Jump to content

Margaret Lamwaka

Bisangiddwa ku Wikipedia
Lamwaka Margaret

 

Margaret Lamwaka Odwar nga batera kumuyita Margaret Lamwaka), oba Margaret Odwar, yazaalibwa nga 23 Ogwekumineebiri mu 1969, nga munabyabufuzi Omunayuganda, awereza nga Omubaka wa Paalamenti eyaliko era n'alondebwa mu kifo ekyo eky'okubeera Omukyala akiikirira Konsitituweensi ya Disitulikiti ya Kitgum mu Paalamenti ya Uganda eye kumu okuva mu 2016 okutuuka mu 2021.[1]

Obulamu bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti ye Kitgum mu bitundu bya Acholi mu Bukiika Ddyo bwa Uganda, nga 23 Ogwekumineebiri mu 1969. Yatuula P7 gyeyafunira ebaluwa eraga nti yasoma pulayimale okuva ku Koch Goma Central Primary School. Mu 1986, Yafuna satifikeeti ye eya S6 okuva ku Wanyange Girls' Secondary School erisinganibwa mu Disitulikiti ye Jinja.[1]

Yagenda kutendekero lya Alero Primary Teachers College gyeyafunira Satifikeeti y'okubeera Omusomesa ku mutendera Ogw'okusatu, wamu ne Dipulooma mu kusomesa pulayimale okuva kutendekero lya National Teachers College erisinganibwa e Unyama.[1]

Mu 2006, yafuna Diguli mu kusomesa, gyeyagobereza ne Diguli Ey'okubiri mu Busomesa,Enteekateeka n'okudukanya emirimu, nga zombi yazigya ku Uganda Christian University e Mukono.[1]

Emirimu gye nga tanaba kwenyigira mu byabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Okuva mu 1989 okutuuka mu 2015, Margaret Lamwaka yasomesa mu masomero ga pulayimale mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo. Yatandika nga omusomesa ow'omutendera ogw'okusatu ku Gulu Public Primary School, mu 1989, n'alinyisibwa okutuuka ku mutendera ogusooka kusomero lya Pandwong Primary School, in 2015.[1]

Emirimu gye nga munabyabufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2016, Margaret Lamwaka yavuganya ku ky'omubaka omukyala eyali agenda okukiikirira Disitulikiti ye Kitgum mu Paalamenti, ng'ali ku tikiti y'ekibiina kya National Resistance Movement.[2] Yawangula era nga yaddamu n'alondebwa nga omubaka omukyala eyali mukifo kino akiikirira Disitulikiti ye Kitgum.[3][4]

Mu Paalamenti eye kumi, ye mubaka w'obukiiko obw'emirundu ebbiri okuli;

(a) akakiiko akavunaanyizibwa ku by'amateeka the committee on rules, okukuuma abantu wamu n'empisa

(b) akakiiko ku by'enjigiriza n'eby'emizannyo.[1]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]