Jump to content

Mathias Mpuuga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mathias Mpuuga Nsamba (yazaalibwa nga 12 Ogwekkumi mu 1975) munnabyabufuzi, munnamateeka, era musomesa Munnayuganda, nga yaliko Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti okuva mu 2021 okutuuka mu 2024. [1] [2] [3] [4] [5] Yaliko omubaka wa Paalamenti akiikirira Disitulikiti y’e Masaka okuva mu 2011 okutuuka mu 2021 n’oluvanyuma naakiikirira Divizoni y’e Nyendo–Mukungwe okuva mu 2021 okutuusa bwe yawangulwa mu kalulu ka bonna ak'omwaka gwa 2026 [6] [7] [8] Mpuuga era yaweerezaako ng'omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Unity Platform (NUP) ow'ettundutundu ly'amasekkati[9] ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuva mu 2021 okutuuka mu 2024 era yali kaminsona wa paalamenti mu kiseera kye ekya Paalamenti ey’ekkumineemu. [10] [11]

Obuto bwe n'okusoma kwe.

[kyusa | kolera mu edit source]

Mpuuga yazaalibwa 12 Ogwekkumi 1975 eri omugenzi Vincent Nsamba ne Gertrude Nsamba. [12]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo mu masekkati ga Uganda.

Mpuuga yasomera ku Kyamaganda Boys Demonstration school ku misomo gye egy'omutendera gwa pulayimale gye yamaliriza mu 1987 neyeegatta ku Masaka Secondary School, naamaliriza ebigezo bye eby'omutendera gwa siniya eyokuna ( UCE ) mu 1992. Oluvannyuma yeewandiisa ku Nakyenyi Senior Secondary School ku siniya eyomukaaga, n'amaliriza mu 1994.[12][13]

Mpuuga oluvannyuma yeegatta ku yunivasite y’e Makerere okusoma kkoosi y'obusomesa bwa siniya mu 2009. [13] Era alina ne ddiguli eyokubiri mu by’enfuna okuva ku yunivasite y’e Makerere ne ddiguli esooka mu mateeka (LLB) gye yafuna okuva mu yunivasite y’emu mu 2016. [13] Oluvannyuma yeewandiisa ku Law Development Center (LDC) naatikkirwa dipulooma mu by’amateeka mu 2020 .[14][15]

Wabweru w'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mpuuga yali musomesa ku Uganda Martyrs High School, Lubaga, gyeyali asomesa essomo ly'enkula y'ensi ( Geogeaphy ) n'ery'ebyenfuna ( Economics) okuva 1998 okutuuka 2003. [13]

Yeeyali Nannyini w'essomero lya Masaka Town College esangibwa mu kibuga ky'e Masaka okuva mu 2000 okutuuka mu 2002. [13]

Yali akolagana ng'era dayirekita addukanya kkampuni ya Liberal Consult Ltd, kkampuni elondoola n'okwekenneenya e eyakolako emabegako ng'eri ku ndagaano ogwokulondool zi pulojekiti ezivujjirirwa ssente z’abagaba b'obuyambi mu Uganda okuva mu 2001 okutuuka 2004. [13]

Yaliko omukulembeze era nannyini addukanya ebbanguliro lya Datamine Technical Business School mu Kampala okuva mu 2003 okutuuka 2011. [13]

Yaliko Ssentebe w'abavubuka mu Gavumenti ez'ebitundu mu Disitulikiti y'e Masaka okuva mu 2000 okutuuka mu 2011. [13]

Mmemba ku lukiiko lwa Yunivasite ya Mutesa I Royal University okuva mu 2010 okutuusa leero. [13]

Emirimu gy’ebyobufuzi.

[kyusa | kolera mu edit source]

Mpuuga yatandika okwenyigira mu by'obufuzi mu mwaka gwe ogusooka ku yunivasite y’e Makerere. Yali mu kibinja ekyatandikawo Uganda Young Democrats (UYD), ekiwayi ky’abavubuka mu kibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party of Uganda . [13] Yeetaba mu kukuyegera Paul Kawanga Ssemwogerere akalulu ku bwapulezidenti mu kulonda kw'obwa pulezidenti bwa Uganda okwa 1996 . [13]

Mpuuga yaweerezaako nga mmemba w’Olukiiko lw'Obwakabaka bwa Buganda (Paalamenti) wakati wa 1998 ne 2010.

Mu kulonda kwa bonna okwa 2011, yavuganya mu kulonda ng'omubaka wa Paalamenti owa Munisipaali y’e Masaka.Yawangula akalulu n’akikirira Munisipaali y’e Masaka okutuusa mu mwaka gwa 2021.

Mu kiseera kino, yaweerezaako nga mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola ensimbi za gavumenti mu gavumenti ez'ebitundu (PAC) n’akakiiko akekenneenya abo pulezidenti baalonze ku buvunaanyizibwa obw'enjawulo. Era yawerezaako nga Minisita ow’ekisiikirize ow’obwapulezidenti n'okulwanyisa enguzi (2011 - 2016), era ne Minisita w’Ebyenjigiriza ow’ekisiikirize (2016 - 2021).

Mu 2021, yaddamu okulondebwa nga omubaka wa Paalamenti akiikirira ekitundu kya Nyendo - Mukungwe . Yeeyali omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Paalamenti ya Uganda eyaweereza okuva mu 2021 okutuuka mu Gwoluberyeberye 2024. Mu 2025, Mpuuga mu butongole yava mu National Unity Platform neyeegatta ku Democratic Front.[16] Yaddamu naavuganya ku kifo ky'omubaka wa Paalamenti owa Nyendo - Mukungwe mu kulonda kwa bonna okwa 2026 ng'akwatidde Democratic Front bendera naye yawangulwa Gyaviira Lubowa Ssebina eyali akutte bendera ya National Unity Platform.[17]

Mpuuga yawaaba omusango n'ekibiina kye ekya Democratic Front oguwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna okwa 2026 mu Kkooti ya Ssemateeka[18]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Mathias Mpuuga appointed Leader of Opposition in Parliament". The Independent Uganda (in American English). 2021-05-28. Retrieved 2022-07-28.
  2. "MP Adeke, Nyanjura bailed at sh1m". New Vision (in Lungereza). 7 June 2022. Retrieved 2023-02-03.
  3. "NUP appoints Mathias Mpuuga as Leader of Opposition in Parliament". Monitor (in Lungereza). 2021-05-28. Retrieved 2022-07-28.
  4. "Mathias Mpuuga Appointed Leader of Opposition in Parliament". Uganda Radionetwork (in Lungereza). Retrieved 2022-07-28.
  5. "Speaker blocks debate on state of Judiciary as House pays tribute to Justice Aweri – Parliament Watch" (in American English). Retrieved 2023-02-03.
  6. Kakaire, Sulaiman. "I'm naturally a politician, says Mpuuga". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2022-07-28.
  7. "🎥 WATCH: Mpuuga sworn in as Nyendo-Mukungwe Division MP". New Vision (in Lungereza). 19 May 2021. Retrieved 2022-07-28.
  8. Kiiza, Christopher (2026-01-18). "Mpuuga, Ssegona, Bwanika Lose Parliamentary Seats as NUP Tightens Grip". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-03-03.
  9. https://observer.ug/news/mpuuga-appointed-leader-of-opposition/
  10. pnabyama (2024-01-10). "Parliamentary Commission constituted". www.parliament.go.ug (in Lungereza). Retrieved 2024-06-05.
  11. child (2018-02-27). "The Parliamentary Commission". www.parliament.go.ug (in Lungereza). Retrieved 2024-06-05.
  12. 1 2 Kakaire, Sulaiman. "I'm naturally a politician, says Mpuuga". The Observer - Uganda (in British English). Retrieved 2023-02-03.
  13. 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 Kasoba, William (2021-05-28). "Who is Mathias Mpuuga, the new Leader of Opposition?". Matooke Republic (in American English). Retrieved 2022-07-28.
  14. Reporter, Express (2021-05-28). "Who is Mathias Mpuuga: Biography, Early Life and Education of the new LOP". Daily Express. Retrieved 2026-07-16.
  15. Okello, Dickens H. (2024-03-01). "Flashback Friday: Mpuuga, the Shadow Minister of Anti-Corruption". ChimpReports. Retrieved 2026-07-16.
  16. Independent, The (2025-06-06). "Mpuuga, Bwanika officially abandon NUP for new party DF". The Independent Uganda:. Retrieved 2026-07-14.
  17. https://ugandaradionetwork.net/story/majority-of-incumbents-lose-parliamentary-seats-in-greater-masaka-as-nrm-regains-ground
  18. "Ex-LOP Mpuuga challenges 2026 general elections in Constitutional Court". New Vision. Retrieved 2026-05-03.