda, omusosodooti Omukyala eyasooka mu St. Francis Chapel Makerere Yunivasite . [1] [2] [3]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Lydia yazaalibwa era n’akulira Bwaise-kawempe, yasomera ku St. Joseph Nsambya Girl’s School okusoma siniya. [1] ] [4] [5] Mu 2001, yegatta ku Ssettendekero wa Makerere okufuna Diguli esooka mu bibalo eya Bachelor of Statistics ng'eno yagimaliriza mu 2004. Diguli ye ey'okubiri yagifunira ku Uganda Christian University (UCU) mu somero ly'ebyediini. Mu 2019, yeewandiisa mu Doctoral Studies mu kusoma ku by'ediini mu Stellenbosch Universitymu South Africa gye yafuna mu Gwekkuminebiri 2022; omulamwa gwe ogw'okunoonyereza ku, "okubunyisa enjiri mu mulembe gwa digito ". [6] Yafuna erinnya lya "Digital Mama" okuva mu bavubuka abagenda ku mikutu gy'ekkanisa ku yintaneeti gye yali addukanya ng'omukwanaganya w'omukutu gw'Ekkanisa ya Uganda ku yintaneeti mu kiseera ky'omuggalo gwa Covid-19. [7] [1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2004, yakola nga nnakyewa mu Watoto Church, Kampala. Okuva mu 2005-2009, yalondebwa ng’omukozi w’abavubuka mu kkanisa eno. Mu 2015, yatuuzibwa mu busosodooti mu Uganda Christian University (UCU) gye yali aweereza ng’omusomesa. [4] [5] Nga 5 Ogwokuna 2023, yalondebwa okuba dayirekita era omusosodooti ow’ekkumi n’ebiri mu Kkanisa ya St.Francis Chapel mu Yunivasite y'e Makerere era n'atuuzibwa Ssabalabirizi w'Ekkanisa ya Uganda Stephen Samuel Kaziima Mugalu nga 11 Ogwomukaaga 2023 [8] [1]
Yasikira Rev. Onesimus Asiimwe, kati omulabirizi w’Essaza ly’e Kigezi ery'e Bukiikakkono. Nga 29 Ogwokubiri 2024, yalayizibwa nga mmemba ku kakiiko akakwasisa empisa abayizi mu Yunivasite y’e Makerere . [9]
Ebimukwatako eby'omunda
[kyusa | kolera mu edit source]Lydia yakulira mu famire elimu ab'enganda ababeera mu nnyumba emu nga bajjajjaabe nabo baali baweereza mu kkanisa ya Uganda. Mufumbo eri Rev. Prof. John Kitayimbwa omumyuka w’omumyuka wa Cansala mu Uganda Christian University. [7]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 https://eagle.co.ug/2023/06/12/rev-lydia-kitayimbwa-installed-as-new-makerere-st-francis-chapel-chaplain/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content - ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/church-of-uganda-will-not-accept-being-bullie-162886
- ↑ https://kampalagazette.com/rev-dr-lydia-kitayimbwa-installed-as-chaplain-of-st-francis-chapel-makerere-pledges-to-transform-digital-evangelism/
- 1 2 https://endowment.mak.ac.ug/pages/from-statistics-to-theology-the-making-of-digital-mama/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 "I loved fashion but Theology came calling". Monitor (in Lungereza). 2023-04-16. Retrieved 2025-04-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":2" defined multiple times with different content - ↑ https://scholar.sun.ac.za/handle/10019.1/126133
- 1 2 https://standard.ucu.ac.ug/digital-mama-rev-lydia-becomes-new-makerere-chaplain/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content - ↑ https://find-and-update.company-information.service.gov.uk/company/05662830/officers
- ↑ https://softpower.ug/makerere-university-students-disciplinary-committee-sworn-in/