Jump to content

Mapenduzi Ojara

Bisangiddwa ku Wikipedia
Ojara Martin Mapenduzi

Ojara Martin Mapenduzi Munnayuganda,munnamawulire, munnabyabufuzi era mubaka mu Paalamenti akiikirira Gulu ey'Obuggwanjuba Divizoni y'e Bardege-Layibi. Emabegako yaweerezaako nga Ssentebe wa Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Gulu. [1] [2]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Ojara yazaalibwa mu maka agalimu abaana 18. Yafuna diguli mu busomesa okuva mu Yunivasite y'e Gulu, era yasomesa essomo lya literature mu Gulu Central School ng’omusomesa ow’ekiseera. [3] [4] Oluvanyuma yatandiika okukola amawulire ne ladiyo ya Choice FM mu Gulu n'akuzibwa okutuuka ku kifo ky'omusunsuzi w'amawulire era ng'omukwanaganya wa pulogumlaamu okumala emyaka ebiri.

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ojara yayingira eby'obyobufuzi mu 2006 bwe yavuganya n’awangula ekifo kya kansala ku muluka gwa Bardege mu Munisipaali y’e Gulu era n’afuuka sipiika w’ennyumba eno. Mu 2013, yalondebwa okuba Ssentebe w’olukiiko lwa Disitulikiti y’e Gulu [5] gye yaweereza okutuusa mu 2021 lwe yalondebwa ku Paalamenti y’eggwanga okuva e Gulu ey'Obuggwanjuba. Mu Paalamenti, yalondeddwa okubeera Ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya Gavumenti okusingira ddala eb'ekibiina ekivuganya gavumenti mu Paalamenti ekya National Unity Platform, NUP. [6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-18. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.independent.co.ug/acholi-leaders-divided-over-proposed-agro-industrial-identity-for-gulu-city/
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/lifestyle/reviews-profiles/mapenduzi-gulu-district-s-man-of-the-people-1583758
  4. https://chimpreports.com/i-sold-pigs-to-buy-a-radio-station-gulu-chairman/
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2024-04-16. Retrieved 2025-09-20.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://northernbuzz.biz/shock-as-bobi-wine-appointed-ojara-martin-mapenduzi-amongst-the-new-nup-leaders-in-parliament/