Jump to content

Melvyn Lorenzen, Musambi wa mupiira

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Melvyn Lorenzen (Yazaalibwa 26 Ogwekkuminoogumu 1994) Asamba mupiira gwa nsimbi azannya ng'omuteebi era omuwuwuttanyi. Yazaalibwa mu ggwanga lya Bungereza naye nga munnansi wa German, akiikiridde ttiimu y'eggwanga lya Uganda.[1]

Emirimu gya ttiimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Werder Bremen

[kyusa | kolera mu edit source]

Lorenzen yeegatta ku Werder Bremen mu 2013 okuva mu Holstein Kiel.[2] Yasamba omupiira ogwasooka mu Liigi y'e German nga 5 Ogwekkumi 2013 bwe baali bazannya ne VfB Stuttgart. Yayingira mu kifo kya Eljero Elia oluvannyuma lw'eddakiika 88 bwe baali bakola amaliri ne Stuttgart.

Nga 13 Ogwekkumineebiri 2014, Lorenzen yasamba omupiira gwe ogwasooka mu liigi y'e German mu bazannyi 11 abatndika era n'ateeba bwe baali balemagana ne Hannover 3-3. Nga 28 Ogwoluberyeberye 2015, Lorenzen yafuna obuvune mu vviivi era oluvannyuma lw'ennaku bbiri yalongoosebwa.[3][4]

Lorenzen yasamba ogwasooka mu sizoni ya 2015–16 bwe baali bakubwa Bayern Munich 1-0 nga 17 Ogwekkumi 2015 nga tannaba kukolebwako nkyukakyuka mu ddakiika 59.

Yatwalibwa mu ttiimu ey'okubiri gye yasambira sizoni ya 2016–17.[5] Mu budde bwe yamalayo, yabasambira emipiira 14 gyokka mu Liigi y'e German n'ateebamu ggoolo emu.[2]

Omwezi gw'Omusanvu nga guggwako mu 2017, Lorenzen yeegata ku ttiimu ya ADO Den Haag egukyangira mu Liigi y'eBudaaki ku ndagaano ya myaka ebiri. Yasamba omupiira ogwasooka bwe baali bakubwa awaka FC Utrecht 3–0.

Karpaty Lviv ne Persela Lamongan

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokusatu 2021, oluvannyuma lw'okuva mu AFC Wimbledon mu Gwomwenda 2020,[1] Lorenzen yassa omukono ku ndagaano ya mwezi gumu n'ettiimu okuva mu ggwa lya Indonesian Persela Lamongan eya Liigi ya Indonesia ey'okuntikko.[6]

Nga 23 Ogwomunaana 2021, Lorenzen yeegatta mu Liigi y'e Ireland ey'okuntikko Sligo Rovers emipiira 13 egyasemba mu Sizoni ya 2021, oluvannyuma lw'okutendekebwa ne ttiimu eno wiiki bbiri.[7] Yayabulira ttiimu eno ku nkomekkero ya sizoni.[8]

Wormatia Worms

[kyusa | kolera mu edit source]

Ng'endagaano talina Lorenzen yeegatta ku Wormatia Worms, ttiimu eyali yaakasuumusibwa mu Regionalliga Südwest, mu Gwomwenda 2022.[9]

Oluvannyuma lwa Sizon enkwafu ku Nakhon Ratchasima okubayamba okuwangula Liigi y'e Thailand ey'okubiri, Lorenzen yeegatta ku BG Pathum United eya Liigi ya Thailand ey'okuntikko mu sizoni empya.[10]

Ttiimu y'eggwanga

[kyusa | kolera mu edit source]

Lorenzen yazaalibwa mu kibuga London, mu ggwanga lya Bungereza nga kitaawe Munnayuganda nnyina munnansi wa German.Erinnya lye ery'ekika liva ku nnyina. Kitaawe ye Drake Mugisa.[11]

Mu 2016, Lorenzen yayitibwa ku ttiimu ya Ugadanda,[12] era yazannya omupiira ogwasooka ogw'omukwano nga battunka ne Zimbabwe ne bakubwa 2–0 nga 31 Ogwokutaano 2016.[13]

Mu Gwekkuminoogumu 2025, Lorenzen yayitibwa omutendesi Paul Put okuzannya emipiira gy'omukwano wakati wa Chad ne Morocco era yateeba ggoolo ye eyasooka bwe baali battunka ne Chad ogwaggwa 2-1 nga Uganda ewangudde era eyasooka okuva 2016. Lorenzen yayitibwa okuzannya ekikopo kya Africa ekya 2025 nga yazannya ogwasooka nga 24 Ogwekkumineebiri 2025.

Template:Updated[14][15]

Emipiira ne Ggoolo ze yateebera ttiimu, Sizoni n'e Mpaka
Ttiimu Sizoni Liigi Ekikopo Ebirala Omugatte
Liigi Emipiira Goals Emipiira Ggoolo Emipiira Ggoolo Emipiira Goals
Werder Bremen II 2013–14 Regionalliga Nord 13 4 — — 13 4
2014–15 2 0 — 1[a] 0 3 0
2015–16 3. Liga 9 1 — — 9 1
2016–17 30 2 — — 30 2
Omugatte 54 7 0 0 1 0 55 7
Werder Bremen 2013–14 Liigi y'e German 2 0 0 0 — 2 0
2014–15 3 1 0 0 — 3 1
2015–16 9 0 0 0 — 9 0
Omugatte 14 1 0 0 0 0 14 1
ADO Den Haag 2017–18 Liigi y'e Dutch 20 1 1 0 1[b] 0 22 1
2018–19 22 2 1 0 0 0 23 2
Omugatte 42 3 2 0 1 0 45 3
Karpaty Lviv 2019–20 Liigi y'e Ukrain 4 0 0 0 — 4 0
Persela Lamongan 2021 Liga 1 — — 3[c] 2 3 2
Sligo Rovers 2021 Liigi ya Ireland 7 0 — — 7 0
Omugatte awamu 121 11 2 0 5 2 128 13

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Kinsella, Nizaar (16 September 2020). "From Ukraine exile to scoring against Chelsea: Trial star Lorenzen wants to crack English football". goal.com. Retrieved 15 September 2022. Cite error: Invalid <ref> tag; name "kinsella" defined multiple times with different content.
  2. 1 2 "Lorenzen wechselt nach Den Haag". Weser-Kurier (in German). 24 July 2017. Retrieved 24 July 2017.{{cite news}}: CS1 maint: unrecognized language (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "ado" defined multiple times with different content.
  3. ↑ "Melvyn Lorenzen suffers torn ligament". werder.de/en. SV Werder Bremen GmbH & Co KGaA. 28 January 2015. Archived from the original on 15 February 2015. Retrieved 15 February 2015.
  4. ↑ "Melvyn Lorenzen successfully operated". werder.de/en. SV Werder Bremen GmbH & Co KGaA. 30 January 2015. Archived from the original on 15 February 2015. Retrieved 15 February 2015.
  5. ↑ Freye, Stefan (23 May 2017). "Die Dritte Liga als gutes Argument". Weser-Kurier (in German). Retrieved 24 May 2017.{{cite news}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  6. ↑ Hanke, Maik (27 March 2021). "Abenteuer Fernost als letzte Chance für Ex-Werder-Talent Lorenzen?". Weser Kurier (in Ludaaki). Retrieved 3 April 2021.
  7. ↑ "Rovers sign attacking player Lorenzen". Sligo Rovers. 23 August 2021. Retrieved 23 August 2021.
  8. ↑ Cummiskey, Gavin (5 July 2022). "Youthful exuberance drives the League of Ireland". The Irish Times. Retrieved 5 July 2022.
  9. ↑ "Wormatia Worms holt Bundesliga-erfahrenen Lorenzen". kicker (in Ludaaki). 15 September 2022. Retrieved 15 September 2022.
  10. ↑ "บีจี ปทุม ยูไนเต็ด คว้า เมลวิน ลอเรนเซ่น จาก นครราชสีมา มาสด้าฯ". ballthai.com (in Thai). 24 June 2024. Retrieved 24 June 2024.{{cite web}}: CS1 maint: unrecognized language (link)
  11. ↑ "Why Melvyn Lorenzen chose Uganda over Germany and England". Archived from the original on 23 June 2016. Retrieved 18 May 2016.
  12. ↑ "SV Werder Bremen EN on Twitter".
  13. ↑ Oryada, Andrew Jackson (1 June 2016). "Werder Bremen's Melvyn Lorenzen is undecided on Uganda commitment". BBC Sport. Retrieved 24 May 2017.
  14. ↑ "Melvyn Lorenzen » Club matches". World Football. Retrieved 26 October 2015.
  15. ↑ "M. Lorenzen". Soccerway. Retrieved 23 February 2014.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]

Page Template:Sister project/styles.css has no content. 

Template:Uganda squad 2025 Africa Cup of Nations