Jump to content

Michael Kabango

Bisangiddwa ku Wikipedia

Brigadier Michael Kabango munnayuganda munnamaggye , akola nga omuduumizi w’ekibinja kya Uganda mu ggye eryawamu ekkuuma ddembe mu ggwanga lya Somalia eryekibiina ekigatta amawanga ag'olukalu lw'Afirika (AMISOM). Ekifo ekyo yakitwala nga 21 Omwezi ogw'ekkumi nebiri 2018. [1]

Obuvo bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Uganda era yasomera mu masomero ga pulayimale agoomukitundu. Yafuna dipuloma ye ey'essomero lya siniya okuva mu ssomero lya Mutolere Senior Secondary School, mu Mutolere, mu disitulikiti y’e Kisoro, mu ttundutundu ly'obugwanjuba mu Uganda. Oluvannyuma yatikkirwa ddiguli esooka okuva mu yunivasite ya Kampala International University . [2]

Amangu ddala nga tannasindikibwa Somalia, Kabango ye musirikale eyali aduumira ekibinja ky'eggye lya UPDF ekyokutaano, ekisinziira mu Achol-Pii, mu disitulikiti y'Agago, mu ttundutundu ly'obukiika kkono obwa Uganda. Ekyo bwekyali tekinnabaawo, yaweerezaako ng'omusirikale omukungu owa Uganda avunaanyizibwa ku nsonga z'ekinnamaggye ku kitebe kya Uganda e Somalia. [3]

Kabango emabegako yaweerezaako ng'omumyuka w’omuduumizi w’eggye ow'e kitongole kya Afirika ekivunaanyizibwa ku kudduukirira obutyabaga (ACIRC), ekisinziira mu Luanda, Ãngola. N'era aweerezzaako ng'omuduumizi ow'eggye ery'ekibiina ky'amawanga ga Afirika li (Rapid Transition Force) eryatandikibwawo okugoba Joseph Kony okuva mu South Sudan ne Central African Republic . [2] [4]

Kabango aweerezzaako mu Somalia, bwe yali kitundu ku kibinja kya UPDF ekibinja erkirwanyi ekyokubirii (UPDF Battle group ii) , mu 2008. Mu 2018, yatwala obuduumizi bw'eggye lya UPDF ekkuumi mu Somalia erya AMISOM okuva ku Meeja Generaali (mu kiseera ekyo eyali ku ddaala lya Buligeediya ) Paul Lokech, mu kiseera ekyo eyalondebwa okuba omuduumizi w'ekifo eky'eggye eriduukirize (URDCC). [4] [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. SoftPower Reporter (21 December 2018). "Uganda's Brigadier Michael Kabango Takes Over Command of AMISOM Sector One". Kampala: SoftPower Uganda. Retrieved 12 April 2019.
  2. Michael Kabango (2019). "Michael Kabango: Contingent Commander (Uganda) AMISOM Sector 1 Command". Linkedin.com. Retrieved 12 April 2019.
  3. Julius Ocungi (18 December 2018). "Brig Kabango replaces Lokech as UPDF contingent commander in Somalia". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 12 April 2019.
  4. The Independent (21 December 2018). "Brig. Gen. Kabango takes charge of UPDF in Somalia". The Independent (Uganda). Kampala. Retrieved 12 April 2019.
  5. Newvision Staff (21 December 2018). "UPDF contingent in Somalia gets new commander". New Vision. Kampala. Retrieved 12 April 2019.
  1. SoftPower Reporter (21 December 2018). "Uganda's Brigadier Michael Kabango Takes Over Command of AMISOM Sector One". SoftPower Uganda. Retrieved 12 April 2019.
  2. 1 2 Michael Kabango (2019). "Michael Kabango: Contingent Commander (Uganda) AMISOM Sector 1 Command". Linkedin.com. Retrieved 12 April 2019.
  3. Julius Ocungi (18 December 2018). "Brig Kabango replaces Lokech as UPDF contingent commander in Somalia". Retrieved 12 April 2019.
  4. 1 2 The Independent (21 December 2018). "Brig. Gen. Kabango takes charge of UPDF in Somalia". Retrieved 12 April 2019.
  5. Newvision Staff (21 December 2018). "UPDF contingent in Somalia gets new commander". Retrieved 12 April 2019.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]