Merrick Posnansky
Merrick Posnansky (8 Omwezi ogwokusatu 1931 – 29 Omwezi ogwomwenda 2024) yali Mungereza omukugu mu kusoma n'okunoonyereza ebintu abantu ab'edda bye baakolanga ne byebaakozesanga mu bulamu bwabwe, nga ayiikuula ettaka okubizuula,omuli ebintu nga amagumba, ensuwa ezamenyeka, ebyuma ebyeyambisibwa okukola emirimu (Tools), amayumba, nebiwandiiko ebikadde (Archaeologist) . [1] Yakolako nga addukanya n'okulabirira (Curator) Ekkadiyizo lya Uganda (Uganda Museum) era naawerezako nga pulezidenti w'ekibiinakya Uganda ekitumbula okusoma, okuwandiika n'okusiima ebyafaayo, Obuwangwa n'obutonde obwetooloddewo ow'omulundi ogwa 31 wakati wa 1964 ne 1965 [2] [3]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Posnansky yamaliriza ddiguli esooka mu byafaayo n'enkula y'ensi ,engeri gyelabika, engeri gyekyukakyuka n'engeri abantu bwebagikoleramu (Geography) mu yunivasite y’e Nottingham mu 1952 n’oluvannyuma dipulooma mu byafaayo by'omuntu ngebiwandiike tebinnabaawo ku Peterhouse,yunivasite y'e Cambridge mu 1953. [4]
Ng'alondoolwa Henry Hurd Swinnerton, yafuna ddiguli ye eyokusatu (PhD) mu kusoma n'okunoonyereza ebintu abantu ab'edda bye baakolanga ne byebaakozesanga mu bulamu bwabwe, nga ayiikuula ettaka okubizuula ,omuli ebintu nga amagumba, ensuwa ezamenyeka, ebyuma ebyeyambisibwa okukola emirimu (Tools), amayumba, nebiwandiiko ebikadde (Archaeology) okuva mu Yunivasite y'e Nottingham mu 1956. Okusinziira ku byamuwandiikibwako mu katabo ak'ebyafaayo akawandiika ku byedda ( Historical Archaeology Journal ) okunoonyereza kwe kwakwata ku ku kusoma ddi ebintu webyagwawo mu biseera by'obunnyogovu obwamala ebbanga eddene n'okusoma ebyafaayo by'omuntu ng'okuwandiika tekunnabaawo eby'ekitundu kya Midland ey'obuvanjuba ey'eBungereza ate ng'ate ekitabo kye ekiraga byeyazuula okuva mu kunoonyereza kyalimu ebimu ku bintu eby'edda eby'ebiseera ebisembyeyo". [4]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Kenya
[kyusa | kolera mu edit source]
Ku kiteeso kya Grahame Clark, Posnansky yasooka okugenda mu Afrika mu 1956 okukolera amakuumiro g'ebisolo ebyomunsiko aga Royal National Parks of Kenya nga omukuumi.addukanya era alabirira ebifo ebirimu ebintu ebyedda [5] [2] Mu kiseera kino, yayiikuula ku bifo eby’eby’edda eby’e Olorgesailie ne Lanet ate n'era bwakola n’okunoonyereza [6] [7]
Uganda
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1958, Posnansky yakola nga omukuumu era alabirira ku kkaddiyizolya Uganda . [8] Ekifo ekyo yakirimu okumala emyaka ena. Yakolako nga omukulu atwala kkoosi y’emisomo gy'ekifirika Afirika ku yunivasite y'e Makerere, Uganda. [7]
Bwe yawummula mu 1994, yadda e Uganda okukola okunoonyereza era n’asima ku Nkambi ya Misiri ku Dufile [5]
Ghana
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 1967, Merrick yagenda e Ghana nga pulofeesa era ssentebe w’ekitongole ky’eby’oyiikula n'okusoma ku by'edda mu yunivasite y’e Ghana, Legon. [4]
Yaki mukulu w’ebbanguliro erinoonyereza ku by’edda n’ekifo ky'emisomo egy'ekifirika ki James S. Coleman African Studies Centre. [7]
Awaadi
[kyusa | kolera mu edit source]Ebitabo ebifulumizibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko Ebirondeddwa
- Posnansky, Merrick, omuwandiisi w’ebitabo. (2010) (2010) nga bano. "Ebitundu by'obusuubuzi bwa West Africa obwasooka". Eby’okukuula eby’edda mu nsi yonna. Omuzingo 5, 1973, Ensonga 2: Obusuubuzi. 10.1080/00438243.1973.9979562
- Posnansky, Merrick, omuwandiisi w’ebitabo. (2010) (2010) nga bano. "Eby'okukuula eby'edda mu Afrika bijja mu myaka." Eby'okukuula eby'edda mu nsi yonna . Volume 13, 1982, Issue 3: Ennono z’ebitundu ez’okunoonyereza ku by’edda II. 10.1080/00438243.1982.9979838
- Posnansky, Merrick, omuwandiisi w’ebitabo. (2009) (2009) nga bano. "Ebika by'Ebibumba okuva mu bifo eby'Eby'okukuula mu Buvanjuba bwa Afrika." Ekitabo ekikwata ku byafaayo bya Afrika. Omuzingo 2, Omuko 2, July 1961, pp.177–98. 10.1017/S0021853700002401
- Posnansky, Merrick., & McIntosh, Omuwandiisi w’ebitabo. (2009) (2009) nga bano. "Radiocarbon Empya Ewandiikiddwa mu Bukiikakkono n'amaserengeta ga Afrika". Ekitabo ekikwata ku byafaayo bya Afrika. Omuzingo 17, Omuko 2, April 1976, pp.161–195. 10.1017/S0021853700001286. Enkola y’okukuuma obutonde bw’ensi
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- webteam (8 October 2024). "Merrick Posnansky". UCLA Department of History (in American English). Retrieved 20 November 2024.
- "An Archaeologist at Work in African Prehistory and Early Human Studies: Teamwork and Insight". oac.cdlib.org. Retrieved 6 March 2024.
- "The Uganda journal". original-ufdc.uflib.ufl.edu (in Lungereza). Archived from the original on 23 February 2025. Retrieved 4 July 2024.
- De Corse, Christopher. R (2004). "J. C. Harrington Medal in Historical Archaeology : Merrick Posnansky" (PDF). Historical Archaeology. 38 (2): 1–6. Archived from the original (PDF) on 2023-09-14. Retrieved 2025-10-29.
- Saba, Alix (16 October 2024). "Merrick Posnansky (1931-2024)". African Studies Association Portal - ASA (in American English). Retrieved 20 November 2024.
- Saba, Alix (16 October 2024). "Merrick Posnansky (1931-2024)". African Studies Association Portal - ASA (in American English). Retrieved 20 November 2024.;
- "Merrick Posnansky". www.international.ucla.edu. Retrieved 6 March 2024.
- "East African cities fighting for living heritage". The East African (in Lungereza). 6 July 2020. Retrieved 6 March 2024.
- "Awards and Prizes". Society for Historical Archaeology (in American English). Retrieved 4 July 2024.
- ↑ webteam (8 October 2024). "Merrick Posnansky". UCLA Department of History (in American English). Retrieved 20 November 2024.
- 1 2 "An Archaeologist at Work in African Prehistory and Early Human Studies: Teamwork and Insight". oac.cdlib.org. Retrieved 6 March 2024."An Archaeologist at Work in African Prehistory and Early Human Studies: Teamwork and Insight". oac.cdlib.org. Retrieved 6 March 2024.
- ↑ "The Uganda journal". original-ufdc.uflib.ufl.edu (in Lungereza). Archived from the original on 23 February 2025. Retrieved 4 July 2024.
- 1 2 3 De Corse, Christopher. R (2004). "J. C. Harrington Medal in Historical Archaeology : Merrick Posnansky" (PDF). Historical Archaeology. 38 (2): 1–6. Archived from the original (PDF) on 2023-09-14. Retrieved 2025-10-29.
- 1 2 Saba, Alix (16 October 2024). "Merrick Posnansky (1931-2024)". African Studies Association Portal - ASA (in American English). Retrieved 20 November 2024.
- ↑ Saba, Alix (16 October 2024). "Merrick Posnansky (1931-2024)". African Studies Association Portal - ASA (in American English). Retrieved 20 November 2024.
- 1 2 3 "Merrick Posnansky". www.international.ucla.edu. Retrieved 6 March 2024.
- ↑ "East African cities fighting for living heritage". The East African (in Lungereza). 6 July 2020. Retrieved 6 March 2024.
- ↑ "Awards and Prizes". Society for Historical Archaeology (in American English). Retrieved 4 July 2024.
Lua error: Invalid configuration file.