Jump to content

Mawanda of Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mawanda yali Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda, wakati wa 1738 ne 1740. Yali Kabaka wa Buganda ow’amakumi abirimwababiri (22).

Okulinnya kwe ku nnamulondo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Ssekabaka Ndawula Nsobya owookusatu, eyali Kabaka wa Buganda ow’ekkuminomwenda. Maama we yali Nakidde Luyiga ow’ekika ky’eNgo, owokuna (4) ku bakyala ba kitaawe omusanvu (7) . Mawanda yatta muganda we Kabaka Kikulwe Mawuba n’awamba entebe mu biseera bya 1738. Yatandikawo ekibuga kye ekikulu e Katakala. [1]

Obufuzi bwa Mawanda bwamanyibwa nnyo ku kugaziwa kwa Buganda. Yassaawo ekibuga kye ekikulu e Katakala, mu bugwanjuba bwa Mityana nga bweyitibwa ennaku zino. Kino yakikola kagenderere okusobola okukola ng’ekifo w’ayinza okusinziira okulumba Bunyoro. Yeddiza ekitundu kyonna ekyetoolodde Ennyanja Wamala, omuli Bukuya ne Kasanda,era naagaziwa nga agenda mu bukiikakkono okutuuka e Bwanja ne Kiboga. [2]

Mawanda amaaso ge yagassa ku Kyaggwe, eyali ku ludda olw’obuvanjuba bwa Buganda. Ng’amaze okwegatta ne Nkutu, omulwanyi okuva ku kizinga ky'eLwaje, nga ono yawaayo emmeeri eyakozesebwa mu kutabaala Kyaggwe ne Busoga. Mu kwekenneenya olutabaalo olwo mu Busoga, Kiwanuka agamba nti "obuwanguzi bwabwe bwayonoonebwa ebikolwa eby'obukambwe, era nga bwamanyibwa ng'obwalimu okusanjaga abantu n'okwokya ebintu byabwe ..... wadde abaamuddira mu bigere nga Kyabaggu, bayinza okuba nga baakola ebikolwa eby'obuzira ebisingawo oba okukola ebikolwa eby'entiisa ennyo mu Busoga (Suna II) elinnya lya Mawanda lyeryateeka ennyo entiisa mu Basoga abakadde [3] era kwe kwava enjogera egamba nti Omuganda Mawanda Olumbe Lwekirango Lwaita Mama Nataata (Mawanda, Omuganda ow'ettima, yatta ba nnyaffe ne ba kitaffe [4]

Abamu ku bakungu abakulu mu kiseera ky’obufuzi bwe kuliko; [5]

Name Clan Position Translation
Ssebanaakitta Mamba Katikiro Katikkiro
Kavuma Nvuma Kimbugwe Omumyuka wa Katikkiro
Mpembe Lugave Kaggo Omwami wa Kabaka atwala essaza Kyaddondo
Lubinga Lugave Kasujju Omwami wa Kabaka atwala essaza Busujju
Matumpaggwa Nkima Kangaawo Omwami wa Kabaka atwala essaza Bulemezi
Mugwanya Nkima Mugema Omwami wa Kabaka atwala essaza Busiro
Mujwege Ntalaganya Kitunzi Omwami wa Kabaka atwala essaza Gomba
Manganyi Ndiga Katambala Omwami wa Kabaka atwala essaza Butambala

Awandiikiddwako nti yawasa abakyala musanvu (7) : [1]

  • Naabakyala Kikome, Kaddulubaale, muwala wa Gabunga, ow'ekika ky'eMamba
  • Naabakyala Nabunnya Nassaza muwala wa Masembe ow'ekika ky'eNsenene
  • Nabuuso muwala wa Gunju ow'ekika ky'oButiko.
  • Nakasinde muwala wa Namwaama ow'ekika ky'eKkobe
  • Namisango muwala wa Sebugwaawo ow'ekika ky'oMusu
  • Nangonzi muwala wa Mbaziira ow'ekika ky'eNnyonyi
  • Nankonyo muwala wa Kagenda, ow'ekika ky'eMmamba

Abaana be mwalimu be bano wammanga:

  • Omulangira Mulere, nga nnyina yali Nabunnya. Yajeemera Kabaka Kyabaggu kyokka n’awangulwa era n’akwatibwa. Yattibwa nga ayayokebwa mulamu e Buyinja.
  • Omulangira Bbengo, nga nnyina yali Kikome. Yajeemera Kabaka Kyabaggu kyokka n’awangulwa n’akwatiwa. Yattibwa nga ayokebwa mulamu e Bbuye.
  • Omulangira Waswa, nga nnyina yali Nakasinde. Yali mulongo ne Nakato.
  • Omulangira Kirabe, nga nnyina yali Nangonzi.
  • Omumbejja Nakato, nga nnyina yali Nakasinde. Yali mulongo ne Waswa.
  • Omumbejja Namirembe, nga nnyina yali Nankonyo.

Emyaka gye egyasembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Ekibinja ky’abalangira mu lubiri lw’obwakabaka beekobaana ne batta Kabaka Mawanda mu 1740. Ekibinja kino mwalimu Omulangira Mwanga Sebanakitta, eyalinnya ku ntebe oluvannyuma lwa Kabaka Mawanda okufa. Kabaka Mawanda yasooka kuziikibwa e Meerera, kyokka n’aziikibwa mu 1864 n’addamu okuziikibwa e Serinnya. [6]

"Mawanda had qualities which endeared him to the people. He was brave and fearless."

  • MM Semakula Kiwanuka, Ebyafaayo bya Buganda 1971[7]

"Kabaka Mawanda (1730-60) yali anywezezza obwakabaka ng'ekifo ekikulu eky'obuyinza mu Buganda ng'ayita mu nnongoosereza mu nzirukanya y'emirimu ze yakola, n'akola enkola y'enzirukanya z'emirimu ez'enjawulo e Bitongole ng'abakungu babyo baali bunaanyizibwa butereevu ku Kabaka era nga batuuka wansi ku byalo."

  • Samwiri Lwanga-Lunyiigo, Mwanga II, 2011[8]

Obusika nga bwe bwali

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Kaggwa%2C%20Apollo%3B%20Kalibala%2C%20Ernest%20B.%20(1934).%20The%20Customs%20of%20the%20Baganda.%20p.%C2%A033.,-This%20reference%20is
  2. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Gomotoka%2C%20J.T.K.%2C%20Makula.%20(unpublished%20MSS%20in%20Makerere%20Library),-Issues
  3. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Gomotoka%2C%20J.T.K%2C%201918%2C%20Munno%3B,-Issues
  4. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Kiwanuka%2C%20MM%20Semakula%2C%20A%20History%20of%20Buganda%3A%20From%20the%20foundation%20of%20the%20Kingdom%20to%201900.%20London%3A%20Longman%2C%201971,-Issues
  5. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Kaggwa%2C%20Sir%20Apollo%20K%2C%20Basekabaka%20be%E2%80%99Buganda%20%5Btranslated%20by%20MM%20Semakula%20Kiwanuka%5D.%20Nairobi%3A%20East%20African%20Publishing%20House%2C%201971.,-Issues
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2013-06-15. Retrieved 2025-07-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Kiwanuka%2C%20MM%20Semakula%2C%20A%20History%20of%20Buganda%3A%20From%20the%20foundation%20of%20the%20Kingdom%20to%201900.%20London%3A%20Longman%2C%201971.,-Issues
  8. https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Mawanda+of+Buganda#:~:text=View-,Lwanga%2DLunyiigo%2C%20S.%20(2011).%20Mwanga%20II%3A%20Resistance%20to%20Imposition%20of%20British%20Colonial%20Rule%20in%20Buganda%2C%201884%2D1899.%20Kampala%3A%20Wavah%20Books,-Issues

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]