Mbarara United FC
Mbarara United Football Club yali kiraabu ya mupiira mu Uganda eyali esinganibwa e Mbarara mu Disitulikiti y'e Mbarara mu Bugwanjuba bwa Uganda. Kiraabu eno yazannya mu kibinja kya Uganda eky'okubiri ekimannyikiddwa nga Big league mu sizoni ya 2009–10 kyokka mu kiseera kino tewali likodi za FUFA zikakasa oba kiraabu eno ekyakola. [1]
Ebibakwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Mbarara United y’emu ku ttiimu 8 ezeetaba mu sizoni eyasooka eya National First Division mu 1968–69, liigi eno ye yasooka okuzannyibwa nga liigi ya Uganda Super League tenaba. Kiraabu eno yasalibwaako oluvannyuma lwa sizoni emu ku mutendera ogw’oku ntikko, kyokka ebadde n’emirundi 6 ng'ekuzannya omupiira gw'omu liigi yawagulu mu sizoni 9 neemala emyaka kumpi 40. [2]
Baasemba okuzannya mu liigi ya Uganda eya wagulu sizoni ya 2008–09 era nga tebaali bamukisa okubeera nga badizibwaayo mu kibinja kyawansi oluvannyuma lw'okukwata ekifo kya 14 n’obubonero 35. Sizoni eyaddako mu 2009–10 beegatta ku Ugandan Big League, liigi empya eya FUFA ey’omutendera ogw’okubiri, kyokka tebaakola kinene mu kibinja kya Rwenzori. Obuwanguzi bwebasembayo okufuna bwaali bwakukuba ttiimu ya Masaka Municipal Council FC ggoolo 7-1.[3] Kiraabu eno ebadde tekola mu sizoni eziyise. [1]
Mbarara United yatekebwa nga mu ssenet bamemba ba kiraabu n'Akakiiko ka Munisipaali ya Tawuni y'e Mbarara. Engeri Mbarara gy’esinganibwa okumpi n’ensalo y’omubukiika ddyo bwabugwanjuba ggwanga tekyewunyisa nti abazannyi okuva e Congo bebaasinga ng'okubeera ku ttiimu yabwe eyali ng'esooka.
Likodi zebalina mu bibinja bya wagulu
[kyusa | kolera mu edit source]| Sizoni | Ekibinja | Liigi | Ekifo | Pl. | W | D | L | GS | GA | Pts | Ensenvula |
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| 1968–69 | 1 | Ekibinja Ekisooka kya Liigi ya Uganda | 7th | 14 | 2 | 1 | 11 | 20 | 57 | 5 | |
| 1969–79 | Beetaba nga mubibinja bya wansi | ||||||||||
| 1980 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 15th | 30 | 8 | 3 | 19 | 26 | 53 | 19 | Baasalibwaako |
| 1981–82 | Beetaba nga mubibinja bya wansi | ||||||||||
| 1983 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 12th | 29 | 8 | 7 | 14 | 29 | 41 | 23 | Baasalibwaako |
| 1984–99 | Beetaba nga mubibinja bya wansi | ||||||||||
| 2000 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 7th | 30 | 11 | 13 | 20 | 45 | 39 | 46 | |
| 2001 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 6th | 28 | 13 | 5 | 10 | 42 | 41 | 44 | |
| 2002 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 10th | 28 | 9 | 5 | 14 | 30 | 46 | 32 | |
| 2002–03 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 13th | 27 | 4 | 3 | 20 | 27 | 58 | 16 | Baasalibwaako |
| 2004 | Beetaba nga mubibinja bya wansi | ||||||||||
| 2005 | 1 | Ekibinja kya Uganda ekyababinyweera-Ekibinja A | 5th | 8 | 1 | 2 | 5 | 6 | 13 | 5 | Baagenda mu kifo ky'abaali basalibwaako |
| Ekibinja kya Uganda ekyabbinyweera-Mu balwanisa okusalibwaako | Baasalibwaako | ||||||||||
| 2006–08 | Beetaba nga mubibinja bya wansi | ||||||||||
| 2008–09 | 1 | Liigi ya Uganda eyababinyweera | 14th | 34 | 7 | 14 | 13 | 22 | 30 | 35 | Baasalibwaako |
| 2009–10 | 2 | Uganda Big League – Rwenzori Group | 6th | 14 | 5 | 2 | 7 | 17 | 25 | 14 | Bakivaamu kunkomerero ya sizoni |
| 2011 - present |
Tewali kiraga nti kiraabu ekyakola | ||||||||||
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "FUFA Voters' Register (Zone 6)". Retrieved 2014-01-31. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "FUFA" defined multiple times with different content - ↑ Lumu, David; Sebugwawo, Charles (2008-07-09). "New Boys Unplugged". The Observer. Retrieved 2014-01-31.
- ↑ "Uganda 2008/09 – RSSSF (Hans Schöggl and Ian King)". RSSSF. 2018-10-11. Retrieved 2014-01-31.