Maxwell Akora
Maxwell Ebong Patrick Akora (yazaalibwa nga 31 Ogwomunaana 1965). Munnayuganda munnabyabufuzi era mmemba wa ppaalamenti akiikirira essaza ly'eMaruzi mu disitulikiti y'eApac nga akozesa tikiti ya Uganda People's Congress (UPC).[1][2][3]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Akora Mukulisitaayo . Yafuna diguli esooka mu by’obusuubuzi okuva mu yunivasite ya Makerere ne diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi okuva mu yunivasite y’eCambodia . [4] [5] [ <span title="The material near this tag failed verification of its source citation(s). (August 2021)">failed verification</span> ] Mu 2019, Akora yeerangirira ng’akulira ekika ky’Oyima ng’akozesa ebirango by’emikutu gy’amawulire nga bilangirira okutuuzibwa kwe kyokka abakulu b’ekika ne bamwegaana nga balabula ab’ekika obutabeerayo ku mukolo. [6]
Omulimu gwe ogw’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Akora yalondebwa ku palamenti ng’akiikirira Essaza lya Maruzi mu kibiina kya UPC. Aweerereza ku bukiiko okuli ak'eby’empuliziganya amawulire ne tekinologiya, eby’ensimbi, okuteekerateekera, naak'enkulaakulana y’ebyenfuna. Yalondeddwa mu kakiiko ka sectoral committee ng’omumyuka wa Ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya ne Tekinologiya, ng’omumyuka w’omubaka w'Obukiikakkono bwa Tororo, Annet Nyakecho. Bammemba b’ekibiina kye eky’ebyobufuzi, UPC mu palamenti beekalakaasa olw’okulondebwa okwo [7] kubanga ekifo ekyo kyali kyaterekebwa nga ky'akibiina ekiri mu buyinza mu palamenti y’ebibiina.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-17. Retrieved 2025-08-11.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://visiblepolls.org/ug/2021-general-election/candidates/akora-maxwell-ebong-patrick-6867/
- ↑ https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/ee76c193-d289-4bef-b0e2-b88f033c6384/
- ↑ https://www.mpscanug.com/profile/hon-akora-maxwell-ebong-patrick/
- ↑ https://ugandaradionetwork.net/story/mp-akoras-mother-killed-by-grand-daughter
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-17. Retrieved 2025-08-11.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://parliamentwatch.ug/opposition-protests-appointment-of-its-mp-onto-a-sectoral-committee/