Mayur Madhvani
Mayur Madhvani (yazaalibwa 1949) munnayuganda omusuubuzi , mutandisi wa mirimu era munnamakolero ng'esibuko ye y'e Buyindi. Alina obukugu bwansi yonna mu kulabirira abakozi n’okuddukanya emirimu mu ngeri ey’enjawulo, alina obukugu bwa nsi yonna mu kukulira abakozi n’okuddukanya emirimu mu nsi yonna, alina obukugu bwa nsi yonna mu by’obusuubuzi n’amateeka ga kkampuni, ow’ekibinja ky'amakampuni ga madhvani, ekisangaibwa e Kakira mu Uganda . [1] Ebitiibwa ebyogeddwako bipya ebitondeddwawo.
Emyaka egyasooka
[kyusa | kolera mu edit source]Mayur ye mutabani omuto era omwana wa Muljibhai Madhvani (1894–1958), omukulembeze w’amaka eyatandikawo ekibinja kya Madhvani mu 1930. Bakulu ba Mayur abana abalenzi beeba Jayant, Manubhai, Pratap ne Surendra. Jayant, eyali asinga obukulu yafa ku myaka 49 olw’obulwadde bw’omutima mu 1971 bwe yali ku lugendo lwa bizinensi e Buyindi. Manubhai, owookubiri, yafa mu mwezi ogwokutaano 2012 ku myaka 81. [2]
Emyaka emizibu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1972, nnakyemalira wa Uganda Idi Amin yagoba abantu bonna aba Asia mu Uganda, nga tafuddeeyo ku butuuze. Mayur, n’ab’omu maka ge abalala baasengukira mu London. Mu 1974, yawasa Mumtaz eyali omuzannyi wa firimu n'emizannyo mu kisaawe kya firimu ekya Buyindi (Bolywood) . Bombi awamu bazadde b’abaana babiri ab’obuwala, Natasha [3] ne Tanya.
Oluvannyuma lwa Idi Amin
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lwa Amin okuggyibwa mu ntebe mu 1979, ba Madhvani badda mu Uganda ne beddiza eby’obugagga byabwe. [4]
Kakira Sugar Limited, kkampuni enkulu mu famire eno, baagyeddiza bulungi nnyo mu 1985. Mu bukulembeze bwa famire ya Madhvani, bakuzizza KSW okufuuka kkampuni esinga okukola ssukaali omulongooseemu mu Buvanjuba bwa Afrika. KSW ekola ttani za ssukaali ezibalirirwamu emitwalo kkumi na mukaaga n'ekitundu (165,000) buli mwaka, nga zino zikola ebitundu nga 47 ku buli 100 ku sukaari eyakolebwa mu ggwanga mu 2011. [5] Ekibiina kino era kikulembeddemu okugattako ku kukola amasannyalaze mu Kakira, kati ekola megawatt 52, nga ku zino megawatts 20 zikozesebwa munda ate megawatts 32 ne zitundibwa okugatta kwago ag’eggwanga. [6] Mu 2016, ekyuma ekikola omwenge ekika kya Ethanol nakyo kyatandikibwawo nga byonna awamu bikola liita za ethanol 60,000 buli lunaku.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Nsehe, Mfonobong (8 January 2014). "The 10 Leading Family Businesses in Africa". Forbes. Retrieved 16 October 2014.
- Mugabi, Frank (19 May 2011). "Manubhai Madhvani For Cremation, Ashes Destined for Uganda". New Vision (Kampala). Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- Newvision, Archive (23 December 2005). "Natasha Madhvani Weds Indian Movie Star". New Vision (Kampala). Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- Hiltzik, Michael (4 April 1989). "Powerful Dynasty: All In The Family Feud Rips Uganda". Los Angeles Times. Retrieved 16 October 2014.
- Among, Barbara (8 December 2008). "Kakira Doubles Sugar Production". New Vision (Kampala). Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- Ojambo, Fred (5 April 2011). "Ugandan Sugar Producers Plan to Invest $197 Million to Expand, Diversify". Bloomberg News. Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Nsehe, Mfonobong (8 January 2014). "The 10 Leading Family Businesses in Africa". Forbes. Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Mugabi, Frank (19 May 2011). "Manubhai Madhvani For Cremation, Ashes Destined for Uganda". Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Newvision, Archive (23 December 2005). "Natasha Madhvani Weds Indian Movie Star". Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Hiltzik, Michael (4 April 1989). "Powerful Dynasty: All In The Family Feud Rips Uganda". Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Among, Barbara (8 December 2008). "Kakira Doubles Sugar Production". Archived from the original on 22 October 2014. Retrieved 16 October 2014.
- ↑ Ojambo, Fred (5 April 2011). "Ugandan Sugar Producers Plan to Invest $197 Million to Expand, Diversify". Bloomberg News. Retrieved 16 October 2014.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ebyafaayo bya Muljibhai Madhvani (byaterekeddwa nga 10 July 2015)
- Madhvani Awaddeyo Obukadde bwa USh15 (US$6,000) Okwolekera Amalaalo g'e Kasubi