Matia Kasaija
Matia Kasaija (yazaalibwa 28 Ogwokuttaano 1944) munnabyabufuzi era akiikirira Gavumenti ya Uganda mu nsi z'ebweeru nga ye Minisita w'ebyensimbi aliko mu Uganda mu kiseera kino okuva mu March 2015. [1][2]
Okuva nga 27 Ogwokuttaano 2011 okutuuka nga 28 Ogwokubiri 2015, yaliko Minisita w’eggwanga ow’ebyensimbi (okubalilira) mu kabineti ya Uganda . Yadda mu bigere bya Ephraim Kamuntu eyakuzibwa eddaala n'afuulibwa Minisita w'ebyobulambuzi [3]Ekyo nga tekinnabaawo, yaweereza nga Minisita w'eggwanga omubeezi ow'ensonga z'omunda, okuva nga 1 Ogwomukaaga 2006 okutuuka mu Gwokuttaano 2011. Era ye mubaka wa Palamenti eyalondebwa mu Buyanja County mu Disitulikiti y'e Kibaale . [4]
Obulamu obuto n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kasaija yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Kibaale nga 28 Ogwokuttaano 1944. Yasomera ku Yunivasitte y'e Nairobi mu myaaka gya 1960 we yali ekitundu ku Yunivasite ya East Africa. Kasaija yattikibwa ne diguli ya Bachelor of Commerce (BCom) mu 1967.[4]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kulonda kwa Uganda okwa 1980, Kasaija eyalina emyaka 36 mu kiseera ekyo, yalondebwa mu Paalamenti ya Uganda. Okuva mu 1980 okutuuka mu 1981, yaweereza nga Minisita omubeezi ow'abakozi mu ggwanga mu kisanja kya Milton Obote ekyokubiri. Wabula mu 1981, mu lutalo lwa Uganda Bush, Kasaija yava muggye ly'abayeekera erya National Resistance Army (NRA) eryakulemberwa eyali agenda okubeera Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni, era n'aweereza nga mmemba w'ekibiina kya NRA ekya External Wing okuva mu 1981 okutuuka mu 1986.[5]
Wakati wa 1987 ne 1990, Kasaija yaweerezaako nga executive dayirekita wa Departed Asians Property Custodian Board, ekitongole kya gavumenti ekya parastatal ekyali kivunaanibwa okukuuma ebintu ebyaggibwa ku Bannaasia abaagobwa Idi Amin mu ggwanga mu myaka gya 1970. Mu 1998, yaweereza ng’omumyuka wa dayirekita w’okukunga abantu abangi mu kitongole kya National Resistance Movement Secretariat . Mu kulonda kwa paalamenti okwa 2006, yalondebwa ku Paalamenti ey’omunaana,[6] era n’alondebwa okuba Minisita w’eggwanga ow’ensonga z’omunda mu Gwomukaaga gw’omwaka gwe gumu. [7]Mu kulonda kw'eggwanga okwa 2011, yaddamu okulondebwa ku kifo kye eky'omu paalamenti. Mu nkyukakyuka mu kabineti nga 27 Ogwokuttaano 2011, yaddamu okuweebwa emirimu mu Minisitule y’ebyensimbi nga Minisita w’eggwanga ow’okuteekateeka.[8]
Emirimu emirala
[kyusa | kolera mu edit source]- Bbanka y’enkulaakulana mu Afrika (AfDB), Memba w’olukiiko olufuzi (okuva mu 2015) [9]
- Bbanka y’enkulaakulana mu buvanjuba bwa Afrika (EADB), Memba w’olukiiko olufuzi (okuva mu 2015) [10]
- Ekitongole ky’ensi yonna eky’ensimbi (IMF), Memba w’olukiiko olufuzi (okuva mu 2015) [11]
- Islamic Development Bank, Ex-Officio Member ku lukiiko olufuzi (okuva mu 2015) [12]
- Ekitongole ky’amawanga amangi ekikakasa ssente (MIGA), World Bank Group, Ex-Officio Member of Board of Governors (okuva mu 2015) [13]
- World Bank, Ex-Officio Member ku lukiiko olufuzi (okuva mu 2015) [14]
- Enkolagana y’ensi yonna ey’enkolagana ennungi mu nkulaakulana, Co-chair (-2019) [15]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Matia Kasaija mufumbo. Kigambibwa nti anyumirwa nnyo okutambula, okuwuga, okusoma n'emizannyo .
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijulizidwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Full Cabinet List As At 1 March 2015" (PDF). 1 March 2015. Archived from the original (PDF) on 9 July 2017. Retrieved 1 March 2015.
- ↑ https://www.bloomberg.com/news/articles/2015-03-01/uganda-s-museveni-promotes-matia-kasaija-to-finance-minister
- ↑ https://www.facebook.com/note.php?note_id=10150208384704078&comments
- 1 2 "Profile of Matia Kasaija, Member of Parliament for Buyanja County, Kibaale District". Parliament of Uganda. 2012. Archived from the original on 1 May 2015. Retrieved 1 March 2015.
{{cite web}}: CS1 maint: bot: original URL status unknown (link) - ↑ https://archive.today/20150302092601/http://www.newvision.co.ug/D/8/455/484788
- ↑ https://web.archive.org/web/20150210223034/http://www.newvision.co.ug/D/8/13/479964
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1170806/-/c0y8sbz/-/index.html
- ↑ https://www.afdb.org/fileadmin/uploads/afdb/Documents/Generic-Documents/AfDB_Annual_Report_2017_EN.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2015-10-25. Retrieved 2025-12-05.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/International_Monetary_Fund
- ↑ https://www.isdb.org/assembly/governor
- ↑ http://siteresources.worldbank.org/BODINT/Resources/278027-1215526322295/MIGAGovernors.pdf
- ↑ http://siteresources.worldbank.org/BODINT/Resources/278027-1215526322295/BankGovernors.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-04-28. Retrieved 2025-12-05.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)