Jump to content

Mehta Group

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Mehta Group of Companies, ekitera okuyitibwa Mehta Group, kibiina kya Buyindi ekisangibwa mu kibuga Mumbai, ng'ekitebe kyayo ekikulu kiri Gandhinagar, nga kirina amakampuni gaakyo mu Amerika, Canada, Kenya ne Uganda. Ekibiina kino kikozesa abantu abasoba mu 55,000 mu nsi yonna, era nga kirina eby’obugagga ebisukka mu buwumbi bwa ddoola za Amerika 2.1, webwatukira Gwekumineebiri 2024. Bizineensi z’ekibiina kino mulimu okuteeka ssente mu sukaali, semiinti, okutegeka eby'amaguzi, okulima ebimuli, obwayinginiya, waya z’amasannyalaze, okwebuuza, okuddukanya emirimu, yinsuwa, eby'obusuuzi kumutendera gw'ensi yonna n'eby'ensiimbi ku mutendera gwensi yonna. [1]

Ekibiina kino kyatandikibwaawo Nanji Kalidas Mehta mu 1887–1969), eyazaalibwa mu Buyindi ku nkomerero y’ekyasa eky’ekkumi n’omwenda. Mu 1900, ku myaka 13, yasenguka n’agenda mu Uganda n’atandika bizineensi ez’enjawulo omuli enimiro ya yebikoola omukolebwa amajaani, ekolero lya ppamba, ennimiro y’ebikajjo n’ekolero lya ssukaali.

Mu myaka gya 1930, nga yeenyweza mu Uganda, Mehta yatandika emirimu mu Buyindi. Yatandikawo ekyuma ekikola engoye n'ekolero ly'okukola engoye mu Porbandar mu Gujarat ne kampuni y'eby'obusuubuzi mu kibuga Bombay. Oluvannyuma, ekolero lya semiinti eriyitibwa Saurashtra Cement Limited, lyatandikibwawo mu 1956.

Mu 1972, Idi Amin, eyali omukulembeze wa Uganda mu kiseera ekyo, yagoba abantu bonna abaali basibuka ku semasinga wa Asia bave mu ggwanga; byonna eby’ekibiina kino ebya Uganda byaweebwayo, bingi ne biweebwa ekitongole kya Uganda Development Corporation ekifugibwa gavumenti . [2] Ekibinja kino kyasa esira ku bizineensi zaabwe ezitaali zabafrika; okutandikawo ekitongole ekikola ku by’okwebuuza ku bantu mu Buyindi n’ekolero lya pulasitiika mu Canada nga lifuuka ekibiina ky’ensi yonna ekya ddala mu myaka gya 1970. Mu 1979, Amin yaggyibwa mu buyinza era ekibiina ne kikomezebwaawo mu Uganda okwediza eby’obugagga byakyo.

Mu biseera by'emyaka gya 1980 ekiwayi kya Agrima Consultancy mu kibiina kino kyagaziwa ne kituuka mu Ethiopia, Cameroon, Sudan, Burundi, Nigeria, Nepal, Sri Lanka ne Myanmar. Ekibiina kino kyadaabiriza bizineensi zaakyo zonna eza Uganda mu kiseera kino. Ekolero lya semiinti eky'okubiri kyatandikibwaawo mu Buyindi, nga kimannyikiddwa nga ekitongole kya Gujarat Sidhee Cement Limited.

Mu myaka gya 1990 ekibiina kino kyayingira mu by'okudukanya eby’ensiimbi nga kitandikawo kampuni ya Transafrica Assurance Company Limited. Mu kiseera kino, amakolero ga semiinti mu Buyindi gaagaziyizibwa ne gafuuka ag’omulembe. [3]

Kampuni zebadukanya

[kyusa | kolera mu edit source]

Kampuni z’ekibiina kya Mehta Group kuliko, naye tezikoma ku bino wammanga: [4]

Ebuyindi
  • Kampuni ya Saurashtra Cement Limited – Ranavav, Gujarat mu Buyindi
  • Ekitongole kya Gujarat Sidhee Cement Limited e Sidheegram, Gujarati mu Buyindi
  • Ekitongole Agrima Consultants International Limited e Mumbai mu Buyindi
  • Kampuni ya Mehta Private Limited e Mumbai Buyindi
  • Kolkata Knight Riders mu Buyindi
  • Global Cups & Consumables Private Limited ku mwalo gw’e Kandla e Gujarat mu Buyindi.
Mu Uganda
E Kenya
  • Kampuni ya Agro Chemical and Food Company Limited mu Muhoroni e Kenya
  • Ekitongole kya Mehta Group Limited mu Nairobi e Kenya
  • Kampuni ya Glenn Investments Limited e Nairobi mu ggwanga lya Kenya
Mu Amerika

 

Ebijjulizidwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Economic Times, Bureau (23 April 2010). "In A Tight Spot, Will Jay Mehta Wriggle Through?". The Economic Times (New Delhi). Archived from the original on 8 August 2013. Retrieved 28 July 2014.
  2. Jørgensen, Jan Jelmert (1981). Uganda: A Modern History. Taylor & Francis. pp. 288–290. ISBN 978-0-85664-643-0. Retrieved 12 August 2010.
  3. "History of The Mehta Group of Companies". MehtaGroup.Com. 2010. Retrieved 28 July 2014.
  4. Mehta, Group (2010). "The Businesses of The Mehta Group". MehtaGroup.Com. Retrieved 28 July 2014.
  5. Habati, Mubatsi Asinja (27 August 2011). "Mabira: No Storm In Mehta's Tea Cup". The Independent (Uganda). Archived from the original on 28 July 2014. Retrieved 28 July 2014.

Ewalala w'oyinza okubisingaana

[kyusa | kolera mu edit source]