Matiya Mulumba
Matiya Mulumba, era amanyiddwa nga Matthias Murumba Kalemba (1836 – Ogw'okutaano 30, 1886), yali Mukatoliki wa Uganda, omu ku Bajulizi ba Uganda, yattibwa nga 30, Ogw'okutaano 1886 oba nga ali mu myaka 50. Ye, mu bajulizi abalala, yafuna obulumi okusinga ku banne ennyo. Yabambulwako olususu nga mulamu ne okufa.[1]
Mu 1920, Paapa Benedict XV yafuula Mulumba omukisa era nga 18 Ogw'ekkumi 1964, Paapa Paul VI yamuteeka mu lubu lw'abatukuvu. [1]
Obulamu obwasooka
[kyusa | kolera mu edit source]Matiya yazaalibwa Bunnya mu Ssaza ly’e Busoga. Ono yayolebwa Fr. Magatto. Era Oluvannyuma lwa Magatto okufa, Mulumba yasigala ne muganda wa Magatto gwe bayita Buzibwa.[1] Yasooka kusiramuka naye oluvannyuma n’afuuka omukatoliki nga 31st Ogw'okutaano 1880. Era yabatizibwa Pere Ludovic Girault e Mityana mu maka ge. [1]
Bwe baali bazimba olubiri lwa Kabaka Mwanga olwali lwokeddwa nga 22 Ogw'okubiri 1886, Mulumba ng’ali wamu ne Charles Lwanga, Lukka Baanabakintu ne Mukwenda baakwatibwa, ne basibibwa era ne basalirwa omusango gw’okufa Mukasa, Chancellor (Katikiro). Mulumba yatwaliddwa mu Old Kampala, gye yava n’ayokebwa nga mulamu. Ate Lwanga yatwalibwa e Namugongo.[1][2]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 5 "ST. Matia Mulumba". ugandacroydoncatholiccommunity.org. Retrieved 2023-10-19.
- ↑ Aylward, Shorter (1851–1886). "Banabakintu, Luke". Dictionary of African Christian Biography (in Lungereza). Retrieved 2023-10-19.