Jump to content

Maureen Nantume

Bisangiddwa ku Wikipedia
Maureen Nantume

 

Maureen Nantume (yazaalibwa nga 18 Ogwokuna, 1984), yali muyimbi wa Uganda wansi wa Golden Band eyava mu Eagles Production oluvannyuma n'atandika okuyimba yekka. [1][2]

Ebyafaayo n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Maureen Nantume yazaalibwa omugenzi Robina Nakitende, eyafa mu 1996. Yasomera mu ssomero lya Agro-Links Secondary School erisangibwa e Namasuba n'awandukira mu Siniya eyookusatu, mu 2002.[3] Yakola ng'omukozi w'awaka mu Namasuba ng'afuna omusaala gwa 15,000 buli mwezi okumala emyaka esatu.[3]

Nantume yazannyira mu programu ya ttivi ng'omuweereza ng'alaga omulimu gwe ogwasooka. Omulimu gwe ng'omuyimbi gwatandika mu myaka gya 2000 n'ennyimba nga Webale kufumba, abakozi ba safari, kenfunye gwe ne byakola.[4] Mu 2003, Nantume yeegatta ku Eagles Production Band gye yatandikira okuyimba ng'omuyimbi era ng'omuzinzi. Mu 2004, yafulumya oluyimba lwe olwasooka oluyitibwa Siri ndogoyi (si ndogoyi), yagoberera oluyimba luno ne Oyitiriza 2005 ate, Nkwagala nnyo mu 2006 era ennyimba zino essatu zaamufuula amanyiddwa abantu.[5] Yafuna eky'okufuuka omuyimbi kyaluŋŋamizibwa omuyimbi Mariam Ndagire ne Juliana Kanyomozi.[5]

Nantume yazannyako ng'omukozi w'awaka mu pulogulaamu ya ttivi ng'alaga omulimu gwe ogwasooka. Omulimu gw'okuyimba yagutandika mu myaka gya 2000 n'ennyimba nga Siri Ndogoyi, Weebale kunfubutula, Abakozi ba Safari, Kenfunye ggwe, Byakola n'endala.[6] Mu 2003, Nantume yeegatta ku Eagles Production Band gye yatandikira okuba omuyimbi ayambako abayimbi abakulu. [5]Mu 2004, yafulumya oluyimba lwe olwasooka oluyitibwa Siri ndogoyi, yayongerako olwa Oyitirizza mu 2005 ate, Nkwagala nnyo mu 2006 era ennyimba zino essatu zaamufuula ow'ettutumu eri abantu.[5] Abayimbi nga Mariam Ndagire ne Juliana Kanyomozi be yeegombanga era abaamusikiriza okutandika okuyimba[5]

 *Nkuze *Talemwa *Kisaganda

*Kalaala *Malidadi *Ndi Muzadde

*Akambe *Siri Ndogoyi *Sweet Mutima

*Maama *Munda Eri *Abakozi Ba Safari

*Omutugunda *Kenfunye Gwe *Kirooto Kyange

*Champion *Bwoba Onjagala *Byakola

*Masanda *Nze Ani *Kiyungu

*Oyitiriza *Confession *Abantu Bakuno

*Nkuwangaaze *Katonda Yampa *Nkuwangaaze

*Ekirooto Kyange *Ntemera Ekubo *Wojja Ekigere

*Ndi Muzadde *Kabani Kundongo

*Ngenze Kufumba *Njagala Kubanawe

*Darling *Yegwe

  1. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/singers-whose-music-celebrates-womanhood-1814866
  2. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/singer-maureen-nantume-started-out-as-a-maid-1791592
  3. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/singers-whose-music-celebrates-womanhood-1814866
  4. https://www.newvision.co.ug/news/1420331/maureen-nantume-ugandan-angelina-jolie
  5. 1 2 3 4 5 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1196626/nantume-comes-age
  6. https://www.newvision.co.ug/news/1420331/maureen-nantume-ugandan-angelina-jolie