Magid Kagimu
Magid Mayanja Kagimu, yazaalibwa mu 1954, nga Munnayuganda omusawo, omusomesa era omukulembeze mu bitundu, akola nga Pulofeesa mu by'Obusawo era akulira ekitongole ekisomesa ku bikwatagana n'eby'omu lubuto ekisinganibwa ku Makerere University College of Health Sciences, mu Kampala, ekibuga ekya Uganda ekikulu era ekibuga ekisinga obunene. [1]
Obuvo n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Kagimu yazaalibwa mu Buganda nga mu myaka gya 1954. Yasomera mu masomero ga pulayimale ag’omu kitundu. Yasomera mu Kings College Budo gyeyamalira siniya.
Yayingizibwa mu Makerere University Medical School, esomero ly’obusawo erisinga obukadde mu Mawanga agasinganibwa mu Buvanjuba bwa Afrika, mu 1974. Yatikirwa mu 1979 n’afuna Diguli mu By'eddagala ne Diduli mu By'okulongoosa.
Oluvannyuma lw’omwaka ng'ali mu kubangulwa ng'amaliriza okutikirwa, n’omulala ng’omusawo, yaddayo e Makerere okusoma Diguli ey'okubiri mu by’Obujjanjabi Obw’omunda, n’atikkirwa mu 1983. Omulimu gwe yalonda gweyakugukamu gwali gwa kujjanjaba munda mu lubuto. [2]
Mu 2017, yalondebwa okubeera mu kibiina kya Fellow wa Royal College of Physicians .
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Okumala emyaka egisukka mu 30, Kagimu abadde awereza ng'omusomesa ku yunivasite, omusomesa omukulu, pulofeesa adirira pulofeesa omukulu era pulofeesa omujjuvu mu kitongole ekiyigiriza ku by'okujanjaba eby’omu lubuto, ekitongole ky’obusawo, mu Makerere University College of Health Sciences. Mu kiseera kye kimu akola ng'Omukugu Eyeebuzibwaako ku By'obujanjabi bw'Omulubuto mu ddwaliro lya Mulago National Referral Hospital, eddwaliro erisomesa mu ttendekero ly’obusawo.
Ono y'omu kubali ku ttiimu y'abavunaanyizibwa ku by’okujanjaba mu lubuto eyalabirira Joyce Moriku, Minisita Omubeezi ow’Eby'obulamu Ebitandikibwaako mu Kabineeti ya Uganda, bwe yalwala mu Gwekuminoogumu mu 2017. [3]
Emirimu emirala
[kyusa | kolera mu edit source]Kagimu akola nga ssentebe w’ekibiina ekigatta Abasawo b’Obuyisiraamu mu Uganda.[4] Era akola ng'Omuwandiisi Adukanya Ekibiina Ekirimu Abajanjaba Ebikwatagana ne munda Mu mbuto.
Mu 2016, Ekitebe kya Sweden mu Uganda kyatandika kaweefube w’okusiima omulimu omukulu abazaalisa gwe bakola mu mbeera z’abantu mu Uganda, Kagimu yalondebwa ekitebe okubeera omu ku mussanvu abaakulemebera mu kakuyege ya Midwives4all. Omulimu gw'abakulemberamu gwali gwa kukunga bantu bamubitundu, okusikiriza abakola enkola n’okukubiriza abavubuka okulowooza ku kutendekebwa ng’abazaalisa. [1]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Bwambale, Taddeo (10 April 2015). "Swedish Embassy's Campaign to Promote Midwives: Midwives are God's agents on earth: Dr Kagimu". Retrieved 15 March 2018. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "One" defined multiple times with different content - ↑ World Gastroenterology Organisation (15 March 2018). "World Gastroenterology Organisation: Africa and Middle East Regional Affiliate Association: Member Societies: Uganda". World Gastroenterology Organisation. Retrieved 15 March 2018.
- ↑ Ainebyoona, Emmanuel (8 March 2018). "I was poisoned - minister Moriku". Retrieved 15 March 2018.
- ↑ Luganda, Emmanuel (17 January 2015). "Religion can help curb HIV, says Muslim doctor". New Vision. Kampala. Retrieved 15 March 2018.