MediaWiki:Movepagetext
Foomu eno ekyusa erinnya ly'olupapula era n'ekyusa n'olukalala lw'ebyafaayo lwa lwo lwogere ku linnya ppya. Wajjakukolebwawo n'olupapula olulina erinnya kkadde nga lwo lukutwalabutwazi ku lupapula olukyusidw'erinnya. Osobola okulagira sisitemu n'ekukyusiza empapula endala ezikutwalabutwazi ku linnya kkadde, zikutwalenga ku linnya ppya. Bw'oba ng'ekyo toyagadde ekikukolere, laba nti onoonya n'ogolola empapula ezikutwalabutwazi ku ndala ng'ate ne'yo eyagala okukutwalabutwazi ku ndala n'ezo ezikutwalabutwazi ku ndala etaliwo zonna ezireetedwawo okusimbuliza kw'okoze. Buvunaanyizibwa bwo okulaba nti enyunzi zonna zisigala nga ziggukira gye wali ogenderedde. Genderera nti olupapula terujjakukyusibwa linnya ssinga waba nga waliwo olupapula olulala olulina erinnya ly'oyagala okukozesa, okugyako nga olwo lwereere oba nga lukutwalabutwazi ku lulala era nga teruliko olukalala lw'ebyafayo. Kino kitegeeza nti bw'okola nsobi mu kukyusa linnya, oyinza okuluzzayo ku linnya kkadde, naye tosobola okubuutikira olupapula olusangidwawo. Kulabula! Olupapula lw'oyagala okusimbuliza luyinz'okuba nga lujjumbirwa bangi. Okulukyusa erinnya kiyinz'okubagwakobugwi nga tebakiriindiridde. Sooka weroowoze nnyo olabe nti ebiyinz'okuva mu kikolwa kino obitegeera era tebireetewo obukosefu okuteetaagisibwa.