Jump to content

Martin Drito

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Martin Andi Drito yali munnabyanfuna, musuubuzi, mutandisi wa mirimu era munnabyabufuzi mu Uganda era munnabyabufuzi mu Uganda, ebyenfuna ebikwata ekifo ekyokusatu mu nsi ezeegattira mu mukago gw'amawanga ag'obuvanjuba bwa'Afirika . Mu kiseera kino ssenkulu akulira enzirukanya yemirimu era omukungu owokuntikko owa kkampuni ya Drito Global Corporation Limited, kkampuni esima eby’obugagga eby’omu ttaka n’okutema emiti gye yatandikawo era nga ye nannyiniyo. Mu 2007, yagambibwa okubeera omu ku bantu abasinga obugagga mu Uganda. [1]

Martin n'era yaweerezaako ng'omubaka omulonde owa paalamenti ow'essaza lya Madi-Okollo , mu disitulikiti y'Arua , ekifo kye yalondebwamu mu 2011 wadde ng'oluvannyuma yafiirwa ekifo kye ekya paalamenti mu kulonda kwa paalamenti okwa 2016. [2]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Arua, nga 15 Omwezi ogwomukaaga 1957. Yasomera ku ssomero lya Ezuku pulayimale , okuva mu 1963 okutuuka mu 1969. Yadda ku ssomero lya Old Kampala Secondary ku misomo gye egya siniya eyokuna (S.4), okuva mu 1970 okutuuka mu 1973. Yayingira Namilyango College mu 1974, n’amaliriza emisomo gye egya siniya eyomukaaga (S.6) ku College, mu 1975. Mu 1987, yafuna ddiguli esooka mu byenfuna (BSc) . Mu 2010, yafuna ddiguli ey'okubiri munzirukanya ya bbizinensi n'ebyobusuubuzi (MBA), okuva mu Yunivasite y'e Conakry, mu Guinea, mu bugwanjuba bwa Afirika. [3]

Mu 1992, Martin Andi Drito yatandikawo kkampuni bbiri: (a) Drito Global Corporation ne (b) Nile Trading Corporation . Bizinensi zombi zeenyigira mu kusima eby’obugagga eby’omu ttaka, okulongoosa eby’obugagga eby’omu ttaka, okugatta omutindo ku mbaawo n’okutema emiti. Ye ssenkulu akulira enzirukanya y'emirimu era omukulembeze owokuntikko owa kkampuni zombi ezilina ofiisi ku kizimbe ky'abakozi (Workers House), ku luguudo lwa Pilkington, mu disitulikiti y'ebyobusuubuzi eyawakati mu Kampala . Okuva mu 1998 okutuuka mu 2004, Martin Drito yaweereza ng’omuwi w'amagezi eri pulezidenti wa Guinea ku nkola oba amateeka g’eby’obugagga eby’omu ttaka n’okugassa mu nkola. [4] Mu 2011, yeesimbawo bulungi ku kifo kya paalamenti eky'essaza lya Madi-Okollo, mu Disitulikiti y'e Arua, era ye mubaka ali mu ntebe. [5]

Ebirala eby'okulowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Wakati wa 2011 ne 2016, yali mmemba wa Palamenti ya Uganda, era yatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku by’obugagga eby’omu ttaka ne ku kakiiko akali ku mbalirira. Oluvannyuma yafiirwa ekifo kya palamenti mu kulonda kwa paalamenti okwa 2016.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Bukumunhe, Timothy (9 April 2007). "Who Are The Richest People in Uganda?". New Vision (Kampala) via Cloud-Computing.Tmcnet.com Quoting Thomson Dialog NewsEdge. Retrieved 8 December 2014.
  2. Sekanjako, Henry (1 March 2011). "New MP Wants Constituency Split". New Vision (Kampala). Retrieved 8 December 2014.
  3. "Profile of Drito Martin Andi, MP for Madi-Okollo County, Arua District". Parliament of Uganda. Retrieved 8 December 2014.
  4. "The Work History of Martin Andi Drito". Parliament of Uganda. Retrieved 8 December 2014.
  5. Kakaire, Sulaiman (1 April 2012). "Taking Stock of MPs Who Inherited Big Shoes". The Observer. Retrieved 8 December 2014.
  1. Bukumunhe, Timothy (9 April 2007). "Who Are The Richest People in Uganda?". New Vision (Kampala) via Cloud-Computing.Tmcnet.com Quoting Thomson Dialog NewsEdge. Retrieved 8 December 2014.
  2. Sekanjako, Henry (1 March 2011). "New MP Wants Constituency Split". Retrieved 8 December 2014.
  3. "Profile of Drito Martin Andi, MP for Madi-Okollo County, Arua District". Parliament of Uganda. Retrieved 8 December 2014.
  4. "The Work History of Martin Andi Drito". Parliament of Uganda. Retrieved 8 December 2014.
  5. Kakaire, Sulaiman (1 April 2012). "Taking Stock of MPs Who Inherited Big Shoes". Retrieved 8 December 2014.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]