Jump to content

Malewa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Malewa gaba mabanda agakaliriddwa nga gakazibwa okusobola okugakuuma. Amabanda gano gakulira mu nsiko y'ebuvanjuba bwa Uganda okwetooloola olusozi Elgon mu disitulikiti y’e Bududa, Sironko ne Mbale.

Amalewa gasibuka mu Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu kya Bugisu . Gaasooka kuliibwa ng'emmere oluvannyuma ne gatandika okufumbibwa ng'enva nga zitabuddwwamu entungo oba ebinazi. Amalewa gakola ekitundu kinene ku mikolo mu Bugisu okugeza okusala Embalu, n'embaga z’ekinnansi. [1] [2]

  • Malewa
  • Amazzi
  • Omunnyo
  • Ekipooli

Okuteekateeka

[kyusa | kolera mu edit source]

Amalewa bagafumbira mu mazzi okugayonja olwo wegayungira wasalibwa ne gasigaza ebitundu bya wakati nga bino bisalasalibwa obutundutundu obutonotono. Omunnyo guteekebwamu nga gafumbibwa okusobola okugagonza. Oluvannyuma bassaamu ebinazi n’omunnyo ne bafumba enva zino okufuna obuwoomi. Enva z'a malewa zigabulibwa n'a matooke, Muwogo, Lumonde, Omuceere oba Akawunga . [3] [4]

Malewa gasobola okugabulibwa n’olya nga mabisi, nga gafumbiddwa oba nga gatokoseddwa.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/-/1370466/1390906/-/uifmxcz/-/index.html
  2. https://web.archive.org/web/20210801015303/https://www.i-uganda.com/bamboo-shoots-commonly-known-as-malewa.html#.VPWpUHzLcf4
  3. http://www.monitor.co.ug/SpecialReports/ugandaat50/-/1370466/1390906/-/uifmxcz/-/index.html
  4. https://web.archive.org/web/20210801015303/https://www.i-uganda.com/bamboo-shoots-commonly-known-as-malewa.html#.VPWpUHzLcf4