Makyule (Mercury)

Gakuweebwa Charles Muwanga !!!Akaziba ka makyule era kayitibwa Atomu ya Makyule (Mercury atom)mu Luganda !
Okufaana ne Zzaabu, ekikulembero, ne yulaniyaamu, makyule y’emu ku bika bya atomu ebizito. Buli kaziba ka makyule kalimu obukontanyo 80 ne nampawengwa 121 mu buziizi bwako.
Okufaanana n'obuziba obwo, obuziba bwa makyule bwonna bukolebwa munda mu njuba ezifuuse semufu. Makyule wa njawulo kubanga yadde nga atomu ezisinga obuzito zino ezisinga ziba za nkalubo ku tempulikya eza bulijjo mu mbera y’ekyuma nga ekintu eky’enkalubo ku tempulikya eza bulijjo, makyule ye aba kikulukusi ku tempulikya eza bulijjo.
Kino kiva ku kuba nti obusannyalazo bwa makyule obwo kungulu tebukwatagana nnyo na atomu za makyule ndala. Ku nsi makyule talabikalabika. Makyule atera okwegatta ne molekyo za salufa okukola ekyazi ekiyitibwa kyinibaalu (cinnabar).
N’olwekyo tufuna makyule nga tusekula ekyazi kya kyinibaalu ne tukikalirira mu ttanuunu oba oveni. Kubanga makyule kiba kikulukusi ku tempulikya eza bulijjo naye ng’azimbulukana(okuzimbulukuka ate n’akkakkana) mpompola ng’ali munda mwa samometa, okusinziira ku kipimo ky’ obwoki oba obunnyogovu.