Margaret Trowell
Margaret Trowell ( eyayitibwanga Kathleen Margaret Sifton ; yazaalibwa 1904- 5 Omwezi ogwokuna 1985) yali Mungereza omukubi, omusiizi, omubumbi era omukozi w'ebifaananyi mu bibajje ne mu byuma, omuwandiisi era omukugu mukukuuma ebintu ebiyiseeko emyaka / ebyedda (curator) aweebwa ekitiibwa olw’okutandikawo ebbanguliro lya Margaret Trowell School of Industrial and Fine Art (MTSIFA) mu 1937 mu ttendekero lya Makerere College mu Uganda eyali ekuumibwa ebiseera ebyo . [1] [2] [3]
Yali mukubi,musiizi, mubumbi era akola ebifaananyi mu byuma nemiti (Artist) era omusomesa ku bbanguliro lye ery'ebifaananyi mu myaka gya 1930. Yali mukuumi era alabirira ow'amakkaddiyizo g'eggwamga aga Uganda era nga agaddukanya , yaweereza nga pulezidenti wa Uganda Society wakati wa 1946 ne 1947. [4]
Ng’omusomesa, yawagira obuyiiya mu kusomesa okukuba, okusiiga, okubumba n'okukola ebifananyi mu Uganda ng’akola ennambika eyassa essira ku nkuba y'ebifaananyi eri ku mulembe n'enkola z'ebifaananyi ez'ekifirika. [5]
Obuvo bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Margaret Trowell yazaalibwa mu London mu 1904. Yasomera pulayimale ku ssomero lya St. Paul's Girls School, London . Oluvannyuma yeegatta ku bbanguliro ly'okukuba ebifaananyi erya Slade School Of Fine Art. London olwamala n’agenda mu bbanguliro ly'ebyenjigiriza ku Yunivasite y'e London mu 1926 okusoma eby’okusomesa, okukuba ,okusiiga ,okubumba n'okukola ebifaananyi (Art Education) . [6]
Bwe yali ku bbanguliro lino, yasisinkana era n'atendekebwa wansi wa Marion Richardson , "eyamutendeka okusiima obuwangwa obutali bwa nsi za bazungu". [6]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera weyabeera e Machakos, Kenya , Trowell yakola okunoonyereza ku kukuba, okusiiga, okubumba n'okukola ebifaanayi n’obusobozi bw’abantu b’eggwanga ly'aba Kamba mu kukuba nokukola ebifaananyi ekyamuviirako okuwandiika ekitabo kye ekyasooka, African Arts and Crafts, ekyafulumizibwa mu 1937. [7] Ng’omulwanirizi w’okusomesa okukuba ebifaananyi mu butongole, Trowell yatumbula okutandikawo ebbanguliro ly'okukuba, okusiiga ,okubumba n'okukola ebifaananyi mu yunivasite y’e Makerere mu 1937. [3]
Okuwagira okwolesebwa kwe eri okukuba ebifaananyi n’okwetaba kw'abantu ba wano mu by'okukuba ebifaananyi, ye ng’ali wamu ne Mary Fisher n’ekibiina ky’abakubi b'ebifaananyi ekya African Art society balondobamu nebasunsula nobwegendereza (Curated) era ne bategeka Omwoleso gwa The Synod Exhibition (era oguyitibwa Namirembe Exhibition) wakati wa 29 ne 30 Omwezi ogwomusanvu 1938. Guno gwali gugendereddwamu kuba mwoleso gw’ebifaanayi by’abayizi be nga kw’otadde n’okulaga ebintu eby’edda okuva mu Buvanjuba , Mumasekkati n'obugwanjuba bwa Afirika . Ebisero n'ebibbo , emikeeka, obukookolo, ebifaananyi ebikoloddwa mu mbaawo, emiti n'ebyuma (ie Sculptures ) n'ebisiige era gwakuzibwa ng'omwoleso ogwasooka ogw'ebifaananyi by'Afirika" mu Uganda. [8] [9]
Nga guteekebwamu ssente abadukanya obufuzi bw'amatwale mu 1939, omwolesonekyaddako kutambuzibwa London gye gwategekebwa ku ttendekero lya Imperial South Kensington, ng "Omwoleso gw'ebifaananyi n'ebyemikono bya Uganda".
Ng'omukuumi era alabirira ekkaddiyizo
[kyusa | kolera mu edit source]Olw’obuzibu bw’ensimbi mu baddukanya obufuzi bw’amatwale, ebintu ebiwerako ebikwata ku buwangwa bw'abantu byasuulibwa muguluka era n’ebintu ebyali bikunganyiziddwa mu kkadiyizo lya gavumemti enkuumi ne byonoonebwa. [10] Mu 1942, ebintu ebyo batwalibwa mu bbanguliro lya Margaret Trowell School of Fine Art era Trowell omu kiseera ekyo n'aweereza ng'omukuumi ow'ekitiibwa okutuusa mu 1945. [11]
Nga ebintu bikyasuzibwa ku bbanguliro lya lya Margaret Trowell School of Fine Art, ye ng’ali wamu ne Klaus Wachsmann, baalondoola okukungaanya amawulire era ne bafulumya olukalala– Tribal Crafts of Uganda – olwalaga ebintu eby'edda ebikwata ku neeyisa y'abantu ab'enjawulo. [10]
Munda mu kkaddiyizo eno, era yawa emisomo ng’essira aliteeka ku miramwa egy’ennono ng’okukuba okusiiga okubumba nokukuola ebifananyi mu byuma nemiti oba embawo ne n'okukola ebyemikono. [12]
Obulamu bwe ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Trowell (eyayitibwanga Sifton) yali yafumbirwa Huber Carey Trowell, omusawo. Okulondebwa kwe mu buweereza bw'ekisawo oba obw'obujanjabi obw'abafuzi b'amatwale kwavaako okugenda kw'abagalana bano e Kenya mu 1929 n’oluvannyuma ne bagenda e Uganda nga bakyusiddwa mu 1935. [6] [3]
Ebitabo bye ebyafulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- "Margaret Trowell School of Industrial and Fine Arts | Makerere University" (in American English). 2011-07-12. Retrieved 2024-02-17.
- "The Makerere Art School Through The Ages | Makerere University" (in American English). 2012-07-20. Retrieved 2024-02-17.
- "Collections Online | British Museum". www.britishmuseum.org. Retrieved 2024-02-17.
- "Exhibition: Pioneer Women of the Arts – African Heritage House" (in American English). Retrieved 2024-04-24.
- "Margaret Trowell's School of Art. A Case Study in Colonial Subject Formation" (PDF). Margaret Trowell's School of Art. A Case Study in Colonial Subject Formationp: 5. 2014. ISBN 978-3-03734-666-2. Archived from the original (PDF) on 2024-06-25. Retrieved 2025-10-17.
- start (2017-04-05). "Re-reading the Warps and Wefts in Trowell's Mother and Child Print: Debates and Contests". Start Journal (in American English). Retrieved 2024-02-17.
- "The nine pioneer women of East African art". The East African (in Lungereza). 2020-07-06. Retrieved 2024-04-25.
- https://web.archive.org/web/20250430202457/https://wiredspace.wits.ac.za/server/api/core/bitstreams/05e984fc-fdaa-4d87-bf7b-327ff6abcbe9/content
- start (2012-11-30). "Ugandan Art: From Galleries to Green Lawns and Red Roads". Start Journal (in American English). Retrieved 2024-04-25.
- "Boasblogs • The Uganda Museum's Tribal Representation: Colonial Repositories and Community Reconciliation in Uganda". Boasblogs (in Lungereza). Retrieved 2024-04-29.
- Court, Elsbeth Joyce (1985). "Margaret Trowell and the Development of Art Education in East Africa". Margaret Trowell and the Development of Art Education in East Africa. 38 (6): 35. doi:10.2307/3192877. JSTOR 3192877.
- Uganda Herald (April 16, 1944). "Uganda Museum Schools Service". Uganda Herald. pp. Vol. L. No. 1745.
- Earthy, E. D. (July 1938). "African Arts and Crafts.Their Development in the School". Africa. 11 (3): 378–379. doi:10.2307/1155671. JSTOR 1155671.
- "Tribal crafts of Uganda". Amazon UK.
- "Classical African Sculpture".
- "African Design".
- "Margaret Trowell Books".
- "Books by Margaret Trowell".
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]Lua error: Invalid configuration file.
- ↑ "Margaret Trowell School of Industrial and Fine Arts | Makerere University" (in American English). 2011-07-12. Retrieved 2024-02-17.
- ↑ "The Makerere Art School Through The Ages | Makerere University" (in American English). 2012-07-20. Retrieved 2024-02-17.
- 1 2 3 "Collections Online | British Museum". www.britishmuseum.org. Retrieved 2024-02-17.
- ↑ "Exhibition: Pioneer Women of the Arts – African Heritage House" (in American English). Retrieved 2024-04-24.
- ↑ "Margaret Trowell's School of Art. A Case Study in Colonial Subject Formation" (PDF). Margaret Trowell's School of Art. A Case Study in Colonial Subject Formationp: 5. 2014. ISBN 978-3-03734-666-2. Archived from the original (PDF) on 2024-06-25. Retrieved 2025-10-17.
- 1 2 3 start (2017-04-05). "Re-reading the Warps and Wefts in Trowell's Mother and Child Print: Debates and Contests". Start Journal (in American English). Retrieved 2024-02-17.
- ↑ "The nine pioneer women of East African art". The East African (in Lungereza). 2020-07-06. Retrieved 2024-04-25.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named:2 - ↑ start (2012-11-30). "Ugandan Art: From Galleries to Green Lawns and Red Roads". Start Journal (in American English). Retrieved 2024-04-25.
- 1 2 "Boasblogs • The Uganda Museum's Tribal Representation: Colonial Repositories and Community Reconciliation in Uganda". Boasblogs (in Lungereza). Retrieved 2024-04-29.
- ↑ Court, Elsbeth Joyce (1985). "Margaret Trowell and the Development of Art Education in East Africa". Margaret Trowell and the Development of Art Education in East Africa. 38 (6): 35. doi:10.2307/3192877. JSTOR 3192877.
- ↑
{{cite news}}: Empty citation (help) - ↑ Earthy, E. D. (July 1938). "African Arts and Crafts.Their Development in the School". Africa. 11 (3): 378–379. doi:10.2307/1155671. JSTOR 1155671.
- ↑ "Tribal crafts of Uganda". Amazon UK.
- ↑ "Classical African Sculpture".
- ↑ "African Design".
- ↑ "Margaret Trowell Books".
- ↑ "Books by Margaret Trowell".