Jump to content

Michael Kawooya (omusawo)

Bisangiddwa ku Wikipedia

Michael Grace Kawooya (yazaalibwa mu 1958) Munnayuganda omusawo , munnabyanjigiriza, omunoonyereza era omuddukanya w'eby’ensoma, akola nga Dayirekita mu Ernest Cook Ultrasound Research and Education Institute (ECUREI). Ono Pulofeesa (eyaliko) mu Radiology mu ttendekero lya Makerere University College of Health Sciences. [1]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaalibwa mu Ttundutundu lya Buganda mu Uganda kumpi ne 1958. Oluvannyuma lw'okusoma mu masomero ga pulayimale ne siniya mu kitundu kye, yaweebwa ekifo mu Makerere University Medical School mu 1978. [2]

Yafuna diguli esooka eya Bachelor of Medicine ne Bachelor of Surgery mu 1983. Yagenda mu maaso n'afuna diguli eyookubiri eya Master of Medicine mu Radiology okuva mu yunivasite y'emu, mu 1988.[2]

Ekyo yakyongerako n'essomo lya Radiography eryamala emyaka ebiri okuva mu Yunivasite y’e Tübingen e Tübingen, Germany. Mu 2001, yasomerako mu Thomas Jefferson University, e Philadelphia, Pennsylvania, Amerika mu lukungaana lw'okusoma ebya ultrasound. [1]

Yatandika omulimu gwe ogw'okusomesa mu Department of Radiology mu Makerere University Medical School, ng'omusomesa w'abayizi abatannaba kutikkirwa n'abongerako ku buyigirize. Emyaka bwe gyagenda giyitawo, yalinnyisibwa amadaala era n'aweebwa obuvunaanyizibwa obulala, ng'obumanyirivu bwe bweyongera era n'okugaziwa. Yali akulira ba radiologists abaali abasukka mu makumi ana ku mutendera gwa Master of Medicine n'okusingawo. Yafuna obwa pulofeesa mu radiology mu Ssettendekero wa Makerere.[3]

Ekitundu kya Pulofeesa Kawooya eky'obumanyirivu obw'amaanyi ye ultrasound. Alina ebitundu ebisukka mu ataanomubitaano ebyafulumizibwa mu mpapula z'amawulire, n'essuula ttaano mu bitabo ku nsonga ez'enjawulo, omuli n'okukuba ebifaananyi ku ndwadde z'omu bifo ebirimu ebbugumu. Alina awaadi nnyingi omuli okugeza eya Honorable Fellow of the American Institute of Ultrasound in Medicine, eyamuweebwa mu 2015, era nga Honorable Member of the European Society of Radiology, eyamuweebwa mu 2019.[4]

Ebirala bye baalowoozaako

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2002, n'obuyambi bwa Thomas Jefferson University, mu Philadelphia, Pennsylvania, United States, Profesa Kawooya, n'abakugu abalala ab'omu Uganda, baatandikawo ekitongole kya Ernest Cook Ultrasound Research And Education Institute (ECUREI) , ekisangibwa mu Eddwaliro ly'e Mengo mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.[2][5]

Ekitongole kino era kifuna obuyambi obw'ekitundu okuva mu Fontys University of Applied Sciences, mu Netherlands etendeka abayizi okufuna Diploma mu Ultrasound. Abayizi bano bava mu Uganda, Kenya, Tanzania, Democratic Republic of the Congo ne Zambia.[6]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1495044/ugandan-radiologist-international-honour
  2. 1 2 3 http://www.wfumb2017.org/cv/k/Kawooya.pdf
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2019-09-10. Retrieved 2025-09-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-05-28. Retrieved 2025-09-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-03. Retrieved 2025-09-26.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1113636/radiology-institute