Mandazi
Mandazi nga muluswayiri bakiwandiika mandazi oba maandazi kika kya mugaati omusiike ogwasibuka ku lubalama lw’ennyanja ewali aboogera olulimi Oluswayiri mu Buvanjuba bwa Afirika. Era kimanyiddwa nga bofrot oba puff-puff mu mawanga g'Omubugwanjuba bwa Afrika nga Ghana ne Nigeria. Y’emu ku mmere enkulu mu mmere y’Abaswayiri ababeera mu bitundu by’oku lubalama lw’ennyanja mu bitundu by'e Kenya ne Tanzania. [1] [2] Ekika ky'emere eno emannyikiddwa nnyo mu kitundu olw'okuba nyangu yakukola, esobola okuliibwa na buli kika kya mere, enva oba akampwanchi mpwanchi nga ko, ng'era kisobola okuterekebwa ne bakibugumya nekiriibwa oluvannyuma.[3] [4]
Eby'efananyiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Mandazi geefananyiriza donati, nga zirina obuwoomi ennyo nga buno busobola okwawulwamu n'ebirungo eby’enjawulo. Wabula, tebiwooma nnyo nga donati ez’omulembe eza Amerika era zitera okugabibwa nga ziriko sukaali gwebamamiddeko yonna. [5] Zitera okuba ez’enjuyi satu okwefananyirizaako sumbuusa, naye nga zitera okubeera nga zaakula mungeri neetoloovu oba ng'egi.[6] Bwebifumbibwa, bibeera birina engeri gyebigindamu.
Engeri gyebabitegekamu
[kyusa | kolera mu edit source]Mandazi gakolebwa nga basiika engano mu buto okutuusa ng'efuuse langi ey'efananyiriza zaabu owa kitaka. Amata g'Ebinazi.[7] [8] Bwe bagattako amata g'ebinazi, amandazi gatera okuyitibwa mahamri oba mamri.[9] Ebinyebwa by'omutaka n'ensigo eziringa ebinazi, n’ebirungo ebirala, nga biyinza okukozesebwa okwongeramu obuwoomi obw’enjawulo. Oluvannyuma lw'obubifumba, osobola okubirya nga bikyayokya oba n'obirinda nebiwola. Bitera okutegekebwa n'ebiriibwa mu bitundu bya Africa Great Lakes, nga bisobola okuliibwa nga ziwerekerwako emere endala nnyingi. Bitera okukolebwa ku makya oba ekiro ky'egulo limu, nebiriibwa ku ky'enkya, nezibugumizibwa ekawungeezi okuliibwa ku ky'egulo.[3] Amandazi era gatera okuliibwa ne caayi oba omubisi ogwakakamulibwa okuva mu bibala, oba okubirya ng'obupwanchi pwanchi nga byo, Ebirungo eby'enjawulo, ebirimu ebibala, bisobola okukozesebwa okwongeramu obuwoomi obw’enjawulo. [10] Amandazi era gasobola okuliibwa ng'enyongereza oluvannyuma lw'okulya emere, nga gababibwa eweebwa ne ssukaali ow'obuwunga oba ssukaali wa cinnamon. [4]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Beinet, bisigibwa ku by'okulya eby'efaananyiriza ebyo okuva mu New Orleans
- Ox-tongue pastry, bisigibwa ku by'okulya y’Abachina efaananako bwetyo
- Olukalala lw’emere ey’obuwunga esiikibwa
- Donati
- Emere y’Abaswayiri
- Emere y’Omubuvanjuba bwa Afrika
- Mahamri
- Puff-Puff
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "MANDAZI : SWAHILI buzarelististBUNS". COOKS.COM. Retrieved 24 July 2014.
- ↑ "Swahili Coconut Donuts ('Mandazi' in Swahili) Recipe". Family Cookbook Project. Retrieved 24 July 2014.
- 1 2 Peck, Richard. "Swahili Recipes". Lewis & Clark. Archived from the original on 27 February 2010. Retrieved 13 November 2009. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "swahilirecipes" defined multiple times with different content - 1 2 "Kenyan Cookbook". Expanding Opportunities. Archived from the original on 5 June 2009. Retrieved 13 November 2009. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "cookbook" defined multiple times with different content - ↑ "Mandazi Recipe". SparkRecipes. Retrieved 13 November 2009.
- ↑ Kende, Eva. "Recipes (Mandazi)". Canadian eAuthors. Archived from the original on 21 December 2009. Retrieved 13 November 2009.
- ↑ "Jinsi ya Kupika Maandazi ya Nazi". Active Chef Issa Kapande. 28 May 2010. Retrieved 5 February 2014.
- ↑ "MaandaziRecipe". Taste of Tanzania by Mariam Kinunda. Archived from the original on 26 December 2017. Retrieved 5 February 2014.
- ↑ Solomon Katz (ed.). East Africa. Encyclopedia of Food & Culture. Vol. 1. Gale Cengage. Archived from the original on 14 February 2009. Retrieved 16 November 2009.
- ↑ "Sample Menu". Kitoweo. Archived from the original on 30 November 2010. Retrieved 17 November 2009.