Mc Norman
Emirimu gy’okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Ku myaka 12, Mc Norman (Ronald Mutebi) yatandika emirimu gy'okuyimba mu baandi eyitibwa Afrigo, ng’akola ne Joanita Kawalya ne Peterson Mutebi emabega mu 1987.
Oluvannyuma yeegatta ku MM Disco Sound, Missouri Night Club, ng’akolagana n’abantu nga Ivan Matama, DJ Lubba Style ne Rhino Kalemba, nga tanaba kwegatta ku Jose Chameleone ne DJ Bernazor ng’abazinyi ne MC mu Missouri Club buli Lwakusatu n’Olwokutaano.
Mc Norman yasiimibwa nnyo oluvannyuma lw’okukola ne Sam Amooti ne Paddy mu Jaaja Ansinansi n’okukola mu Vibration Disco Club ng’ali wamu ne Junior Plies Compius, DJ Roberto, Papa Cidy, DJ Henry ne Lota.
Yeegatta ku muganda we era eyaliko munnakatemba wa Bakayimbira Dramactors, Philip Ganja mu South Afrika mu 1998 oluvannyuma lw’okukolera mu Vibes Sound okumala akaseera katono.
Nga bali wamu ne muganda we, Norman baatandikawo kampuni ekola myuziki ne ffirimu wansi w'erinnya lya kitaabwe "Ganja" Music Production okuyambako okutumbuula ebitone.
Ab’oluganda bano bombi bakoze n’abamu ku bayimbi abamanyiddwa ennyo mu South Africa aba Kwaito okuli Arthur Mafokate, omugenzi Zombo, Purity ne Penny Penny the Shangani music star. Kampuni yaabwe eya firimu efulumizza ffirimu nga "Welcome to South Africa" eyatunda obutambi obuwera obukadde 2 mu Uganda n'obulala 5000 mu South Africa mu lunaku lwe yafulumizibwa. Bano era baafulumya emannyikiddwa nga "Buladina", ekwata ku bulamu bw'omuyimbi eyali emunyeenye n'afa eyali amannyikiddwa nga Paulo Kafeero .
Mc Norman yakola ku luyimba lwe olwasembyeyo mu 2017 lwe yatuuma " Wine Fi Mi" n'omu ku ba DJ abasinga obulungi mu South Africa era afulumya ennyimba, gwebayita DJ Clap ow'ekibiina ekimanyiddwa ennyo ekya Uhuru (Kalawa). Yaliko n’ekibiina ekirala ekinene ekimannyikiddwa ekikola Myuziki w'ekika kya Afrobeat ekibiina ky'e South Africa ekiyitibwa Smile. Mc Norman era akoze ne Dj Buckz a Uhulu Kalawa ne Zander Baronet ku luyimba olupya lwe yatuuma Feel. Gye buvuddeko yafulumya oluyimba olupya olwalimu Pallaso ne Stanley Enow okuva e Cameroon era olutuumibwa ye Mulongo olwateekebwa ku nyimba empya eza EP Cross Border nga lulimu ennyimba ttaano. [1]
| Omwaka | Entaambi | Ekitongole ekikwata ennyimba |
|---|---|---|
| 2013 | Sweet Babe | Sheer Group |
| 2013 | Bam bam | Sheer Group |
| 2013 | I remember the day | Sheer Group |
| 2014 | Why | Sheer Group |
| 2015 | She My Lover | Celeb Africa Entertainment / Sheer group |
| 2015 | Bam Bam album | Celeb Africa Entertainment / Sheer group |
| 2016 | Burning up | Celeb Africa Entertainment / Sheer group |
| 2016 | Special request | Celeb Africa Entertainment / Sheer group |
| Okusaba okw'enjawulo Album [2] | ||
| 2019 | Bam Bam Album | |
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Zeyawangula:
- Beffta Awards UK – Omuzannyo ogusinga mu nsi yonna
- 2014 HiPipo Music Awards (HiPipo Music Awards) – Best Chart Artist 2014
- 2015 AFRIMA Awards - Omuwandisi W'enyimba ow'omwaka Eyali Asinga mu 2015
- 2019 HiPipo Best artist diaspora
Abasunsuddwa:
- Engule za Afrimma eza 2014 – Omuyimbi asinga mu Africa mu Dancehall eyalondebwa mu Texas mu Amerika [3]
- 2014 IRAWMA awards – Mu 2014 yawangula ekya Munakatemba Omupya eyali asinga ku muntendera gw'ensi yonna mu bikujuko bya IRAWMA awards e Florida mu Miami[4]
- 2014 HiPipo Music Awards - 2014 Oluyimba lwa reggae olusinga, omuyimbi asinga mu diaspora, omuyimbi asinga mu chart [5]
- 2019 HiPipo Music Awards -Omuyimbi asinga Diaspora
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Mc Norman Music, Songs, Videos, Mp3 Downloads and Biography - Howwe.biz". howwe.biz. Retrieved 1 August 2016.
- ↑ "Ugandan King Of Reggae Dancehall Nominated For The 3rd Time in AFRIMMA". howwe.biz. Retrieved 1 August 2016.
- ↑ "Ugandan King Of Reggae Dancehall Nominated For The 3rd Time in AFRIMMA | Best African Dancehall Artist Nominee". howwe.biz. Retrieved 1 August 2016.
- ↑ "Mc Norman, Ugandan artist leading reggae revival in South Africa - The Africa News | Best world new entertainer". africa-news.eu. Archived from the original on 4 August 2016. Retrieved 1 August 2016.
- ↑ "Uganda's Artistes Nominated For African Music Awards In The Us | Best world new entertainer". newvision.co.ug. Retrieved 1 August 2016.