Mark Barrington-Ward
Mark Barrington-Ward (25 Ogwekkumi 1927 – 23 Ogwekkumi 2021) yali muwandiisi w'olupapula lw'amawulire mu Bungereza. Era yaweereza nga Pulezidenti wa The Uganda Society wakati wa 1957 ne 1958.
Obulamu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Barrington-Ward yali mutabani wa Robert McGowan Barrington-Ward (1891–1948), eyaweereza n’ekitiibwa mu ggye lya Duke of Cornwall’s Light Infantry era nga yali muwandiisi w'ekitongole ky'amawulire ekya The Times 1941–48. [1]
Okufaananako kitaawe, Barrington-Ward yasomera mu Balliol College, Oxford (yasoma moden history 1948–51), yaweereza mu DCLI era n’afuuka omuwandiisi w’olupapula lw’amawulire. Script error: No such module "Footnotes".
Yafa nga 23 Ogwekkumi 2021 ku myaka 93. Yazaala abaana bana n’abazzukulu munaana. [2]
Omulimu gwe ogw’okuwandiika empapula z’amawulire
[kyusa | kolera mu edit source]Barrington-Ward yatandika mu by'amawulire ng'omuyizi ku lupapula lwa Manchester Guardian mu 1951. Script error: No such module "Footnotes". Mu 1955 yafuuka omuwandiisi eyatandikawo olupapula lwa Uganda Argus . Script error: No such module "Footnotes". Mu 1960 yeegatta ku Westminster Press mu Bungereza. Script error: No such module "Footnotes". Ngakola n'ekitongole ky'amawulire ekya Westminster Press yali muwandiisi wa Northern Echo 1960–61, omuwandiisi wa Oxford Mail 1961–79 [3] ne London Editor okuva mu 1979 okutuusa lwe yawummula mu 1992. Script error: No such module "Footnotes".
Oxford
[kyusa | kolera mu edit source]Barrington-Ward yasigala nga abeera mu Oxford oluvannyuma lw'okutereezaamu ku byali biwandiikiddwa ku Oxford Mail . Script error: No such module "Footnotes". Okuva mu 2004 okutuuka mu 2010 yali Pulezidenti wa Oxford Civic Society . Script error: No such module "Footnotes".
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ensonda
[kyusa | kolera mu edit source]- Barrington-Ward, Mark (2010). Forty Years of Oxford Planning: What has it achieved, and what next?. Oxford: Oxford Civic Society. pp. author's biography on rear cover.