Mariam Iddrisu
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Ghana |
| Erinnya eriweereddwa | Mariam |
| Erinnya lya famire | Iddrisu |
| Yazaalibwa nga | unknown value |
| Gy'azaalwa | Tamale |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Dagbanli |
| Omulimu | environmental health officer, munnabyabufuzi |
| Gyeyasomera | Ghana Senior High School, Koforidua, Tamale Technical University, University For Development Studies, University of Cape Coast |
| Academic degree | Master of Philosophy, bachelor's degree |
| Academic major | Management Studies, community health |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | New Patriotic Party |
| Ediini | Islam |
| Enfaanana y'enviiri | nzirugavu |
| Langi y'amaaso | blue |
Mariam Iddrisu ye Meeya (Municipal Chief Executive) wa Munisipaali y'e Sagnarigu mu kitundu ky'obukiikakkono bwa Ghana.[1]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Mariam Iddrisu yasomera ku Ghana Senior High School, e Tamale okuva mu 1997 okutuuka mu 1999.[2] Oluvannyuma yawandiisibwa ku Tamale Technical University (eyali emanyiddwa nga Tamale Polytechnic) gye yafunira HND mu Secretaryship and Management okuva mu 2001 okutuuka mu 2003. Oluvannyuma n’agenda mu University of Cape Coast n’afuna diguli ya bachelor’s mu Management Studies 2007 -2009. Oluvannyuma yafuna diguli ya Master of Philosophy mu Community Health and Development okuva mu University for Development Studies, Tamale okuva mu 2012 - 2014. Mu 2014 ye ne Mahama Saaka baafulumya olupapula "Patterns and determinants of essential newborn care practices in rural areas of northern Ghana" olwawa amagezi nti okulabirira abaana abawere mu ggwanga kulina okugaziyizibwa obutakoma mu malwaliro gokka.[3]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Yaliko Senior Executive Officer mu kitongole ky’ebyobulamu ekya Ghana Health Service mu 2005. Yalondebwa ku bwameeya asinga obuto mu Ghana ku Munisipaali ya Sagnarigu mu 2017. Abantu abasoba mu 260 be balina ebifo ebifaanagana nga kino mu Ghana kyokka ku bo 36 bokka be bakyala.[4] Mu 2019 yali omu ku bamyuka ba Pulezidenti b’ekibiina kya Network for Locally Elected Women of Africa (REFELA - West Africa), ekinoonya okwongera ku bukulembeze bw’abakyala mu bitundu by’omu kitundu okwetoloola Afrika.[5][6] Nga tannalondebwa ku bwa Meeya, yakola ng’abakozi abaddukanya emirimu n’oluvannyuma omukungu w’ebyobulamu mu Ghana Health Service, era awandiise ku kunoonyereza ku bulamu bw’abakyala mu bitundu by’omu kyalo.[7]
Yalondebwa nga Pulezidenti w’ekibiina ky’abakyala mu ggwanga ekya NALAG( National Association of Local Authorities of Ghana) okuva mu 2019 okutuuka mu 2021.[8]
Mu 2019 ng’omumyuka wa pulezidenti w’ekibiina kya Network of Locally Elected Women of Africa era nga Meeya yagenda eThekwini mu South Africa okwetaba mu lukiiko lw’ensi yonna olwa United Cities and Local Governments n’olukiiko lw’ensi yonna olw’abakulembeze b’ebitundu. Yayogera ku nsonga y’emirembe n’okwegatta wakati w’emigigi.[8]
Mmemba w'ekibiina kya New Patriotic Party.[9]
Obulamu ku bu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ono mufumbo ne Alhaji Engr. Mohammed Habib Abdallah n’abaana mukaaga.[10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "MCE – Sagnarigu Municipal Assembly" (in American English). Archived from the original on 2020-11-25. Retrieved 2020-10-10.
- ↑ "MCE – Sagnarigu Municipal Assembly". 2020-11-25. Archived from the original on 25 November 2020. Retrieved 2022-03-27.
- ↑ "Patterns and determinants of essential newborn care practices in rural areas of northern Ghana". catalog.ihsn.org. Retrieved 2022-03-27.
- ↑ "Hon. Mariam Iddrisu, the MCE of Sagnarigu, deserves to be celebrated". GhanaWeb (in Lungereza). 2018-03-13. Retrieved 2022-03-13.
- ↑ "Sagnarigu MCE gets International post to champion course of women and children". GhanaWeb (in Lungereza). 2019-01-21. Retrieved 2022-03-13.
- ↑ "With REFELA, we saw small steps for women and a big leap for equality". Africities The most important democratic gathering in Africa (in American English). 2018-11-22. Retrieved 2022-03-13.Template:Dead link
- ↑ Saaka, Mahama; Iddrisu, Mariam (2014-03-11). "Patterns and Determinants of Essential Newborn Care Practices in Rural Areas of Northern Ghana". International Journal of Population Research (in Lungereza). 2014 e404387. doi:10.1155/2014/404387. ISSN 2090-4029.
- 1 2 "Highlights and images of main proceedings for 15 November 2019". IISD Earth Negotiations Bulletin (in Lungereza). Retrieved 2022-03-27. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "localgov" defined multiple times with different content. - ↑ "Sagnarigu MCE appointed as N/R NPP campaign team member representing of all Mayors(MMDCEs)in Northern Region". GhanaWeb (in Lungereza). 2020-09-01. Retrieved 2022-03-25.
- ↑ "MCE – Sagnarigu Municipal Assembly" (in American English). Archived from the original on 2020-11-25. Retrieved 2021-05-27.