Jump to content

Manuel Pinto (Omusikawutu)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Manuel Pinto yazaalibwa nga 25 Ogwekumineebiri mu 1938, n'afa nga 14 Ogwokuna mu 2008, yali memba wa Paalamenti ya Uganda gye yaweereza nga ku bukiiko obw’enjawulo, yaliko minisita wa gavumenti okuva mu 1993 okutuuka mu 1995 era nga ye dayirekita omukulu eyasooka mu kakiiko akakola ku bulwadde bwa Mukenenya mu Uganda okuva mu 1992 okutuuka mu 1995. Pinto yali Musikawuutu Omukulu of Uganda era nga ye Ssentebe w'Akakiiki ka Africa Scout Committee.

Yafiira Nsambya oluvannyuma lw’okufuna akabenje k’emmotoka. [1]

Mu 2003, Pinto yaweebwa ekirabo kya 297th Bronze Wolf, ekitiibwa kyokka eky'ekibiina kya World Organization of the Scout Movement, ekigabibwa akakiiko ka World Scout Committee olw'okukola emirimu egy'enjawulo eri Abasikawutu mu nsi yonna. [2]

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]
  • John S. Wilson (1959). Scouting Round the World (First ed.). Blandford Press. ASIN B000AQMKTI.
  • "In Support of World Scouting" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2009-03-27. Retrieved 2009-03-27.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Le Chef Scout de l'Ouganda, Manuel Pinto, est rappelé à Dieu" [Uganda's Chief Scout, Manuel Pinto, is Called Back by God] (in French). World Organization of the Scout Movement. Archived from the original on 14 May 2008. Retrieved 24 March 2019.{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  2. "List of recipients of the Bronze Wolf Award". scout.org. WOSM. Archived from the original on 2016-01-29. Retrieved 2019-05-01.