Jump to content

Martin Aliker

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Martin Jerome Okec Aliker (21 Omwezi ogwekkumi 1928 – 15 Omwezi ogwokuna 2024) yali munnayugandas omusawo alongoosa amannyo, omusuubuzi, era omukulembeze w'ekitundu. Yali muwabuzi wa pulezidenti wa Uganda omukulu era yatuula ku bukiiko obufuzi obwa kkampuni za Uganda kumpi amakumi ana. Yaliko ccansala wa yunivasite ya Victoria University, ettendekero ly’obwannannyini. [1] Okuva mu 2004 okutuuka mu 2014, yaweereza nga ccansala eyasooka owa yunivasite y'e Gulu, yunivasite ya gavumenti. [2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Aliker yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Gulu nga 21 Omwezi ogwekkumi 1928, eri Rwot Lacito Okech ne Julaina Auma, muwala wa Musa Ali, Kabona Omukulisitaayo / Omupolotesitante eyasooka okutuuzibwa mu ttundutundu ly'Acholi . Yasomera Gulu High School ku misomo gye egya pulayimale, nga tannagenda ku Kings College Budo ku misomo gye egya siniya eyokuna (S.4-Olevel) . Mu 1948, yaweebwa ekifo ku yunivasite y’e Makerere, yunivasite ya gavumenti esinga obukadde mu buvanjuba bwa Afrika. Nga tannamaliriza misomo gye e Makerere, yawangula sikaala okugenda ku yunivasite y'e NorthWestern, e Chicago, Illinois, Amerika, gye yasomera ssaayansi w'ebyobufuzi, n’atikkirwa ddiguli esooka ey'ebyobuntu. Ekyaddirira ekyo , yaweebwa sikaala ya Fulbright okusoma okulongoosa amannyo, n'era ku Northwestern, n’atikkirwa ddiguli y'obusawo bw'okulongoosa amannyo.Oluvannyuma, yaweebwa ekitiibwa kya Fellow of the Royal College of Surgeons nga kyamuweebwa ettendekero lya Royal College of Surgeon erya England . [3]

Engeri y’obulamu

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lwa ddiguli ye ey'emisomo gy'obusawo mu Amerika, Aliker yaddda mu Uganda n’afuna omulimu ng'omusawo wa gavumenti alongoosa amannyo. Oluvannyuma yava mu mirimu gya gavumenti n’atandikawo eddwaaliro ly’amannyo ery’obwannannyini eryasooka mu Uganda nga lya mufirika.

Mu 1971, Idi Amin bwe yakwata obuyinza ng'ayita mu kuwamba gavumenti, amaka ge gaali gaagabana bbugwe ow’emabega n’ennyumba ya Aliker. Abantu b’Amin ab'ebyokwerinda baamulagira ave mu maka ge kubanga yali atwalibwa ng’owobulabe eri eby'okwerinda bya Amin.

Ku nkomerero ya 1972, yaddukira e Nairobi, Kenya olw’embeera y’ebyokwerinda mu Uganda eyali yeeyongera okwonooneka. Bwe yali e Nairobi, yatandikawo eddwaaliro ly’amannyo eryali lifuna ssente nnyingi, n’abeerayo okutuusa mu 1998, lwe yakomawo mu Uganda. Bwe yakomawo, yasobola okuddamu okutwala amaka ge. [4]

Byeyasigamu ensimbi

[kyusa | kolera mu edit source]

Okutandika mu myaka gya 1960, Aliker yatandika okugula emigabo mu kkampuni za blue chip, omuli Bbanka ya Uganda ey'ebyobusuubuzi ( Uganda Commercial Bank) ne Kkampuni y'eggwanga eya yinsuwa (National Insurance Company) .Nga 2014 Omwezi ogwekkumi , Aliker yali alina emigabo mu kkampuni za Uganda zino wammanga ezisuubula mu lujjudde, n’endala: Stanbic Bank Uganda ; Ekitongole kya Uganda Clays Limited ; Kkampuni y'amawulire eya Nation media ; Kkampuni y'eggwanga eya Yinsuwa; Kkampuni ensoggozi y'omwenge eya East African Breweries . Yatuula ku nkiiko za kkampuni zino nnyingi era nga yeeyali ssentebe wa Uganda Clays Limited. [5]

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

Aliker yatuula ku lukiiko oluwabuzi olwa Actis East African , olwatongozebwa Actis ,kkampuni y’obwannannyini ekolagana n'ekitongole eky'ebyenkulaakulana eky'omukago omwegattira amawanga agaliiko amatwale ga Bungereza . [6] Mu Mwezi ogwomusanvu 2014, yalondebwa okuba ssentebe w'olukiiko lw'abayima abaddukanya ekitavvu ky'ensimbi eziweebwayo bannakyeewa n'abaaliko abayizi okuwagira enteekateeka za yunivasite n'okusiga ensimbi ki (Makerere University Endowment Fund). [7]

Aliker yafa nga 15 Omwezi ogwokuna 2024, ku myaka 95.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Lyatuu, Justus (26 January 2014). "Victoria University Gets New Council". The Observer (Uganda). Retrieved 28 January 2015.
  2. Red Pepper Reporter (27 October 2014). "Gulu University Gets New Chancellor". Red Pepper Newspaper. Retrieved 28 January 2015.
  3. Namisango, Ritah (2 August 2012). "Makerere Honours Dr. Martin Jerome Okec Aliker". Celebrating 90 Years Of Makerere University. Makerere University. Archived from the original on 4 July 2014. Retrieved 19 October 2014.
  4. Adengo, Jonathan (24 April 2013). "The Many Tales of Martin Aliker's Home". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 19 October 2014. Retrieved 19 October 2014.
  5. Otage, Stephen (19 October 2014). "NSSF Takes Over UShs19 Billion Uganda Clays Debt". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 19 October 2014. Retrieved 19 October 2014.
  6. Sseppuya, Mikaili (18 July 2007). "Dr. Martin Aliker Joins Actis Board". New Vision (Kampala). Archived from the original on 21 August 2007. Retrieved 19 October 2014.
  7. Innocent Anguyo, and Raymond Walwimbi (17 July 2014). "Dr. Aliker Appointed MUK Endowment Fund Chairman". New Vision (Kampala). Retrieved 19 October 2014.
  8. "Renowned dental surgeon Dr. Martin Aliker passes away". NTV. 15 April 2024. Archived from the original on 15 April 2024. Retrieved 15 April 2024.
  1. Lyatuu, Justus (26 January 2014). "Victoria University Gets New Council". Retrieved 28 January 2015.
  2. Red Pepper Reporter (27 October 2014). "Gulu University Gets New Chancellor". Retrieved 28 January 2015.
  3. Namisango, Ritah (2 August 2012). "Makerere Honours Dr. Martin Jerome Okec Aliker". Celebrating 90 Years Of Makerere University. Makerere University. Archived from the original on 4 July 2014. Retrieved 19 October 2014.
  4. Adengo, Jonathan (24 April 2013). "The Many Tales of Martin Aliker's Home". Archived from the original on 19 October 2014. Retrieved 19 October 2014.
  5. Otage, Stephen (19 October 2014). "NSSF Takes Over UShs19 Billion Uganda Clays Debt". Archived from the original on 19 October 2014. Retrieved 19 October 2014.
  6. Sseppuya, Mikaili (18 July 2007). "Dr. Martin Aliker Joins Actis Board". Archived from the original on 21 August 2007. Retrieved 19 October 2014.
  7. Innocent Anguyo, and Raymond Walwimbi (17 July 2014). "Dr. Aliker Appointed MUK Endowment Fund Chairman". Retrieved 19 October 2014.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]

Lua error: Invalid configuration file.