Jump to content

Margaret Komuhangi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Margaret Komuhangi yazaalibwa 26 Ogwekkuminebiri 1970) yali Munnayuganda, munnabyabufuzi. Ye yali Omukyala omulonde

omubaka wa Paalamenti owa Disitulikiti y’e Nakasongola eyalondebwa ku tikiti ya NRM . NRM ky'ekibiina ky'ebyobufuzi ekifuga mu Uganda . Yaweerezaako nga ssentebe w'akakiiko akavunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, abakozi n’enkulaakulana y’embeera z’abantu, okuva mu 2014 okutuuka mu 2018. [1] Yafa 16 Ogusooka 2025.

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

  Komuhangi yasomera ku Nakasongola Primary School mu Disitulikiti y’e Nakasongola mu pulayimale gye yafunira satifikeeti ya Primary leaving Examinations (PLE) mu 1983. Oluvannyuma yeegatta ku St Mathias Kalemba Senior Secondary School, Nazigo mu misomo gye egya siniya ey'okuna gye yafunira satifikeeti ya Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1987. Emisomo gye egya Siniya ey'omukaaga yagimalira ku Makerere High School gye yafunira ebbaluwa ya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) mu 1989. Yayingizibwa mu Ssettendekero wa Makerere, nga eno ye yunivasite ya gavumenti esinga obunene mu Uganda, gye yatikkirwa diguli mu by’enjigiriza mu 1994.

Alina Diguli ey'okubiri mu kuddukanya bizinensi eya Masters in Business Administration gye yafuna mu 2006 okuva ku Makerere University Business School .

Okuva mu 1994 okutuuka mu 2000, Komuhangi yaweereza ng’omukwanaganya wa Pan African Women Liberation Organ, Pan African Movement . Mu 1998, yaweereza nga mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Akina Mama wa Africa nga kino kibiina kya bakyala ekya Pan-African Leadership Development Organization okutuusa mu 2000. Okuva mu 2001 okutuuka mu 2003, yaweereza nga mmemba wa National Red Cross Councilmu Disitulikiti y'e Luweero .

Mu Paalamenti

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2001, yayingira ebyobufuzi eby’okulonda ng’avuganya ng’omubaka omukyala mu Paalamenti akiikirira Disitulikiti y’e Nakasongola, eyasooka ku Disitulikiti eno. Yayitibwa mu 2003, ng’ekimu ku byo kyava ku mpaaba. Oluvannyuma Komuhangi yakuba Tubwita mu kalulu k'ekibiina kya National Resistance Movement mu 2010, era naddamu n'awangula ekifo kye emabega mu 2011. [2] Mu 2016, yaddamu n'alondebwa. [3] Yaweerezaako nga ssentebe w'akakiiko ka Paalamenti ya Uganda akavunaanyizibwa ku kikula ky'abantu, abakozi n'enkulaakulana y'embeera z'abantu okuva mu 2014 okutuuka mu 2018. [4]

Ebbanga lye yamala mu Paalamenti, Komuhangi yali mujjumbize ku nsonga z'abakyala. Yalwanirira okukwasisa obulungi amateeka agawera okusalako ebitundu by'abakyala eby’ekyama mu Uganda n’ebitundu ebiriraanyewo. [5] Komuhangi yakolera mu kakiiko ka Paalamenti okuyisa etteeka erikubiriza Bannayuganda okuzaala abaana bamulekwa oba abali mu bwetaavu mu mateeka. [6] Yayogera ku ttemu eryaliwo eri abakazi n’abawala mu bitundu bye Entebbe, nga bangi ku bbo baali battibwa olwa sadaaka n'obusamize. [7] Wakati wa 2017 ne 2018, okufumbiza abaana abato mu Disitulikiti ya Komuhangi e Nakasongola bwakendeera ebitundu 20%, nga kino ky'ava ku nsimbi ezaweebwayo mu bifo awakuumirwa abaana abato, amasomero ga nasale, n’okutendeka eby’emikono. [8]

Emirimu gy’akakiiko

[kyusa | kolera mu edit source]

Alina obuvunaanyizibwa bwa Paalamenti obulala wammanga:

  • Yali mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku mbalirira
  • Yali mmemba ku kakiiko ka Bizinensi

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=240
  2. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1283471/nakasongola-woman-mp-tubwita-loses-nrm-primaries
  3. https://www.ec.or.ug/sites/default/files/docs/Gazette%20List%20Elected%20MPs%202016.pdf
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2022-02-20. Retrieved 2025-09-21.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. https://ugandaradionetwork.com/story/gender-committee-want-regional-legal-framework-on-fgm
  6. https://web.archive.org/web/20160304111249/http://bigstory.ap.org/article/0d2d585512bf415eb234db8e8075813b/uganda-new-law-makes-it-hard-foreigners-adopt-kids
  7. https://www.theeastafrican.co.ke/news/ea/Ugandan-MPs-question-Entebbe-murders/4552908-4088540-format-sitemap-3utgwfz/index.html
  8. https://web.archive.org/web/20200205173433/https://intelpostug.com/2018/10/06/nakasongola-records-20-fall-in-child-marriages-cases/

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.