Jump to content

MTN Uganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

MTN Uganda ye kampuni y’amasimu esinga obunene mu Uganda, ng’erina abakozesa obukadde 11.2, ng’ebalibwaamu ebitundu 55 ku 100 ku migabo gy'akatale, webwatukira nga 30 Ogwomukaaga mu 2017. [1] [2] Webwatukira nga 31 Ogwekumineebiri mu 2019, omusingi gw'abakasitoma baayo gwaali gweeyongedde okutuuka ku bakasitoma obukadde 12.6. [3] Mu Gwokusatu mu 2021, akakiiko akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu Uganda kaali kabalirira omuwendo gwa bakasitoma ba MTN mu Uganda gwali obukadde 15, ku bukadde 28.3 abakozesa omukutu gw’esimu, bwe batyo nga balina emigabo gy'akatale ebitundu 53 ku buli 100. [4] Mu Gwokutaano 2024, MTNU yawandiisa kasitoma waayo ow’obukadde 20 mu ggwanga. [5]

Wekisingaaninwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekitebe kya MTN Uganda ekikulu kisinganibwa ku 69-71 Jinja Road, mu Divizoni ya Kampala ey'Omumasekati, ekimu ku bitongole ebiddukanya ekibuga Kampala, ekibuga ekikulu era ekisinga obunene mu Uganda. [6] Endagiriro ya kampuni eno ng'okozesa bibalo zeezino 0°19'10.0"N, 32°35'53.0"E (Latitude:0.319444; Longitude:32.598056). [7]

Mu 2016, olupaula lwa The Independent mu Uganda lwategeeza nti MTN Uganda, yalina enteekateeka z’okuzimba ekizimbe ekipya ekiwaanvu wakati w’oluguudo lwa Jinja Road ne Old Port Bell Road, kampuni ya British American Tobacco gye yali edukanyiza ofiisi, nga kino kyandiwereza ng'ekitebe kya kampuni eno ekikulu. [8]

Bwekikola emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

MTN Uganda kitundu ku kampuni ya MTN Group, ekibiina ky’amasimu eky’amawanga amangi ekigatta abantu abawera obukadde 232 mu mawanga 22 okwetoloola Afrika nemu bitundu bya Middle East. [9] Mu 2009, MTN Uganda yaleeta enkola yaayo ey'okutereka ssente ng'okozesa ssimu eyali emannyikiddwa nga Mobile Money. Webwatuukira mu Gwokusatu 2015, kampuni ya MTN yali efuga ebitundu 80 ku 100 ku katale ka ssente eziterekerwa ku ssimu mu ggwanga. [10]

Mu Gwekuminoogomu 2015, MTN Uganda yaggyako bakasitoma baayo obukadde 3.7 ku bukadde 11.5 okutuukiriza ebisaanyizo ebipya eby'akakiiko akavunaanyizibwa ku by'empuliziganya mu Uganda ak'okuwandiisa layini z'esimu n'okutuukiriza ebisaanyizo byazo. [11] [12]

Mu Gwokutaano mu 2016, MTN Uganda yeewola obukadde bwa doola za Amerika 114 nga muza Uganda bwebuwuumbi 385.8 oba 380, okusinziira ku nsibuko, nga zino zaali zakugaziya omukutu gwayo n’okuzimba ekizimbe ekipya ekisinganibwaako ekitebe kyabwe ekikulu ku Jinja Road mu Kampala. Ensimbi zaali mu ngeri ya looni ey’omukago okuva mu kampuni ez'enajwulo mu baanka za Uganda nnya okuli Stanbic Bank Uganda, Standard Chartered Uganda, Citibank Uganda, ne Barclays Bank eya Uganda kati eyitibwa Absa Bank Uganda Limited. [13] [14]

Mu Gwomunaana mu 2016, MTN Uganda ng’ekolagana ne Commercial Bank of Africa mu Uganda yaleeta enkola empya esobozesa bakasitoma okutereka ssente n’okufuna looni entono, nga bakozesa esimu zaabwe. Ekintu kino ekyali kiyitibwa MoKash kisangibwa ku akawunti z’omuntu sekinoomu ne ku akawunti ne bizineensi entono n'ezidirira mu bunene. [15]

Mu Gwomunaana 2018, MTN Uganda yatongoza enkola ey’awamu ey’okutambuza ennyimba eza Tidal–MTN. Omukutu gwa Tidal gwebaali badukanya n'Omumerika Jay-Z omugagga era omu ku b'omugaso mu by'okuyimba, guweereza amaloboozi n’obutambi ku mikutu gya yintaneeti ku ssente za Uganda 1000, nga ze doola za Amerika 0.26) buli lunaku. Abeewandiisa bafuna ennyimba, vidiyo n’ebintu eby’enjawulo. Omuziki okuva mu bayimbi ba Uganda abasinga obungi asinganibwaako. Mu kiseera ekyo, empeereza eno yali efunibwa mu Uganda mwokka ne South Africa zokka, ku lukalu lwa Afrika. [16]

Webwatukira mu Gwekumineebiri mu 2020, bakaasitoma ba MTN Uganda baali obukadde 14.1, ku bantu obukadde 31 abakozesa amasimu mu ggwanga, nga kino kikiikirira ebitundu 45.5 ku buli 100. [17]

Okuwaayo mu lujjudde okusooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2018 olupapula lw’amawulire olumannyikiddwa nga The EastAfrican lwategeeza nga MTN Uganda bweyali eteekateeka okuwandiika emigabo gy'eby'amaguzi byaayo ebya kampuni eno ku katale ka Uganda Securities Exchange (USE). [18] Okwagala okwo okuwandiika, ku ludda lwa MTN Uganda, kwaddamu okufulumizibwa mu Gwokusatu 2019. [19]

Mu Gwokusatu mu 2020 MTN Uganda yakiriza okusasula obukadde bwa doola za Amerika 100 ku layisinsi y’emirimu ey’emyaka 14 n’okuteeka olukalala lw'emigabo gyayo 20 ku buli 100 ku USE, obutasukkakitundu kya kubiri eky'omwaka gwa 2022. [20] Emigabo egyatundibwa ku USE gyali gyakutekebwaako ekomo ku banaansi b’amawanga agali mu mukago gwa East African Community; okuli Burundi, Kenya, Rwanda, South Sudan, Tanzania ne Uganda. [21] IPO eno yali esuubirwa okusonda ddoola za Amerika akawumbi kamu n’obukadde 200 okusinziira ku Keith Kalyegira, akulira <a href="https://en.wikipedia.org/wiki/Capital_Markets_Authority_of_Uganda" rel="mw:ExtLink" title="Capital Markets Authority of Uganda" class="cx-link" data-linkid="143">Capital Markets Authority of Uganda</a> (CMA). [22]

Nga 27 Ogwokutaano mu 2024 MTN Group yakola ekisingako eri bamusigansiimbi ku USE okutwala emigabo ebitundu 7.03 ku buli 100, okusobola okugoberera obwannannyini obusinga obunene mu obw'ebitundu 80 ku buli 100 mu kampuni ya MTN Uganda okusinziira ku Kibiina. [23]

The MTN Kampala Marathon
Empaka za MTN Kampala Marathon

Webwatukira mu Gwekumineebiri mu 2021, emigabo mu MTN Uganda giri nga bwe giwandiikiddwa mu kimeeza wansi. IPO eyakomekerezebwa mu Gwekuminoogumu 2021, yasonda ssente za Uganda 535,939,000,000, nga bwebukadde bwa doola za Amerika 151. Emigabo gy'eby'amaguzi bya kampuni eno gyatandika okusuubula ku Uganda Securities Exchange, nga 6 Ogwekumineebiri 2021 ku ssaawa 3.30 ez’okumakya, obudde bwa wano. Esuubula wansi w'akabonero ka MTNU . [24] [25]

Emigabo mu kampuni ya MTN Uganda Limited
Eddaala Erinnya lya nnannyini yo % obwannannyini oluvannyuma lwa IPO
1. 1. MTN Group 83.05 [24]
2. 2. NSSF Uganda 8.84 [24]
3. 3. Charles Magezi Mbire 3.99 [24]
4. 4. NSSF Uganda - Sanlam 0.26 [24]
5. 5. Bank of Uganda Defined Benefits Scheme – Sanlam 0.19 [24]
6. 6. NSSF Kenya - Sanlam 0.18 [24]
7. 7. Duet Africa Opportunities Master Fund ICF
8. FG Hermes Oman LLC, kkampuni ya FG Hermes Oman LLC
9. 9. Bbanka ya First Rand Limited
10. Enteekateeka y’okuganyula abakozi mu kitongole ky’omusolo mu Uganda – Sanlam
11. Bamusigansimbi abalala nga 20,000 3.06 [24]
Omugatte 100.00

Emigabo egisingako egiweebwa abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 27 Ogwokutaano 2024, MTN Group yayanjuluza emigabo egitatunda mu IPO okusobola okutuukiriza ebyetagisa eby'obutabeera na bitundu bisuka 80 ku 100 ebya MTN Uganda. Okudiza okusingako kwli ebitundu 130 ku 100 ebyali bisukiridde okuwandiisa. Ekimeeza kino wansi kiraga emigabo mu kampuni eno okutuuka nga 20 Ogwomukaaga mu 2024, ebiwandiiko bwebwafulumizibwa. [26] [27]

Emigabo mu kampuni ya MTN Uganda Limited mu Gwomukaaga 2024
Eddaala Erinnya lya nnannyini yo % obwannannyini oluvannyuma lwa 2nd float
1. 1. MTN Group 76.00 [26]
2. 2. NSSF Uganda 11.70 [26]
3. 3. Charles Magezi Mbire 4.00 [26]
4. 4. First Rand Bank Limited 1.60 [26]
5. 5. JPM FRB A/c Africa Partners Fund 0.90 [26]
6. 6. Uganda National Social Security Fund II 0.40 [26]
7. 7. BNYMSNV SBSA IML LAU 0.40 [26]
8. BNYMSNV BHF Asset Management 0.20 [26]
9. 9. Bank of Uganda Defined Benefits Scheme I 0.20 [26]
10. SSB Russell Investment Company Plc Fund 0.20 [26]
11. Abasigansimbi abalala nga 20,600 [28] 3.06 [24] 3.50 [26]
Omugatte 100.00

Webwatukira mu Gwokusatu 2019, eyali akola ng'akulira kampuni eno yali Gordian Kyomukama eyali akulira tekinologiya. [29] Mu Gwomukaaga 2019, Wim Vanhelleputte yaddamu okutwala ekifo kye ng'Akulira kampuni, oluvannyuma lw'okudda mu Uganda, oluvannyuma lw'enteeseganya wakati wa gavumenti ya Uganda ne MTN International . [30] Webwatukira mu Gwekuminoogumu mu 2023, ssentebe w'olukiiko yali Charles Magezi Mbire ate akulira kkampuni eno ye Sylvia Wairimu Mulinge.[31]

Wim Vanhelleputte ye yali akulira emirimu. [32] Nga 14 Ogwekumineebiri mu 2019, yadizibwaayo banamateeka mu Bubirigi okuva mu Uganda nga bamulumiriza okubeera nga yali atataganya eby'okwerinda bya Uganda.[33] Kino kyaddiridde abakulira MTN Uganda abalala basatu okugobwa mu ggwanga mu Gwomusanvu mu 2018, omwali eyali Akulira ba Maneja abavunaanyizibwa ku By'empereza bya Ssente z'okusiimu, eyali Akulira ba Maneja mu Bya kituunzi n'Okutambuza eby'Amaguzi, n'eyali Akulira Bakituunzi. Bonna bavunaanibwa "okutaataganya eby'okwerinda by'eggwanga lya Uganda. [33] Olwo eyali akulira kampuni eno n'awawaabira gavumenti ya Uganda mu kkooti enkulu eya Uganda . [34]

Mu Gwokutaano 2019, oluvannyuma lw’enteeseganya wakati wa pulezidenti Yoweri Museveni ne MTN International, Wim Vanhelleputte yakirizibwa okukomawo mu Uganda ademu okukola emirimu gye ng’akulira MTN Uganda. [30]

MTN ng'erangira mu katale e Mbarara

Mu Gwekumi 2018, layisiinsi ya kampuni eno eyasooka ey’emyaka 20 yaggwaako. Olw’enteeseganya ezaamala ebanga eddene wakati wa MTN ne gavumenti ya Uganda, okuva olwo kampuni eno ebadde ekolera ku layisiinsi ez’ekiseera ekitono. [35] Mu Gwokusatu 2020, MTN Uganda yakiriza okusasula obukadde bwa doola za Amerika 100 ku layisiinsi y’okudukanya emirimu okumala emyaka 14. Kampuni y'amasimu eno era yakirizza okuwandiika emigabo gyayo ku USE n’okutambuza emigabo egitaka wansi wa 20 ku 100, mu IPO. [36]

Mu Gwomusanvu 2020, MTN Uganda yafuna layisiinsi y’okudukanya emirimu okumala emyaka 12, okutandika nga 1 Ogwomusanvu 2020. Mu bukwakkulizo bwa layisiinsi empya, MTN Uganda yali egenda kuwandiika olukalala lw'ekitundu ku migabo gyabwe, ekitono ennyo ebitundu 20 ku buli 100, ku Uganda Securities Exchange mu myezi 24 bukya bafuna layisiinsi. Layisiinsi eno yamalawo obukadde bwa ddoola za Amerika 100, nga zino zaasasulwa mu bujjuvu mu ssente ez'omulundi ogumu. [37]

Mu myezi 12 egyakoma nga 31 Ogwekumineebiri mu 2019, eby'enfuna bya MTN Uganda byali birinye okutuuka ku tuiriyooni emu n’ekitundu nga bwebukadde bwa doola za Amerika nga 407. [3]

Ebifo webaterekera ebiwandiiko

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatukira Ogwekumineebiri mu 2021, MTN Uganda yali edukanya ebifo mukaaga ebyali bikozesebwa okutereka ebiwandiiko okwetoloola eggwanga lyonna, nga muno ebiwandiiko ebikwata ku by'empuliziganya gyebabikingaanyiza, okubisaasaanya, okubifuga n'okubirondoola. Ebifo bibiri ku bino bisangibwa Mutundwe ne Mbuya, mu Kampala ekibuga ekikulu. Ebifo ebirala ebina eby'okutereka ebiwandiiko biri Mbarara, Masindi, Lira ne Tororo . Okwetoloola ebifo bino n’emikutu gy’empuliziganya nga 2550 mu ggwanga MTNU egaba ebitundu 72 ku 100 mu bitundu ebiwerako nga bituuka ku mu bitundu 92 ku 100 eby’omuwendo gw’abantu mu Uganda. Mu kugoberera ebiragiro byayo eby’okuwa layisiinsi, MTNU eteekateeka okwongera ku bungi bw'okutuuka ku bitundu eby'enjawulo okuva ku bitundu 72 ku buli 100 mu 2021 okutuuka ku bitundu 90 ku 100 mu 2023. [38]

Emigabo gy'omukatale gye buvuddeko

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwomusanvu 2022, olupapula lwa The EastAfrican lwategeeza nti MTN Uganda yali efuga ebitundu 47.5 ku 100 ku katale k’amasimu mu ssaza lino, ku nkomerero ya 2021. Mu kiseera ekyo abakozesa baayo baalina akawuunti obukadde 16.7. Abavuganya kuliko Airtel Uganda, Uganda Telecom ne Lycamobile Uganda . [39] Webwatukira mu Gwokutaano 2024, bakasitoma ba MTN Uganda baali beeyongedde okutuuka ku bukadde 20. [5]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Eronie Kamukama (4 October 2017). "Telecoms scramble for subscribers". Daily Monitor. Retrieved 4 October 2017.
  2. Haggai Matsiko (15 January 2018). "Uganda: MTN Licence Expires, Rivals Fight Renewal" (via AllAfrica.com). The Independent (Uganda). Retrieved 30 January 2018.
  3. 1 2 Christine Kasemiire (12 March 2020). "MTN yields to govt pressure, agrees to pay $100m for license renewal". Daily Monitor. Retrieved 15 March 2020.
  4. The Independent Uganda (6 October 2021). "Fears over MTN, Airtel dominance in Uganda's telecom sector". The Independent (Uganda). Retrieved 7 October 2021.
  5. 1 2 Daily Monitor (2 May 2024). "MTN Uganda Hits 20 Million Customer Milestone". Daily Monitor. Retrieved 10 May 2024.
  6. MTN Uganda (2 May 2019). "MTN Uganda: Contact Us - Help Channels". MTN Uganda. Archived from the original on 2 May 2019. Retrieved 2 May 2019.
  7. Template:Google maps
  8. Khisa, Isaac (12 June 2016). "Sh380 Billion: New MTN Headquarters, Countrywide Optic Cable".
  9. Othman Semakula (21 June 2016). "MTN appoints new group chief after Nigeria fiasco". Retrieved 21 June 2016.
  10. "Uganda: Inside MTN Mobile Money Saga". 15 March 2015. Retrieved 21 June 2016.
  11. Mark Keith Muhumuza (26 November 2015). "Telecoms rush to beat Sim card registration deadline".
  12. The Associated Press (4 March 2016). "MTN profits down 37 percent in 2015, blames Nigeria fine". Retrieved 21 June 2016.
  13. Mark Keith Muhumuza (27 May 2016). "MTN secures Shs386b loan from local banks". Retrieved 21 June 2016.
  14. Khisa, Isaac (12 June 2016). "SH380Bn: New MTN headquarters, countrywide optic cable". Retrieved 21 June 2016.
  15. Mark Keith Muhumuza (10 August 2016). "Ugandans to save, apply for mobile money loans on phone". Retrieved 7 November 2016.
  16. Musinguzi, Bamuturaki (9 November 2018). "Mixed reaction as Tidal makes headway in Uganda". Retrieved 9 November 2018.
  17. Dorothy Nakaweesi (21 June 2021). "MTN Exhausts 077, 078 Codes". Retrieved 23 June 2021.
  18. Wakabi, Michael (23 June 2018). "Drug maker CIPLA and telco MTN to list on Uganda bourse". Retrieved 24 June 2018.
  19. The EastAfrican (26 March 2019). "Banking stocks rise against the tide at Uganda bourse". Retrieved 26 March 2019.
  20. Raymond Tamale (14 March 2020). "MTN Uganda to pay $100m in taxes, list 20pc shares for long-term licence". Retrieved 16 April 2020.
  21. "Uganda opens MTN share sale to East African investors" (BDA Quoting Reuters). 24 July 2020. Retrieved 24 July 2020.
  22. Brian Ngugi (5 October 2021). "MTN to open KSh132bn Uganda IPO to Kenyan investors". Business Daily Africa. Retrieved 5 October 2021.
  23. Victor Juma (27 May 2024). "MTN Uganda's parent offers major discount in sale of Sh7.7bn shares". Business Daily Africa. Retrieved 27 May 2024.
  24. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 Prisca Wanyenya (3 December 2021). "Harvest Is Good! MTN Raises Shs535Bn In Shares Listing". Red Pepper. Retrieved 5 December 2021.
  25. Martin Luther Oketch (7 December 2021). "Uganda: Delight As MTN Uganda Lists On Stock Market" (via AllAfrica.com). Daily Monitor. Retrieved 8 December 2021.
  26. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 Deogratius Wamala (21 June 2024). "NSSF Buys 43.3 Percent Of MTN'S Unsold Shares". Daily Monitor. Retrieved 22 June 2024.
  27. Daily Monitor (29 June 2024). "MTN Uganda Stock: Hope, Concerns Live Side By Side". Daily Monitor. Retrieved 29 June 2024.
  28. The Independent Uganda (9 July 2024). "NSSF Earns Shs 80.6 Billion From Investment In MTN Uganda". The Independent (Uganda). Retrieved 9 July 2024.
  29. Monitor Reporter (15 February 2019). "Gordian Kyomukama appointed MTN Uganda acting CEO". Retrieved 23 March 2019.
  30. 1 2 Risdel Kasasira (31 May 2019). "How deported MTN boss return was negotiated". Retrieved 15 March 2020.
  31. Philomela Matsiko (9 August 2016). "MTN Uganda takes on banks with micro-loans product". Retrieved 10 August 2016.
  32. Godfrey Olukya (15 February 2019). "Uganda deports telecom giant CEO over national security". Anadolu News Agency. Retrieved 5 October 2021.
  33. 1 2 The EastAfrican (15 February 2019). "Uganda deports MTN CEO Wim Vanhelleputte". The EastAfrican. Retrieved 23 March 2019.
  34. Daily Monitor (4 March 2019). "Deported MTN-Uganda CEO sues government". The EastAfrican Quoting Daily Monitor. Retrieved 23 March 2019.
  35. Kikonyogo Douglas Albert (15 January 2019). "MTN Uganda's license in uncertainty over renewal fees". Kampala: Techjaja.com. Retrieved 13 March 2020.
  36. Raymond Tamale (14 March 2020). "MTN Uganda to pay $100m in taxes, list 20pc shares for long-term licence". Nairobi. Retrieved 15 March 2020.
  37. New Vision (11 July 2020). "UCC grants MTN 12-year licence extension". Retrieved 14 July 2020.
  38. Red Pepper Reporter (11 December 2021). "MTN Hosts ICT Ministry For Site Visit At Mutundwe Data Centre". Red Pepper Newspaper. Retrieved 12 December 2021.
  39. Esiara Kabona (2 July 2022). "Tough times in telcos sector as new MTN boss Sylvia Mulinge takes office". The EastAfrican. Archived from the original on 2 July 2022. Retrieved 2 July 2022.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]