Ekibalangulo

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Mathematics)
Genda ku: Ndagiriro, kunoonya

Ekibalangulo (Mathematics)/ Ekibalo (Math) kye kigambo ekivvuunula omulamwa gw'olungereza : "Mathematics". Mu bufunze "ekibalangulo kifuuka "kibalo"(maths).Omulamwa gw'ekibalangulo gutondeddwawo nga tugaziya amakulu(semantic extension) g'ekigambo "ekibalangulo ekitegeeza 'ekifo we baweesezanga oba we bawagalira ebyokulwanyisa omuli amafumu oba obwambe. Okiraba nti ekigambo ekikulu mu kunnyonnyola omulamwa gw'ekibalangulo kiri "kuwagala. N'olwekyo 'ekibalangulo nga essomo kisonjolwa nga "essomo eriwagala obwongo nga lyogeza ennamba".

Singa oba oyagala okwogera ku "mathematician" mu Luganda ogamba "omubalanguzi" ate ebigambo ebirala ebyetaagisa mu sessomo ly'ekibalangulo biri : okubaza (to solve) , okubalangula oba okubalanguza(to calculate) , ekibalanguzo (formula), ekibazo(mathematical solution , calculation).

Ate ekigambo "okusonjola" (to simplify a mathematical expression) nakyo kiva mu kugaziya makulu(semantic extension ) g'ekigambo "okusonjola"(to define)."Omweyoleko" kyo kitegeeza "mathematical expression".